Ekyamateeka 4:1-49
4 “Kaakano Isirayiri, wulira ebiragiro n’amateeka bye mbayigiriza okukwatanga, musobole okuba abalamu+ era mugende mutwale ensi Yakuwa Katonda wa bajjajjammwe gy’abawa.
2 Temwongeranga ku kigambo kye mbalagira wadde okukitoolako+ musobole okukwata ebiragiro bya Yakuwa Katonda wammwe bye mbawa.
3 “Amaaso gammwe gaalaba ebyo Yakuwa bye yakola ebikwata ku Bbaali ow’e Pyoli. Buli muntu eyagoberera Bbaali ow’e Pyoli+ Yakuwa Katonda wammwe yamuzikiriza n’amuggya mu mmwe.
4 Naye mmwe abanyweredde ku Yakuwa Katonda wammwe mmwenna muli balamu leero.
5 Laba mbayigirizza ebiragiro n’amateeka+ nga Yakuwa Katonda wange bwe yandagira, musobole okubikwata nga muli mu nsi gye mugenda okutwala.
6 Mufeeyo nnyo okubikwata+ kubanga amawanga aganaawulira ebikwata ku biragiro bino byonna gajja kulaba amagezi+ gammwe n’okutegeera+ kwammwe era gajja kugamba nti, ‘Mazima ddala eggwanga lino eddene ggwanga lya bantu ab’amagezi era abategeevu.’+
7 Kubanga ggwanga ki eddene eririna bakatonda abaliri okumpi nga Yakuwa Katonda waffe bw’aba okumpi naffe buli lwe tumukoowoola?+
8 Era ggwanga ki eddene eririna ebiragiro n’amateeka eby’obutuukirivu ng’Amateeka gano gonna ge nteeka mu maaso gammwe leero?+
9 “Weegendereze era weekuume nnyo oleme kwerabira bintu bino amaaso go bye galabye, bireme kuva ku mutima gwo ennaku zonna ez’obulamu bwo, era bitegeezenga abaana bo ne bazzukulu bo.+
10 Ku lunaku lwe wayimirira mu maaso ga Yakuwa Katonda wo mu Kolebu, Yakuwa yaŋŋamba nti, ‘Nkuŋŋaanyiza abantu bawulire ebigambo byange+ basobole okuyiga okuntya+ ennaku zonna ze banaabeera ku ttaka nga balamu, era basobole n’okuyigiriza abaana baabwe.’+
11 “Awo ne musembera ne muyimirira wansi w’olusozi era olusozi olwo lwali lwaka omuliro ogwali gutuukira ddala ku ggulu;* era waaliwo ekizikiza n’ekire ekikutte.+
12 Awo Yakuwa n’atandika okwogera nammwe ng’ayima mu muliro.+ Mwawulira bigambo naye temulina kintu kyonna kye mwalaba+ mu muliro—mwawulira ddoboozi lyokka.+
13 Era yababuulira endagaano ye+ gye yabalagira okukuuma, kwe kugamba, Amateeka Ekkumi,*+ oluvannyuma n’agawandiika ku bipande by’amayinja bibiri.+
14 Era mu kiseera ekyo Yakuwa yandagira okubayigiriza ebiragiro n’amateeka bye munaakwatanga mu nsi gye mugenda okuyingiramu mugitwale.
15 “Kale mwegendereze nnyo, kubanga temwalaba kintu kyonna mu muliro ku lunaku Yakuwa lwe yayogera nammwe ku Kolebu ng’ayima wakati mu muliro,
16 muleme kwonoona nga mwekolera ekifaananyi ekyole eky’ekintu kyonna, ekifaananyi eky’ekintu ekisajja oba ekikazi,+
17 ekifaananyi ky’ensolo yonna ku nsi, ekifaananyi ky’ekinyonyi kyonna ekibuuka mu bbanga,+
18 ekifaananyi ky’ekintu kyonna ekyewalula ku ttaka, ekifaananyi ky’ekyennyanja kyonna ekiri mu mazzi agali ku nsi.+
19 Bw’oyimusanga amaaso go eri eggulu n’olaba enjuba n’omwezi n’emmunyeenye—eggye lyonna ery’oku ggulu—tosendebwasendebwanga kubivunnamira wadde okubiweereza.+ Yakuwa Katonda wo abiwadde amawanga gonna agali wansi w’eggulu lyonna.
20 Naye Yakuwa mmwe be yakwata n’abaggya mu kyoto mwe basaanuusiza ekyuma, n’abaggya e Misiri, mufuuke abantu be ku bubwe*+ nga bwe kiri leero.
21 “Yakuwa yansunguwalira olw’okubeera mmwe+ n’alayira nti sirisomoka Yoludaani wadde okugenda mu nsi ennungi Yakuwa Katonda wammwe gy’abawa ng’obusika.+
22 Ŋŋenda kufiira mu nsi eno. Sigenda kusomoka Yoludaani,+ naye mmwe mugenda kusomoka era mujja kutwala ensi eyo ennungi.
