Eseza 9:1-32

  • Obuwanguzi bw’Abayudaaya (1-19)

  • Embaga ya Pulimu etandikibwawo (20-32)

9  Mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, omwezi gwa Adali,*+ ku lunaku olw’ekkumi n’essatu, ekigambo kya kabaka n’etteeka lye bwe byatuuka okussibwa mu nkola,+ ku lunaku abalabe b’Abayudaaya lwe baali balindiridde okubakajjalako, ebintu byakyuka, Abayudaaya ne bawangula abo abaali batabaagala.+  Abayudaaya baakuŋŋaana wamu mu bibuga byabwe mu masaza gonna aga Kabaka Akaswero+ okulwanyisa abo abaali baagala okubakolako akabi, era tewali muntu yasobola kubaŋŋanga kubanga abantu bonna baali bagwiriddwa entiisa y’Abayudaaya.+  Era abaami b’ebitundu bonna, n’ab’amasaza,+ ne bagavana, n’abo abaakolanga emirimu gya kabaka baayamba Abayudaaya kubanga baali batya Moluddekaayi.  Moluddekaayi yalina obuyinza bungi+ mu nnyumba* ya kabaka, era ettutumu lye lyabuna mu masaza gonna, kubanga obuyinza bwe bwagenda bweyongera.  Abayudaaya batta abalabe baabwe bonna n’ekitala, ne babazikiriza, era abo abaali batabaagala ne babakola kyonna kye baayagala.+  Mu lubiri lw’e Susani*+ Abayudaaya batta era ne bazikiriza abasajja 500.  Era batta Palusandasa ne Dalufoni ne Asupasa  ne Polasa ne Adaliya ne Alidasa  ne Palumasuta ne Alisayi ne Alidayi ne Vayizasa, 10  abaana ekkumi aba Kamani mutabani wa Kammedasa, omulabe w’Abayudaaya.+ Naye bwe baamala okubatta, tebaanyaga kintu kyonna.+ 11  Ku lunaku olwo omuwendo gw’abo abattibwa mu lubiri lw’e Susani* ne gutegeezebwa kabaka. 12  Awo kabaka n’agamba Nnaabakyala Eseza nti: “Mu lubiri lw’e Susani* Abayudaaya basse era ne bazikiriza abasajja 500 ne batabani ba Kamani ekkumi. Kiki kye bakoze mu masaza ga kabaka amalala?+ Kaakano kiki ky’osaba? Kijja kukuweebwa. Era kiki ky’oyagala nkukolere kati? Nakyo kijja kukukolerwa.” 13  Eseza n’addamu nti: “Bwe kiba nga kirungi mu maaso ga kabaka,+ n’enkya nsaba Abayudaaya abali mu Susani* bakkirizibwe okukolera ku tteeka lye bakoleddeko olwa leero;+ era ne batabani ba Kamani ekkumi ka bawanikibwe ku kikondo.”+ 14  Kabaka n’alagira bakole bwe batyo. Etteeka ne liyisibwa mu Susani,* era batabani ba Kamani ekkumi ne bawanikibwa. 15  Awo Abayudaaya abaali mu Susani* ne bakuŋŋaana ne ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi gwa Adali,+ ne batta abasajja 300 mu Susani,* naye tebaanyaga kintu kyonna. 16  Abayudaaya abalala abaali mu masaza ga kabaka nabo baakuŋŋaana wamu ne beerwanako.+ Baasaanyaawo abalabe baabwe,+ ne batta abantu 75,000 abaali batabaagala; naye tebaanyaga kintu kyonna. 17  Ebyo byaliwo ku lunaku olw’ekkumi n’essatu olw’omwezi gwa Adali, ku lunaku olw’ekkumi n’ennya ne bawummula, ne balufuula olunaku olw’okuliirako ebijjulo n’okusanyukirako. 18  Ate bo Abayudaaya abaali mu Susani* baakuŋŋaana ku lunaku olw’ekkumi n’essatu+ n’olw’ekkumi n’ennya+ olw’omwezi ogwo, era ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano ne bawummula, era ne balufuula olunaku olw’okuliirako ebijjulo n’okusanyukirako. 