Ezera 4:1-24

  • Okuziyiza omulimu gw’okuzimba yeekaalu (1-6)

  • Abalabe baweereza okwemulugunya kwabwe eri Kabaka Alutagizerugiizi (7-16)

  • Alutagizerugiizi abaddamu (17-22)

  • Okuzimba yeekaalu kuyimirizibwamu (23, 24)

4  Abalabe ba Yuda ne Benyamini+ bwe baawulira nti abaali bavudde mu buwaŋŋanguse+ baali bazimbira Yakuwa Katonda wa Isirayiri yeekaalu,  amangu ago ne bagenda eri Zerubbaberi n’abakulu b’ennyumba za bakitaabwe ne babagamba nti: “Ka tuzimbe nammwe, kubanga naffe tusinza* Katonda wammwe+ era tubadde tuwaayo ssaddaaka gy’ali okuva mu kiseera kya Esalu-kaddoni+ kabaka wa Bwasuli eyatuleeta eno.”+  Kyokka Zerubbaberi ne Yesuwa n’abakulu b’ennyumba za bakitaabwe ba Isirayiri abalala ne babagamba nti: “Mmwe temulina kuzimba naffe nnyumba ya Katonda waffe;+ ffe tujja okuzimbira Yakuwa Katonda wa Isirayiri ennyumba nga Kabaka Kuulo owa Buperusi bwe yatulagira.”+  Awo abantu b’omu bitundu ebyali byetooloddewo ne beeyongera okumalamu abantu b’omu Yuda amaanyi* era n’okubaterebula babalemese okuzimba.+  Baapangisa abawi b’amagezi basobole okugootaanya enteekateeka zaabwe,+ ekiseera kyonna Kuulo kye yamala nga ye kabaka wa Buperusi okutuusiza ddala mu bufuzi bwa Daliyo+ kabaka wa Buperusi.  Ku ntandikwa y’obufuzi bwa Akaswero waliwo ekiwandiiko kye baawandiika nga bavunaana abantu b’omu Yuda n’ab’omu Yerusaalemi.  Ne mu kiseera kya Alutagizerugiizi kabaka wa Buperusi, Bisulamu ne Misuledasi ne Tabeeri ne banne abalala baawandiikira Kabaka Alutagizerugiizi ebbaluwa; ebbaluwa eyo baagivvuunula mu lulimi Olulamayiki+ era baagiwandiika mu nnukuta ez’Olulamayiki.*  * Lekumu omukungu wa gavumenti omukulu ne Simusayi omuwandiisi baawandiikira Kabaka Alutagizerugiizi ebbaluwa nga bavunaana abantu b’omu Yerusaalemi. Ebbaluwa eyo yali egamba bw’eti:  (Yava wa Lekumu omukungu wa gavumenti omukulu ne Simusayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala, abalamuzi ne bagavana abalala, abawandiisi, abantu b’omu Ereki,+ Abababulooni, abantu b’omu Susa,+ kwe kugamba, Abeeramu,+ 10  ab’amawanga amalala Asenappali omukulu era ow’ekitiibwa be yawaŋŋangusa n’abasenza mu bibuga by’e Samaliya,+ n’abalala abaali emitala w’Omugga;* era 11  bino bye byali mu bbaluwa gye baamuweereza.) “Eri Kabaka Alutagizerugiizi, okuva eri abaweereza bo, abasajja ab’Emitala w’Omugga: Kaakano 12  kabaka k’akimanye nti Abayudaaya abaava gy’oli okujja eno gye tuli baatuuka e Yerusaalemi. Bazzeemu okuzimba ekibuga ekibi era ekijeemu, era bali mu kumaliriza bbugwe+ n’okuddaabiriza emisingi. 13  Kabaka akimanye nti singa ekibuga kino kiddamu okuzimbibwa era ne bbugwe waakyo n’amalirizibwa, tebajja kuwa musolo, mpooza,+ wadde omusolo gw’oku nguudo, era ekyo kijja kufiiriza amawanika ga bakabaka. 14  Olw’okuba omusaala gwaffe guva mu lubiri,* ate era nga si kirungi kulaba kabaka ng’afiirizibwa, kyetuvudde tuweereza ebbaluwa eno tutegeeze kabaka ebintu bino, 15  wabeewo okunoonyereza mu kitabo ky’ebyafaayo bya bajjajjaabo.+ Ojja kukizuula mu kitabo ky’ebyafaayo nti ekibuga ekyo kibuga kijeemu era kya mutawaana eri bakabaka n’amasaza, era nti okuva edda kibaddengamu abajeemesa abalala. Eyo ye nsonga lwaki kyazikirizibwa.+ 16  Tutegeeza kabaka nti singa ekibuga ekyo kiddamu okuzimbibwa era bbugwe waakyo n’amalirizibwa, ojja kuba tokyalina buyinza* ku bitundu ebiri Emitala w’Omugga.”+ 17  Awo kabaka n’aweereza obubaka buno eri Lekumu omukungu wa gavumenti omukulu ne Simusayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abaali babeera mu Samaliya ne mu bitundu ebirala ebiri Emitala w’Omugga: “Mbalamusizza! 18  Ebbaluwa gye mwatuweereza baginsomedde* ne ngitegeera bulungi. 19  Nnawadde ekiragiro ne banoonyereza ne bakizuula nti okuva edda ekibuga ekyo kyali kijeemera bakabaka era nti kyalingamu obwediimo n’obwegugungo.+ 20  Waaliwo bakabaka ab’amaanyi abaafuganga Yerusaalemi n’ebitundu byonna ebiri Emitala w’Omugga, era baasasulwanga omusolo n’empooza awamu n’omusolo ogw’oku nguudo. 21  Kaakano mulagire abasajja abo balekere awo okukola, ekibuga ekyo kireme kuddamu kuzimbibwa okutuusa nga mpadde ekiragiro. 22  Ensonga eno temugiragajjalira, kabaka aleme kweyongera kufiirizibwa.”+ 23  Ebbaluwa ya Kabaka Alutagizerugiizi bwe yamala okusomebwa mu maaso ga Lekumu ne Simusayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala, baagenda eri Abayudaaya e Yerusaalemi mu bwangu ne babayimiriza lwa mpaka. 24  Awo omulimu ogwali gukolebwa ku nnyumba ya Katonda eyali e Yerusaalemi ne guyimirira; gwayimirira okutuusa mu mwaka ogw’okubiri ogw’obufuzi bwa Daliyo kabaka wa Buperusi.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “tunoonya.”
Obut., “okunafuya emikono gy’abantu ba Yuda.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “yawandiikibwa mu Lulamayiki n’oluvannyuma n’evvuunulwa.”
Ezera 4:8 okutuuka ku 6:18 okusooka zaawandiikibwa mu Lulamayiki.
Oba, “w’Omugga Fulaati.”
Obut., “tulya omunnyo ogw’omu lubiri.”
Obut., “mugabo.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “evvuunuddwa era n’esomebwa.”