Ekyamateeka 31:1-30
31 Awo Musa n’agenda n’ategeeza Abayisirayiri bonna ebigambo bino,
2 n’abagamba nti: “Leero nnina emyaka 120.+ Sikyasobola kubakulembera* kubanga Yakuwa yaŋŋamba nti, ‘Tojja kusomoka Yoludaani ono.’+
3 Yakuwa Katonda wo y’akukulemberamu okusomoka. Ye kennyini ajja kuzikiriza amawanga gano mu maaso go era ojja kugagoba.+ Yoswa y’anaakukulembera okusomoka+ nga Yakuwa bwe yagamba.
4 Yakuwa ajja kugakola nga bwe yakola Sikoni+ ne Ogi+ bakabaka b’Abaamoli, era nga bwe yakola ensi yaabwe bwe yabazikiriza.+
5 Yakuwa ajja kugakuwangulira, era ojja kugakola ng’ebiragiro byonna bye nkuwadde bwe biri.+
6 Beera muvumu era beera wa maanyi.+ Totya era totekemuka mu maaso gaabwe,+ kubanga Yakuwa Katonda wo y’agenda naawe. Tajja kukuleka era tajja kukwabulira.”+
7 Awo Musa n’ayita Yoswa n’amugambira mu maaso g’Abayisirayiri bonna nti: “Beera muvumu era wa maanyi,+ kubanga ggwe ogenda okuyingiza abantu bano mu nsi Yakuwa gye yalayira okuwa bajjajjaabwe, era ojja kugibawa ng’obusika.+
8 Yakuwa y’akukulemberamu. Ajja kweyongera okubeera naawe.+ Tajja kukuleka era tajja kukwabulira. Totya era totekemuka.”+
9 Awo Musa n’awandiika Amateeka gano+ n’agawa bakabona Abaleevi abasitula essanduuko y’endagaano ya Yakuwa, n’abakadde bonna aba Isirayiri.
10 Musa n’abalagira nti: “Ku buli nkomerero ya myaka musanvu, mu kiseera ekigereke eky’omwaka ogw’okusumululiramu,+ ku Mbaga ey’Ensiisira,+
11 Abayisirayiri bonna bwe banaabanga bazze mu maaso ga Yakuwa+ Katonda wo mu kifo ky’aneeroboza, onoosomeranga Abayisirayiri bonna Amateeka gano bagawulire.+
12 Okuŋŋaanyanga abantu,+ abasajja n’abakazi n’abaana n’omugwira ali mu bibuga* byo, bawulirize era bayige ebikwata ku Yakuwa Katonda wammwe era bamutye, era bafube okukwatanga ebigambo byonna eby’Amateeka gano.
13 Era abaana baabwe abatamanyi Mateeka gano bajja kuwuliriza+ bayige okutya Yakuwa Katonda wammwe ennaku zonna ze munaamala mu nsi gye mugenda okutwala nga musomose Yoludaani.”+
14 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Laba! Ekiseera kyo eky’okufa kisembedde.+ Yita Yoswa mujje ku weema ey’okusisinkaniramu, mmukwase obukulembeze.”+ Awo Musa ne Yoswa ne bagenda ku weema ey’okusisinkaniramu.
15 Yakuwa n’alabika ku weema ey’okusisinkaniramu mu mpagi y’ekire, era empagi y’ekire n’eyimirira ku mulyango gwa weema.+
16 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Laba! Ogenda kufa,* era abantu bano bajja kutandika okwenda mu by’omwoyo ku bakatonda ababeetoolodde mu nsi gye bagendamu.+ Bajja kunvaako+ bamenye endagaano yange gye nnakola nabo.+
17 Mu kiseera ekyo obusungu bwange bulibabuubuukira,+ era ndibaabulira+ ne mbakweka obwenyi bwange+ okutuusa lwe balisaanawo. Ebizibu ebingi n’ennaku bwe biribajjira,+ baligamba nti, ‘Ebizibu bino byonna tebitujjidde lwa kuba Katonda waffe tali mu ffe?’+
18 Naye nze ndibakwekera ddala obwenyi bwange ku lunaku olwo, olw’ebibi byonna bye baliba bakoze nga bakyuse okudda eri bakatonda abalala.+
19 “Kaakano muwandiike oluyimba luno+ era muluyigirize Abayisirayiri+ balukwate,* lubeerenga omujulizi wange alumiriza abantu ba Isirayiri.+
20 Bwe nnaabatuusa mu nsi gye nnalayirira bajjajjaabwe+—ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki+—ne balya ne bakkuta ne bagejja,+ bajja kukyuka badde eri bakatonda abalala babaweereze, bannyoome, era bamenye endagaano yange.+
21 Ebizibu ebingi n’ennaku bwe biribajjira,+ oluyimba luno luliba mujulizi abalumiriza (bazzukulu baabwe tebalina kulwerabira), kubanga mmanyi bulungi endowooza gye batandise okufuna kati+ nga sinnabayingiza mu nsi gye nnabalayirira.”
22 Bw’atyo Musa n’awandiika oluyimba olwo ku lunaku olwo, era n’aluyigiriza Abayisirayiri.
23 Awo Katonda n’akwasa Yoswa+ mutabani wa Nuuni obukulembeze, n’amugamba nti: “Beera muvumu era beera wa maanyi,+ kubanga ggwe ogenda okuyingiza Abayisirayiri mu nsi gye nnabalayirira,+ era nja kweyongera okubeera naawe.”
24 Musa olwamala okuwandiika mu kitabo ebigambo by’Amateeka gano byonna,+
25 n’alagira Abaleevi abasitula essanduuko y’endagaano ya Yakuwa nti:
26 “Mutwale ekitabo kino eky’Amateeka+ mukiteeke ku mabbali g’essanduuko+ y’endagaano ya Yakuwa Katonda wammwe, era kinaabeeranga omujulizi wa Katonda abalumiriza.
27 Kubanga mmanyi bulungi nga bwe muli abajeemu+ era abakakanyavu.*+ Bwe kiba nti mubadde mujeemera Yakuwa nga nkyali mulamu era nga ndi nammwe, temulimujeemera n’okusingawo nga mmaze okufa!
28 Munkuŋŋaanyize abakadde b’ebika byammwe bonna n’abaami bammwe njogere ebigambo bino nga bawulira, era mpite eggulu n’ensi okuba abajulizi ababalumiriza.+
29 Kubanga mmanyi bulungi nti bwe nnaamala okufa mujja kweyisiza ddala bubi,+ era mujja kuva mu kkubo lye nnabalagira okutambuliramu. Mulifuna ebizibu+ mu biseera ebijja, kubanga muliba mukoze ebibi mu maaso ga Yakuwa ne mumunyiiza olw’emirimu gy’emikono gyammwe.”
30 Awo Musa n’ayogera ebigambo by’oluyimba luno okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, ng’ekibiina kya Isirayiri kyonna kiwulira:+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “kufuluma na kuyingira.”
^ Obut., “miryango.”
^ Obut., “kugalamira wamu ne bakitaabo.”
^ Obut., “muluteeke mu bumwa bwabwe.”
^ Obut., “ab’ensingo enkakanyavu.”