Isaaya 39:1-8
-
Ababaka okuva e Babulooni (1-8)
39 Mu kiseera ekyo kabaka wa Babulooni, Merodaaki-baladani mutabani wa Baladani, yaweereza Keezeekiya amabaluwa n’ekirabo,+ olw’okuba yali awulidde nti Keezeekiya yali alwadde era n’awona.+
2 Keezeekiya yayaniriza ababaka n’essanyu* era n’abalaga ennyumba omwali eby’obugagga bye+—ffeeza, zzaabu, amafuta ga basamu, amafuta amalala ag’omuwendo, eby’okulwanyisa bye byonna, n’ebintu byonna ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu na kimu mu nnyumba* ye ne mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.
3 Oluvannyuma nnabbi Isaaya n’agenda eri Kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti: “Abasajja abo bagambye ki, era bavudde wa?” Keezeekiya n’amuddamu nti: “Bavudde mu nsi ey’ewala, e Babulooni.”+
4 Isaaya era n’amubuuza nti: “Kiki kye balabye mu nnyumba yo?”* Keezeekiya n’amuddamu nti: “Buli kintu ekiri mu nnyumba yange* bakirabye. Tewali na kimu kye sibalaze mu mawanika gange.”
5 Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti: “Wulira Yakuwa ow’eggye ky’agambye,
6 ‘Laba! Ekiseera kijja, byonna ebiri mu nnyumba yo* n’ebyo bajjajjaabo bye baatereka okutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni. Tewaliba na kimu ekirisigala,”+ Yakuwa bw’agamba.+
7 ‘Era n’abamu ku baana bo ggwe kennyini b’olizaala, balitwalibwa ne bafuuka abakungu b’omu lubiri lwa kabaka wa Babulooni.’”+
8 Awo Keezeekiya n’agamba Isaaya nti: “Ekigambo kya Yakuwa ky’oyogedde kirungi.” Era n’agattako nti: “Kubanga wajja kubaawo emirembe n’obutebenkevu* mu kiseera ky’obulamu bwange.”*+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “yabasanyukira.”
^ Oba, “lubiri.”
^ Oba, “lubiri lwo.”
^ Oba, “lubiri lwange.”
^ Oba, “lubiri lwo.”
^ Oba, “n’amazima.”
^ Obut., “nnaku zange.”