Eseza 3:1-15

  • Kabaka awa Kamani ebitiibwa (1-4)

  • Kamani akola olukwe okutta Abayudaaya (5-15)

3  Ebyo bwe byaggwa, Kabaka Akaswero yakuza Kamani+ mutabani wa Kammedasa Omwagagi,+ era n’amugulumiza okusinga abaami abalala bonna abaali naye.+  Abaweereza ba kabaka bonna abaali ku mulyango gwa kabaka ne bavunnamiranga Kamani, kubanga kabaka bw’atyo bwe yali alagidde. Naye ye Moluddekaayi n’agaana okumuvunnamiranga.  Abaweereza ba kabaka abaali ku mulyango gwa kabaka ne bagamba Moluddekaayi nti: “Lwaki togondera kiragiro kya kabaka?”  Baamugambanga buli lunaku naye nga tabawuliriza, awo ne bagamba Kamani alabe obanga enneeyisa ya Moluddekaayi yali esobola okugumiikirizikika,+ kubanga yali yabagamba nti Muyudaaya.+  Kamani bwe yakiraba nti Moluddekaayi yali agaanye okumuvunnamira, n’asunguwala nnyo.+  Naye yalaba ng’okutta* Moluddekaayi yekka tekimala, kubanga baali bamubuulidde ebifa ku bantu ba Moluddekaayi; kyeyava atandika okunoonya engeri gy’ayinza okusaanyaawo Abayudaaya bonna, abantu ba Moluddekaayi, abaali mu bwakabaka bwa Akaswero bwonna.  Mu mwezi ogusooka, omwezi gwa Nisaani,* mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogw’obufuzi bwa Kabaka Akaswero,+ baakubira Puli+ (oba, Akalulu) mu maaso ga Kamani, okumanya olunaku n’omwezi, era akalulu ne kagwa ku mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, omwezi gwa Adali.*+  Awo Kamani n’agamba Kabaka Akaswero nti: “Waliwo abantu abasaasaanye era ababunye mu mawanga,+ mu masaza gonna ag’obwakabaka bwo.+ Amateeka gaabwe ga njawulo ku g’abantu abalala bonna era tebagondera mateeka ga kabaka; okubaleka obulesi tekirina bwe kigasa kabaka.  Bwe kiba nga kirungi mu maaso ga kabaka, ekiragiro ekiragira bazikirizibwe ka kiwandiikibwe. Nja kuwa abaami ttalanta* za ffeeza 10,000 baziteeke mu ggwanika lya kabaka.”* 10  Awo kabaka n’aggya ku mukono gwe empeta ye eramba+ n’agiwa Kamani+ mutabani wa Kammedasa Omwagagi,+ eyali omulabe w’Abayudaaya. 11  Kabaka n’agamba Kamani nti: “Ffeeza akuweereddwa era n’abantu; bikozese nga bw’olaba.” 12  Awo abawandiisi ba kabaka+ ne bayitibwa mu mwezi ogusooka ku lunaku olw’ekkumi n’essatu, ne bawandiika+ byonna Kamani bye yalagira abakungu ba kabaka ne bagavana abaali bafuga amasaza ag’enjawulo, era n’abaami abaali bakulira amawanga ag’enjawulo. Baawandiikira buli ssaza mu mpandiika yaalyo, na buli ggwanga mu lulimi lwalyo. Ebyo bye baawandiika baabiwandiika mu linnya lya Kabaka Akaswero era ne biteekebwako akabonero n’empeta ye eramba.+ 13  Awo amabaluwa ne gaweebwa ababaka ne bagatwala mu masaza ga kabaka gonna, nga galagira okusaanyaawo, n’okutta, n’okuzikiriza Abayudaaya bonna, abavubuka n’abakadde, abato n’abakazi, ku lunaku lumu, ku lunaku olw’ekkumi n’essatu olw’omwezi ogw’ekkumi n’ebiri, omwezi gwa Adali,+ era n’okunyaga ebintu byabwe.+ 14  Ebyali mu mabaluwa byali bya kuba tteeka mu buli ssaza, era byali bya kulangirirwa eri abantu bonna basobole okweteekerateekera olunaku luno. 15  Awo ababaka ne bagenda ne bakola mu bwangu+ nga kabaka bwe yali alagidde; etteeka lyayisibwa ne mu lubiri lw’e Susani.*+ Awo kabaka ne Kamani ne batuula ne banywa omwenge, naye ekibuga Susani* kyali mu kasattiro.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “ng’okussa omukono ku.”
Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Nja kuteeka ttalanta 10,000 mu ggwanika lya kabaka zisasulwe abo abanaakola omulimu.”
Oba, “Susa.”
Oba, “Susa.”