Ezeekyeri 48:1-35
48 “Gano ge mannya g’ebika okuva ku nsalo ey’ebukiikakkono: Ekitundu kya Ddaani+ kiyita ku kkubo ly’e Kesulooni ne kigenda e Lebo-kamasi,*+ n’e Kazalu-enaani, okuyita ku nsalo ya Ddamasiko ku ludda olw’ebukiikakkono, emabbali ga Kamasi;+ kiva ku nsalo ey’ebuvanjuba ne kituuka ku nsalo ey’ebugwanjuba.
2 Ekitundu kya Aseri+ kiriraanye ensalo ya Ddaani, okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba.
3 Ekitundu kya Nafutaali+ kiriraanye ensalo ya Aseri, okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba.
4 Ekitundu kya Manase+ kiriraanye ensalo ya Nafutaali, okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba.
5 Ekitundu kya Efulayimu kiriraanye ensalo ya Manase,+ okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba.
6 Ekitundu kya Lewubeeni kiriraanye ensalo ya Efulayimu,+ okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba.
7 Ekitundu kya Yuda kiriraanye ensalo ya Lewubeeni,+ okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba.
8 Ku nsalo ya Yuda, okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba, mujja kulekawo ekitundu kya mikono* 25,000 obugazi,+ era obuwanvu bwakyo bujja kuba bwenkana obw’ebitundu by’ebika ebirala okuva ku nsalo ey’ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey’ebugwanjuba. Ekifo ekitukuvu kijja kuba wakati mu kitundu ekyo.
9 “Ekitundu kye munaayawulawo okuba ekya Yakuwa kijja kuba emikono 25,000 obuwanvu n’emikono 10,000 obugazi.
10 Ekitundu kino ekitukuvu kijja kuba kya bakabona.+ Kijja kuba emikono 25,000 ku luuyi olw’ebukiikakkono, emikono 10,000 ku luuyi olw’ebugwanjuba, emikono 10,000 ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’emikono 25,000 ku luuyi olw’ebukiikaddyo. Yeekaalu ya Yakuwa ejja kuba wakati mu kyo.
11 Kijja kuba kya bakabona abatukuziddwa ab’omu zzadde lya Zadooki,+ abaatuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe gye ndi, era abataawaba, Abayisirayiri n’Abaleevi bwe baawaba.+
12 Bajja kuweebwa ekitundu okuva ku kitundu ekyawuliddwawo ng’ekisingayo okuba ekitukuvu, ekiri ku nsalo y’Abaleevi.
13 “Abaleevi bajja kuba n’ekitundu nga kiriraanye ekya bakabona. Kijja kuba emikono 25,000 obuwanvu n’emikono 10,000 obugazi. (Ekitundu kyonna awamu kijja kuba emikono 25,000 obuwanvu n’emikono 10,000 obugazi.)
14 Ekitundu kino kye kisingayo obulungi mu nsi; tebakitundangako, era tebakiwaanyisangamu ekirala, wadde okukigabira abalala, kubanga kintu kitukuvu eri Yakuwa.
15 “Ekitundu ekisigaddewo eky’emikono 5,000 obugazi n’emikono 25,000 obuwanvu, kijja kukozesebwa abantu b’omu kibuga.+ Kijja kuba kya kuzimbamu n’okulundiramu, era ekibuga kijja kuba wakati mu kitundu ekyo.+
16 Bino bye bipimo by’ekibuga: ensalo ey’ebukiikakkono emikono 4,500, ensalo ey’ebukiikaddyo emikono 4,500, ensalo ey’ebuvanjuba emikono 4,500, n’ensalo ey’ebugwanjuba emikono 4,500.
17 Ettaka ly’ekibuga ery’okulundirako lijja kuba emikono 250 ku luuyi olw’ebukiikakkono, emikono 250 ku luuyi olw’ebukiikaddyo, emikono 250 ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’emikono 250 ku luuyi olw’ebugwanjuba.
18 “Ekitundu ekisigaddewo kijja kuba nga kyenkana n’ekitundu ekitukuvu obuwanvu.+ Kijja kuba emikono 10,000 ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’emikono 10,000 ku luuyi olw’ebugwanjuba. Obuwanvu bwakyo bujja kuba bwenkana n’obw’ekitundu ekitukuvu. Emmere eneerimwangamu ejja kuba y’abo abakola emirimu mu kibuga.
