Ezeekyeri 12:1-28
12 Era Yakuwa n’ayogera nange, n’aŋŋamba nti:
2 “Omwana w’omuntu, oli mu b’ennyumba enjeemu. Balina amaaso ag’okulaba, naye tebalaba; balina amatu ag’okuwulira, naye tebawulira,+ kubanga ba mu nnyumba njeemu.+
3 Kale ggwe omwana w’omuntu, siba omugugu gwo ng’omuntu agenda mu buwaŋŋanguse. Awo emisana nga balaba ojja kugenda mu buwaŋŋanguse. Va w’obeera owaŋŋangukire mu kifo ekirala nga balaba. Oboolyawo banaalabuka, wadde nga ba mu nnyumba njeemu.
4 Emisana nga balaba, fulumya omugugu gwo gw’osibye okugenda nagwo mu buwaŋŋanguse, era akawungeezi nga balaba, ogende ng’olinga omuntu atwalibwa mu buwaŋŋanguse.+
5 “Kuba ekituli mu kisenge nga balaba, oyiseemu ebintu byo.+
6 Teeka ebintu byo ku kibegaabega nga balaba, obifulumye mu nzikiza. Weebikke mu maaso obe nga tosobola kulaba wansi, kubanga nkufudde akabonero eri ennyumba ya Isirayiri.”+
7 Ne nkola nga bwe nnalagirwa. Nnafulumya omugugu gwange emisana, omugugu ng’ogw’okugenda nagwo mu buwaŋŋanguse, era akawungeezi ne nkuba ekituli mu kisenge nga nkozesa emikono gyange. Era bwe bwaziba, ne nfulumya ebintu byange nga balaba, nga mbisitulidde ku kibegaabega.
8 Ku makya, Yakuwa n’addamu okwogera nange, n’aŋŋamba nti:
9 “Omwana w’omuntu, ab’ennyumba ya Isirayiri, ennyumba enjeemu, tebakubuuzizza nti, ‘Okola ki?’
10 Bagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Obubaka buno bukwata ku mwami+ ali mu Yerusaalemi n’ab’ennyumba ya Isirayiri bonna abali mu kibuga.”’
11 “Bagambe nti, ‘Ndi kabonero gye muli.+ Ekyo kye nkoze kye kijja okubakolebwa. Bajja kugenda mu buwaŋŋanguse, mu buwambe.+
12 Omwami ali mu bo ajja kusitulira ebintu bye ku kibegaabega agendere mu nzikiza. Ajja kukuba ekituli mu kisenge ayiseemu ebintu bye.+ Era ajja kwebikka mu maaso aleme kulaba wansi.’
13 Nja kumusuulako ekitimba kyange, era kijja kumukwasa.+ Nja kumutwala e Babulooni mu nsi y’Abakaludaaya, naye tajja kukiraba; era eyo gy’ajja okufiira.+
14 Era abo bonna abali naye, abamuyamba, n’amagye ge, nja kubasaasaanya mu njuyi zonna;+ nja kusowolayo ekitala kibawondere.+
15 Era bajja kumanya nti nze Yakuwa, bwe nnaabasaasaanyiza mu mawanga ne mu nsi ez’enjawulo.
16 Naye abamu ku bo nja kubawonya okuttibwa ekitala, enjala, n’endwadde, basobole okwogera ku bikolwa byabwe byonna eby’omuzizo nga bali mu mawanga gye banaaba bagenze; era bajja kumanya nga nze Yakuwa.”
17 Era Yakuwa n’ayogera nange, n’aŋŋamba nti:
18 “Omwana w’omuntu, emmere yo girye ng’okankana, n’amazzi go ganywe ng’ojugumira, era ng’oli mweraliikirivu.+
19 Gamba abantu b’omu nsi nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba abantu ab’omu Yerusaalemi, mu nsi ya Isirayiri: “Bajja kulya emmere yaabwe nga beeraliikirivu, era bajja kunywa amazzi gaabwe nga bali mu kutya, kubanga ensi yaabwe ejja kufuuka matongo+ olw’ebikolwa eby’obukambwe eby’abantu bonna abagirimu.+
20 Ebibuga ebirimu abantu bijja kuzikirizibwa, n’ensi ejja kufuuka matongo;+ era mujja kumanya nti nze Yakuwa.”’”+
21 Era Yakuwa n’ayogera nange n’aŋŋamba nti:
22 “Omwana w’omuntu, lugero ki luno lwe mulina mu Isirayiri olugamba nti, ‘Ennaku ziyitawo naye tewali kwolesebwa kwonna kutuukirira’?+
23 Kale bategeeze nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “Ŋŋenda kukomya olugero olwo, era tebajja kuddamu kulukozesa mu Isirayiri.”’ Naye bagambe nti, ‘Ekiseera kinaatera okutuuka,+ era okwolesebwa kwonna kujja kutuukirira.’
24 Kubanga mu nnyumba ya Isirayiri+ temujja kuddamu kubaamu kwolesebwa kwa bulimba wadde okulagula okw’obulimba.
25 ‘“Nze Yakuwa nja kwogera, era ekigambo kyonna kye nnaayogera kijja kutuukirira awatali kulwa.+ Mu nnaku zammwe,+ mmwe ab’omu nnyumba enjeemu, nja kwogera ekigambo era nkituukirize,” bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.’”
26 Era Yakuwa n’ayogera nange n’aŋŋamba nti:
27 “Omwana w’omuntu, abantu b’omu* Isirayiri bagamba nti, ‘Ebyo by’alaba mu kwolesebwa bya kubaawo mu biseera bya mu maaso, n’ebyo by’alanga bikwata ku biseera bya mu maaso nnyo.’+
28 Kale bagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: “‘Tewali kigambo kyange na kimu kijja kulwa; byonna bye njogera bijja kutuukirira,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”’”
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “ennyumba ya.”