Ezeekyeri 26:1-21
26 Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, ku lunaku olusooka olw’omwezi, Yakuwa yayogera nange n’aŋŋamba nti:
2 “Omwana w’omuntu, olw’okuba Ttuulo kyogedde ku Yerusaalemi nti,+ ‘Otyo! Omulyango gw’amawanga gumenyeddwa!+ Kaakano nga bwe kifuuse amatongo, ebintu byonna bijja kujja gye ndi ngaggawale’;
3 kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Laba, ndi mulabe wo ggwe Ttuulo, era ng’ennyanja bw’esitula amayengo gaayo, nange nja kuleeta amawanga mangi gakulwanyise.
4 Gajja kuzikiriza bbugwe wa Ttuulo era gamenye n’eminaala gyakyo,+ era nja kukikalakatako ettaka nkifuule olwazi olwereere olumasamasa.
5 Kijja kufuuka ekifo we baanika obutimba mu nnyanja.’+
“‘Nze nkyogedde,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna, ‘era amawanga gajja kukinyagulula.
6 N’abantu* abali mu bubuga bwakyo obw’omu byalo bajja kuttibwa n’ekitala, era abantu bajja kumanya nti nze Yakuwa.’
7 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Ŋŋenda kuleeta Nebukadduneeza* kabaka wa Babulooni alumbe Ttuulo ng’ava ebukiikakkono;+ ye kabaka wa bakabaka,+ era alina embalaasi,+ amagaali ag’olutalo,+ abeebagala embalaasi, n’eggye eririmu abasirikale abangi.*
8 Abantu abali mu bubuga bwo obw’omu byalo ajja kubazikiriza n’ekitala. Ajja kukuzimbako ekigo, akukoleko ekifunvu eky’okuyimako okukulwanyisa, era akulwanyise ng’alina engabo ennene.
9 Ajja kukoona bbugwe wo ng’akozesa ebyuma ebimenya ebisenge, era amenye n’eminaala gyo ng’akozesa embazzi.*
10 Embalaasi ze zijja kuba nnyingi, era zijja kusitula enfuufu ekubikke. Bw’anaaba ayingira mu miryango gyo, omusinde gw’embalaasi, ogwa nnamuziga, n’ogw’amagaali gujja kukankanya bbugwe wo nga bwe kiba ng’abantu bayingira mu kibuga ekirina bbugwe omumenyefu.
11 Ebinuulo by’embalaasi ze bijja kulinnyirira enguudo zo zonna;+ ajja kutta abantu bo n’ekitala, era empagi zo ez’amaanyi zijja kugwa wansi.
12 Bajja kunyaga eby’obugagga byo n’ebyamaguzi byo,+ era bamenye bbugwe wo n’ennyumba zo ezirabika obulungi; amayinja go, n’embaawo zo, n’ettaka lyo bajja kubisuula mu mazzi.’
13 “‘Nja kusirisa amaloboozi g’ennyimba zo, era n’entongooli zo tezijja kuddamu kuwulirwa.+
14 Nja kukufuula olwazi olwereere olumasamasa, era ojja kufuuka ekifo ekyanikibwamu obutimba.+ Tojja kuddamu kuzimbibwa, kubanga nze Yakuwa nze nkyogedde,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
15 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba Ttuulo: ‘Ebizinga tebiikankane bwe binaawulira omusinde gw’okugwa kwo, n’okusinda kw’abo abanaaba bafa,* bwe wanaabaawo okusanjaga abantu mu ggwe?+
16 Abaami b’oku nnyanja bonna bajja kukankana,* era bajja kuva ku ntebe zaabwe, baggyemu eminagiro gyabwe,* era bambulemu n’ebyambalo byabwe ebiriko amasiira. Bajja kutuula wansi nga bakankana buli kiseera, bakutunuulire beewuunye.+
17 Bajja kukuyimbira oluyimba olw’okukungubaga+ bakugambe nti:
“‘“Ng’ozikiridde+ ggwe ekibuga ekyatenderezebwanga, ekyabeerangamu abalunnyanja!
Ggwe n’abatuuze bo mwali ba maanyi nnyo ku nnyanja,+Nga muleetera abantu b’omu nsi yonna entiisa.
18 Ebizinga bijja kukankana ku lunaku lw’onoogwa,Ebizinga by’omu nnyanja bijja kweraliikirira ng’ogenze.”’+
19 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Bwe nnaakufuula amatongo ng’ebibuga ebitabeeramu bantu, bwe nnaaleeta amazzi ageefuukuula ne gakubuutikira, era amazzi amangi ne gakubikka,+
20 ggwe awamu n’abo abaserengeta mu kinnya* nja kubatwala eri abantu ab’edda; ggwe awamu n’abo abaserengeta mu kinnya+ nja kubaleetera okubeera mu bifo ebisingayo okuba ebya wansi, ebiringa ebifo eby’edda ebyafuuka amatongo, oleme kubeeramu bantu, olwo ndyoke ngulumize* ensi y’abalamu.
21 “‘Nja kukuleetako entiisa ey’amangu, era ojja kulekera awo okubaawo.+ Bajja kukunoonya naye tojja kuddamu kulabibwa,’ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “Ne bawala be.”
^ Obut., “amawanga amangi.”
^ Oba, “ebitala.”
^ Obut., “kw’abo abattiddwa.”
^ Obut., “bajja kwambala okukankana.”
^ Oba, “ebizibaawo byabwe ebitaliiko mikono.”
^ Oba, “ntaana.”
^ Oba, “ntoneetone.”