23 Mwegendereze muleme kwerabira ndagaano Yakuwa Katonda wammwe gye yakola nammwe+ era temwekoleranga kifaananyi ekyole eky’engeri yonna Yakuwa Katonda wammwe kye yabagaana.+
24 Kubanga Yakuwa Katonda wammwe muliro ogusaanyaawo,+ era ye Katonda ayagala abantu okumwemalirako.+
25 “Bwe mulifuna abaana n’abazzukulu nga mumaze ebbanga ddene mu nsi ne mweyisa mu ngeri eyinza okubaviirako okuzikirira nga mukola ekifaananyi ekyole+ eky’ekintu kyonna era ne mukola ebibi mu maaso ga Yakuwa Katonda wammwe okumunyiiza,+
26 ntwala eggulu n’ensi okuba abajulizi gye muli leero nti temulirema kuzikirira mu bwangu ne muva mu nsi gye mugenda okutwala nga musomose Yoludaani. Temujja kugibeeramu nnaku nnyingi, naye mujja kusaanyizibwawo.+
27 Yakuwa ajja kubasaasaanya mu mawanga+ era mujja kusigala batono+ mu nsi Yakuwa z’ajja okubagoberamu.
28 Eyo gye muliweerereza bakatonda abakolebwa abantu, bakatonda ab’emiti n’ab’amayinja,+ abatalaba wadde okuwulira, era abatalya wadde okuwunyiriza.
29 “Bw’olinoonya Yakuwa Katonda wo ng’oli eyo, olimuzuula,+ bw’olimunoonya n’omutima gwo gwonna n’obulamu bwo bwonna.+
30 Bw’oliba mu buyinike obw’amaanyi ng’ebintu bino byonna bikutuuseeko mu biseera eby’omu maaso, olidda eri Yakuwa Katonda wo n’owuliriza eddoboozi lye.+
31 Kubanga Yakuwa Katonda wo Katonda musaasizi.+ Talikwabulira wadde okukuleka okusaanawo, era talyerabira ndagaano gye yalayirira bajjajjaabo.+
32 “Kaakano mubuuze ebikwata ku biseera eby’edda nga temunnabaawo, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonda omuntu ku nsi; munoonyereze okuva ku luuyi olumu olw’eggulu okutuuka ku luuyi olulala. Ekintu ekikulu bwe kiti kyali kibaddewo, oba ekintu nga kino kyali kiwuliddwako?+
33 Waliwo abantu abalala abaali bawulidde eddoboozi lya Katonda nga lyogerera wakati mu muliro nga mmwe bwe mwaliwulira, ne basigala nga balamu?+
34 Oba Katonda yali agezezzaako okwetwalira eggwanga erimu ng’aliggya wakati mu ggwanga eddala ng’akozesa ebigezo, n’obubonero, n’ebyamagero,+ n’entalo,+ n’omukono ogw’amaanyi+ era ogugoloddwa, n’ebintu eby’entiisa+ nga Yakuwa Katonda wammwe bwe yabakolera mu Misiri nga mulaba?
35 Ebintu bino byabalagibwa mulyoke mumanye nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima;+ teri mulala okuggyako ye.+
36 Yabawuliza eddoboozi lye ng’ayima mu ggulu asobole okubagolola, ne ku nsi yabaleetera okulaba omuliro gwe ogw’amaanyi, era mwawulira ebigambo bye nga biva mu muliro.+
37 “Olw’okuba yayagala bajjajjaabo n’alonda ezzadde lyabwe,+ yakuggya mu Misiri n’amaanyi ge amangi ng’akutaddeko amaaso ge.
38 Yagoba mu maaso go amawanga agakusinga obunene n’amaanyi, akuleete akuwe ensi yaabwe ng’obusika nga bwe kiri leero.+
39 Kale kimanye leero, era kikuumire ku mutima gwo nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi.+ Teri mulala.+
40 Era kwata ebiragiro bye n’amateeka ge bye nkuwa leero, olyoke obeere bulungi ggwe n’abaana bo abaliddawo, era osobole okuwangaala mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’akuwa.”+
41 Mu kiseera ekyo Musa yalonda ebibuga bisatu ku luuyi lwa Yoludaani+ olw’ebuvanjuba,
42 omuntu yenna anattanga munne mu butanwa ng’abadde teyamukyawa,+ asobole okuddukira mu kimu ku bibuga bino asigale nga mulamu.+
43 Ebibuga ebyo bye bino: Bezeri+ ekiri mu ddungu mu kitundu eky’omuseetwe nga kya Balewubeeni, Lamosi+ ekiri mu Gireyaadi nga kya Bagaadi, ne Golani+ ekiri mu Basani nga kya Bamanase.+
44 Gano ge Mateeka+ Musa ge yawa Abayisirayiri.
45 Kuno kwe kujjukiza, n’ebiragiro, n’amateeka Musa bye yawa Abayisirayiri nga bavudde e Misiri,+
46 nga bali mu kitundu kya Yoludaani mu kiwonvu ekiri mu maaso ga Besu-pyoli,+ mu nsi ya Sikoni kabaka w’Abaamoli eyabeeranga mu Kesuboni,+ Musa n’Abayisirayiri gwe baawangula nga bavudde e Misiri.+
47 Baatwala ensi ye n’ensi ya Ogi+ kabaka wa Basani; abo be bakabaka ababiri ab’Abaamoli abaali mu kitundu ekiri ebuvanjuba wa Yoludaani,
48 okuva mu Aloweri+ ekiri ku mabbali g’Ekiwonvu Alunoni okutuuka ku Lusozi Siyooni, kwe kugamba, Kerumooni,+
49 ne Alaba yonna mu kitundu ekiri ebuvanjuba wa Yoludaani okutuukira ddala ku Nnyanja y’omu Alaba* wansi wa Pisuga.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “ogwali gutuuka ku mutima gw’eggulu.”
^ Obut., “Ebigambo Ekkumi.”
^ Oba, “obusika bwe.”
^ Ennyanja ey’Omunnyo, oba Ennyanja Enfu.