19 Abo abakola emirimu mu kibuga, abava mu bika byonna ebya Isirayiri, be banaakirimirangamu.+
20 “Ekitundu kyonna ekitukuvu kyenkanankana ku njuyi zaakyo ennya, era buli luuyi lwa mikono 25,000. Ekitundu ekyo ojja kukyawulawo ng’ekitundu ekitukuvu awamu n’ettaka ly’ekibuga.
21 “Ekitundu ekinaaba kisigaddewo ku njuyi zombi ez’ekitundu ekitukuvu n’ettaka ly’ekibuga, kijja kuba kya mwami.+ Kijja kuba kiriraanye ensalo ez’emikono 25,000 ku luuyi olw’ebuvanjuba n’olw’ebugwanjuba w’ekitundu ekitukuvu. Obuwanvu bwakyo bujja kuba bwenkana n’obw’ebitundu ebikiriraanye era kijja kuba kya mwami. Ekitundu ekitukuvu n’ekifo ekitukuvu ekya yeekaalu bijja kuba mu kitundu ekyo wakati.
22 “Ekitundu ky’Abaleevi n’ettaka ly’ekibuga bijja kuba wakati w’ekitundu ky’omwami. Ekitundu ky’omwami kijja kuba wakati w’ensalo ya Yuda+ n’eya Benyamini.
23 “Bino bye bijja okuba ebitundu by’ebika ebirala ebisigaddewo: Ekitundu kya Benyamini kiva ku nsalo ey’ebuvanjuba ne kituuka ku nsalo ey’ebugwanjuba.+
24 Ekitundu kya Simiyoni kiriraanye ensalo ya Benyamini,+ kiva ku nsalo ey’ebuvanjuba ne kituuka ku nsalo ey’ebugwanjuba.
25 Ekitundu kya Isakaali+ kiriraanye ensalo ya Simiyoni, kiva ku nsalo ey’ebuvanjuba ne kituuka ku nsalo ey’ebugwanjuba.
26 Ekitundu kya Zebbulooni kiriraanye ensalo ya Isakaali,+ kiva ku nsalo ey’ebuvanjuba ne kituuka ku nsalo ey’ebugwanjuba.+
27 Ekitundu kya Gaadi kiriraanye ensalo ya Zebbulooni,+ kiva ku nsalo ey’ebuvanjuba ne kituuka ku nsalo ey’ebugwanjuba.
28 Ensalo ey’ebukiikaddyo eriraanye ensalo ya Gaadi eva e Tamali+ n’etuuka ku mazzi g’e Meribasu-kadesi,+ ne ku Kiwonvu,*+ ne yeeyongerayo ku Nnyanja Ennene.*
29 “Eno ye nsi gye munaagabanyizaamu ebika bya Isirayiri+ okuba obusika bwabwe, era egyo gye ginaaba emigabo gyabwe,”+ bw’ayogera Yakuwa Mukama Afuga Byonna.
30 “Gino gye ginaaba emiryango egifuluma mu kibuga: Oludda olw’ebukiikakkono lujja kuba emikono 4,500.+
31 “Emiryango gy’ekibuga gijja kutuumibwa amannya okusinziira ku mannya g’ebika bya Isirayiri. Emiryango esatu egy’oku luuyi olw’ebukiikakkono, ogumu gujja kuba gwa Lewubeeni, omulala gwa Yuda, n’omulala nga gwa Leevi.
32 “Oluuyi olw’ebuvanjuba lujja kuba emikono 4,500 obuwanvu, era wajja kubaayo emiryango esatu, ng’ogumu gwa Yusufu, omulala gwa Benyamini, n’omulala nga gwa Ddaani.
33 “Oluuyi olw’ebukiikaddyo lujja kuba emikono 4,500, era wajja kubaayo emiryango esatu, ng’ogumu gwa Simiyoni, omulala gwa Isakaali, n’omulala nga gwa Zebbulooni.
34 “Oluuyi olw’ebugwanjuba lujja kuba emikono 4,500 obuwanvu, era wajja kubaayo emiryango esatu, ng’ogumu gwa Gaadi, omulala gwa Aseri, n’omulala nga gwa Nafutaali.
35 “Bbugwe ajja kuba emikono 18,000. Era okuva ku olwo erinnya ly’ekibuga ekyo linaabanga, Yakuwa Ali Omwo.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “awayingirirwa e Kamasi.”
^ Kino kyali kipimo eky’omukono omuwanvu. Laba Ebyong. B14.
^ Ennyanja Meditereniyani.
^ Kwe kugamba, Ekiwonvu ky’e Misiri.