Ezeekyeri 30:1-26
30 Yakuwa era n’ayogera nange n’aŋŋamba nti:
2 “Omwana w’omuntu langirira nti, ‘Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
“Mukube ebiwoobe nga mugamba nti, ‘Zitusanze kubanga olunaku lujja!’
3 Mukube ebiwoobe kubanga olunaku luli kumpi, olunaku lwa Yakuwa luli kumpi.+
Lujja kuba lunaku lwa bire,+ ekiseera ky’amawanga ekigereke.+
4 Misiri ejja kulumbibwa n’ekitala, era Esiyopiya ejja kutya nnyo abantu bwe banattibwa mu Misiri;Obugagga bwayo butwaliddwa, era emisingi gyayo gimenyeddwa.+
5 Abantu b’omu Esiyopiya,+ n’ab’omu Puti,+ n’ab’omu Ludi, n’ab’omu mawanga amalala,N’ab’omu Kubu, awamu n’abaana b’omu nsi ya Isirayiri abali mu ndagaano,*Bonna bajja kuttibwa n’ekitala.”’
6 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
‘N’abo abayamba Misiri bajja kugwa,Era n’amaanyi ga Misiri ge yeenyumiririzaamu gajja kuggwaawo.’+
“‘Abantu bajja kuttibwa n’ekitala mu nsi okuva e Migudooli+ okutuuka e Seyene,’+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
7 ‘Ensi ya Misiri ejja kufuulibwa matongo okusinga ensi endala ezaali zifuuse amatongo, n’ebibuga byayo bijja kufuuka matongo okusinga ebibuga ebirala ebyali bifuuse amatongo.+
8 Bajja kumanya nti nze Yakuwa, bwe nnaakuma omuliro mu Misiri abo bonna abagiyamba ne bazikirizibwa.
9 Ku lunaku olwo nja kutuma ababaka bagendere ku byombo bakankanye Esiyopiya eterina ky’etya; abantu b’omu Esiyopiya bajja kutya nnyo ku lunaku olugenda okujjira Misiri, kubanga olunaku olwo luteekwa okujja.’
10 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Nja kukozesa Nebukadduneeza* kabaka wa Babulooni+ okuzikiriza abantu b’e Misiri.
11 Ye n’abasirikale be abasingayo obukambwe mu mawanga,+ bajja kuleetebwa bazikirize ensi eyo. Bajja kusowolayo ebitala byabwe balwanyise Misiri, era bajja kugijjuza emirambo gy’abo abanattibwa.+
12 Nja kukaliza obugga obuva ku Kiyira,+ era ensi nja kugiwaayo* mu mikono gy’abantu ababi. Nja kukozesa abagwira okufuula ensi eyo amatongo n’okwonoona byonna ebigirimu.+ Nze Yakuwa nze nkyogedde.’
13 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Nja kuzikiriza ebifaananyi ebyenyinyaza* awamu ne bakatonda abatalina mugaso ab’omu Noofu.*+ Ensi ya Misiri tejja kuddamu kuba na mwami Mumisiri, era nja kugireetamu entiisa.+
14 Pasuloosi+ nja kukifuula matongo, nkume omuliro mu Zowani, n’ekibuga No*+ nkibonereze.
15 Nja kufuka obusungu bwange ku Sini, ekigo kya Misiri, era n’abantu b’omu No nja kubazikiriza.
16 Nja kukuma omuliro mu Misiri; era ekibuga Sini kijja kufuna entiisa, bbugwe wa No ajja kumenyebwa, era ne Noofu* kijja kulumbibwa misana ttuku!
17 Abavubuka b’omu Oni* n’ab’omu Pibesesi bajja kuttibwa n’ekitala, era abantu b’omu bibuga ebirala bajja kutwalibwa mu buwambe.
18 Ekizikiza kijja kukwata mu Tapanesi bwe nnaamenyerayo ebikoligo bya Misiri,+ era amaanyi Misiri ge yeenyumiririzaamu gajja kuggwaawo.+ Ebire bijja kubikka Tapanesi, era abantu abali mu bubuga bwakyo bajja kutwalibwa mu buwambe.+
19 Nja kusalira Misiri omusango, era bajja kumanya nti nze Yakuwa.’”
20 Ku lunaku olw’omusanvu olw’omwezi ogusooka, mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, Yakuwa yayogera nange n’aŋŋamba nti:
21 “Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, kabaka wa Misiri; tegujja kusibibwa gusobole okuwona wadde okusibibwako ekiwero gube n’amaanyi agakwata ekitala.”
22 “Kale bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba, ‘Laba ŋŋenda kulwanyisa Falaawo kabaka wa Misiri,+ era nja kumenya emikono gye gyombi, ogw’amaanyi n’ogwo ogumenyese,+ era nja kumusuuza ekitala ky’akutte,+
23 olwo ndyoke nsaasaanye Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ez’enjawulo.+
24 Nja kuwa emikono gya kabaka wa Babulooni+ amaanyi* mmukwase ekitala kyange,+ era nja kumenya emikono gya Falaawo, era ajja kusindira mu maaso ga kabaka wa Babulooni ng’omuntu anaatera okufa bw’asinda.
25 Nja kuwa emikono gya kabaka wa Babulooni amaanyi, naye emikono gya Falaawo gijja kunafuwa; era bajja kumanya nti nze Yakuwa bwe nnaateeka ekitala kyange mu mukono gwa kabaka wa Babulooni n’akikozesa okulwanyisa ensi ya Misiri.+
26 Abamisiri nja kubasaasaanya mu mawanga ne mu nsi ez’enjawulo;+ era bajja kumanya nti nze Yakuwa.’”
Obugambo Obuli Wansi
^ Oboolyawo wano boogera ku Bayisirayiri abaali mu mukago ne Misiri.
^ Obut., “Nebukadduleeza,” engeri endala erinnya eryo gye liwandiikibwamu.
^ Obut., “nja kugitunda.”
^ Oba, “Menfisi.”
^ Kwe kugamba, Tebesi
^ Oba, Menfisi.
^ Kwe kugamba, Keriyopolisi.
^ Oba, “Nja kwongera kabaka wa Babulooni amaanyi.”