19  Eyo ye nsonga lwaki Abayudaaya ab’omu bibuga eby’omu masaza amalala olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi gwa Adali baalufuula lunaku lwa kusanyukirako+ era lwa kuliirako bijjulo, era lunaku lwa kujagulizaako, era lwa kuweerezaganirako mmere.+ 20  Awo Moluddekaayi+ n’awandiika ebintu ebyo era n’aweereza amabaluwa eri Abayudaaya bonna abaali mu masaza ga Kabaka Akaswero gonna, ag’okumpi n’ag’ewala. 21  Yabalagira okukuzanga olunaku olw’ekkumi n’ennya n’olw’ekkumi n’ettaano ez’omwezi gwa Adali buli mwaka, 22  kubanga ku nnaku ezo Abayudaaya baawona abalabe baabwe, era mu mwezi ogwo obuyinike bwabwe bwafuuka ssanyu, n’okukungubaga kwabwe+ ne kufuuka olunaku olw’okujagulizaako. Baalina okuzikwatanga ng’ennaku ez’okuliirako ebijjulo, ez’okusanyukirako, ez’okuweerezaganirako emmere, era ez’okuweerako abaavu ebirabo. 23  Abayudaaya bakkiriza okugenda mu maaso n’enteekateeka eyo gye baali batandise era n’okukola ekyo Moluddekaayi kye yali abawandiikidde. 24  Kubanga Kamani+ mutabani wa Kammedasa, Omwagagi,+ eyali omulabe w’Abayudaaya bonna, yali akoze olukwe okuzikiriza Abayudaaya,+ era ng’akubye Puli,+ oba Akalulu, abeeraliikirize era abazikirize. 25  Naye Eseza bwe yagenda mu maaso ga kabaka, kabaka n’ayisa etteeka mu buwandiike,+ nga ligamba nti: “Olukwe lwe yakolera Abayudaaya+ lumuddire”; era ye ne batabani be ne bawanikibwa ku kikondo.+ 26  Eyo ye nsonga lwaki ennaku ezo zaatuumibwa Pulimu ekiva mu kigambo Puli.*+ Bwe kityo, olw’ebyo byonna ebyali biwandiikiddwa mu bbaluwa n’olw’ebyo bye baali balabye ebikwata ku nsonga eno n’ebyali bibatuuseeko, 27  Abayudaaya beeteerawo etteeka nti bo ne bazzukulu baabwe n’abantu bonna abanaabeegattangako tebalekangayo+ kukuza nnaku ezo ebbiri mu biseera byazo buli mwaka n’okukola ebyo ebyali biwandiikiddwa okukolebwa ku nnaku ezo. 28  Era ennaku ezo zaali za kujjukirwanga era nga za kukuzibwa buli mulembe, buli maka, buli ssaza, na buli kibuga. Ennaku zino eza Pulimu tezaalina kuggibwawo mu Bayudaaya era bazzukulu baabwe tebaalina kulekayo kuzijjukiranga. 29  Nnaabakyala Eseza, muwala wa Abikayiri, ne Moluddekaayi Omuyudaaya baakozesa obuyinza bwabwe ne bawandiika okukakasa ebbaluwa ey’okubiri ekwata ku Pulimu. 30  Awo ebbaluwa ne ziweerezebwa eri Abayudaaya bonna abaali mu masaza 127+ ag’omu bwakabaka bwa Akaswero,+ nga zirimu ebigambo eby’emirembe n’amazima, 31  okukakasa okukwatibwa kw’ennaku za Pulimu mu biseera byazo ebyateekebwawo, nga Moluddekaayi Omuyudaaya ne Nnaabakyala Eseza bwe baabalagira,+ era nga nabo bennyini bwe baali bakyetaddeko ne bazzukulu baabwe okuzikwatanga,+ nga mwe muli n’okusiiba+ n’okwegayirira.+ 32  Ekiragiro kya Eseza kyakakasa ensonga ezo ezikwata ku Pulimu+ era ne kiwandiikibwa mu kitabo.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “lubiri.”
Oba, “Susa.”
Oba, “Susa.”
Oba, “Susa.”
Oba, “Susa.”
Oba, “Susa.”
Oba, “Susa.”
Oba, “Susa.”
Oba, “Susa.”
“Puli,” kitegeeza “Akalulu,” ate “Pulimu” kitegeeza “Obululu,” era okwo kwe kwava erinnya ly’Embaga y’Abayudaaya eyitibwa “Pulimu,” ekwatibwa mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri ku kalenda entukuvu. Laba Ebyong. B15.