Isaaya 34:1-17
34 Musembere kumpi mmwe amawanga muwulire,Musseeyo omwoyo mmwe abantu.
Ensi ne byonna ebigirimu ka biwulirize,Ettaka n’ebintu byonna ebiririko.
2 Kubanga Yakuwa asunguwalidde amawanga gonna,+Era alina ekiruyi ku magye gaago gonna.+
Aligazikiriza;Aligawaayo okuttibwa.+
3 Abantu baago abaliba battiddwa balisuulibwa ebweru,Ekivundu ekiriva mu mirambo gyabwe kiryambuka;+Ensozi zirisaanuuka olw’omusaayi* gwabwe.+
4 Eggye lyonna ery’oku ggulu lirivunda,Era eggulu lirizingibwako ng’omuzingo.
Eggye lyabwe lyonna liriwotoka ne ligwa,Ng’ekikoola ekiwotose bwe kiva ku muzabbibu ne kigwaEra ng’ettiini erikaze bwe liva ku mutiini ne ligwa.
5 “Kubanga ekitala kyange kiritotobalira+ mu ggulu.
Kirikka ku Edomu okutuukiriza omusango ogwagisalirwa,+Kirikka ku bantu be nnasalawo okuzikiriza.
6 Yakuwa alina ekitala; kiribuna omusaayi.
Kirijjula amasavu,+Kirijjula omusaayi gw’endiga ento ennume n’ogw’embuzi,Kirijjula amasavu g’ensigo z’endiga ennume.
Kubanga Yakuwa ateeseteese ssaddaaka mu Bozula,Walibaawo okutta kungi mu nsi ya Edomu.+
7 Sseddume ez’omu nsiko ziriserengeta wamu nazo,Ente ento ennume wamu n’ente ennume ez’amaanyi.
Ensi yaazo erinnyikira omusaayi,N’enfuufu yaazo erinnyikira amasavu.”
8 Kubanga Yakuwa alina olunaku olw’okuwoolerako eggwanga,+Alina omwaka ogw’okwesasuza olw’ebintu ebibi bye baakola Sayuuni.+
9 Emigga gyamu* girifuuka zefesi,*N’enfuufu yaakyo erifuuka amayinja agookya,Era ensi yaakyo erifuuka nga zefesi ayaka.
10 Terizikira ekiro n’emisana;Omukka gwayo gulyambuka emirembe n’emirembe.
Erisigala matongo emirembe gyonna;Tewaliba n’omu aligiyitamu emirembe n’emirembe.+
11 Erifuuka ya kimbala ne nnamunnungu,Era ebiwuugulu eby’amatu amawanvu ne nnamuŋŋoona biribeera eyo.
Katonda alikozesa omuguwa ogupima ne bbirigi okupima ensi eyoOkulaga nti eriba njereere era nti erizikirizibwa.
12 Tewali n’omu ku bakungu baayo alifuulibwa kabaka,Abaami baayo bonna baliggwaawo.
13 Amaggwa galimera mu minaala gyayo,N’omwennyango n’omuddo ogw’amaggwa birimera mu bigo byayo.
Eriba kisulo kya bibe,+Era eriba kikomera kya maaya.
14 Ensolo ez’omu ddungu zirisisinkana n’ensolo eziwoowoola,N’embuzi ey’omu nsiko* eriyita ginnaayo.
Eyo olubugabuga gye lulibeera era gye lulifuna ekifo eky’okuwummuliramu.
15 Eyo omusota ogubuuka gye gulikola ekisu kyagwo ne gubiika amagi,Guligaalula ne gukuŋŋaanyiza abaana baagwo mu kisiikirize kyagwo.
Eyo bikamunye gye birikuŋŋaanira, buli kisajja nga kiri wamu ne kikazi kyakyo.
16 Munoonyereze mu kitabo kya Yakuwa era mukisome mu ddoboozi ery’omwanguka:
Tewalibaawo na kimu ku byo kiribulako;Tewalibaawo kisajja kitalina kikazi,Kubanga akamwa ka Yakuwa ke kalagidde,Era omwoyo gwe gwe gubikuŋŋaanyizza awamu.
17 Y’abikubidde akalulu,Era omukono gwe gubipimidde ekifo ekibiweereddwa.*
Kiribeera kyabyo ennaku zonna;Birikibeeramu emirembe n’emirembe.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “zirikulukuta omusaayi.”
^ Kirabika Bozula, ekibuga kya Edomu ekikulu, kye kyogerwako wano.
^ Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekikozeseddwa wano kitegeeza ebintu ebiddugavu ebikwatira ebiringa envumbo.
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ne dayimooni eyakula ng’embuzi.”
^ Obut., “gwabigabanyizaamu ekifo nga gukozesa omuguwa ogupima.”