Isaaya 48:1-22
48 Muwulire kino mmwe ennyumba ya Yakobo,Mmwe abeeyita erinnya lya Isirayiri+Era abaava mu lunyiriri lwa Yuda,*Mmwe abalayira mu linnya lya Yakuwa+Era abakoowoola Katonda wa Isirayiri,Wadde nga kino temukikola mu mazima na butuukirivu.+
2 Kubanga beeyita ba mu kibuga ekitukuvu+Era obwesige bwabwe babutadde mu Katonda wa Isirayiri,+Ayitibwa Yakuwa ow’eggye.
3 “Ebintu ebyasooka nnabikubuulira dda.
Byava mu kamwa kange,Era nnabimanyisa.+
Nnabaako kye nkolawo mu bwangu ne bibaawo.+
4 Kubanga nnali nkimanyi nti oli muwaganyavu nnyo—Nti ebinywa by’ensingo yo biringa ekyuma, era nti n’ekyenyi kyo kiringa ekikomo+—
5 Nnakubuulira dda.
Nnakusobozesa okukiwulira nga tekinnabaawo,Oleme kugamba nti, ‘Ekifaananyi kyange kye kyakola kino;Ekifaananyi kyange ekyole n’ekifaananyi kyange eky’ekyuma,* bye byalagira kino kibeewo.’
6 Bino byonna mwabiwulira era ne mubiraba.
Temuubirangirire?+
Okuva kati nnangirira gye muli ebintu ebipya,+Ebyama ebibadde bikisiddwa, bye mubadde mutamanyi.
7 Bitondebwa kati, so tebyatondebwa dda,Ebintu by’obadde tonnawulira okutuusa leero,Oleme kugamba nti, ‘Mbadde mbimanyi!’
8 Mazima ddala tobiwulirangako,+ tobimanyi,Era edda amatu go tegaali maggule.
Kubanga nkimanyi nti oli mukuusa,+Era obadde oyitibwa mukozi wa bibi okuva lwe wazaalibwa.+
9 Naye olw’erinnya lyange ndizibiikiriza obusungu bwange;+Olw’ettendo lyange ndyefuga,Ne sikuzikiriza.+
10 Laba! Nkulongoosezza, naye si nga ffeeza bw’alongoosebwa.+
Nkugezesezza* mu kyoto mwe basaanuusiza ebyuma, kwe kugamba, mu kubonyaabonyezebwa.+
11 Mazima ddala, olw’erinnya lyange ndibaako kye nkolawo,+Kubanga nnyinza ntya okuleka erinnya lyange okuvvoolwa?+
Ekitiibwa kyange sikiwa mulala.*
12 Ggwe Yakobo, era ggwe Isirayiri gwe nnayita, mpuliriza.
Sikyuka.+ Nze ow’olubereberye era nze ow’oluvannyuma.+
13 Omukono gwange gwe gwassaawo omusingi gw’ensi,+Era omukono gwange ogwa ddyo gwe gwabamba eggulu.+
Bwe mbiyita, biyimirira wamu.
14 Mukuŋŋaane wamu mmwenna, muwulirize.
Ani ku bo eyalangirira ebintu bino?
Oyo nze Yakuwa gwe njagala.+
Alikola Babulooni kye njagala.+
Omukono gwe gulirwanyisa Abakaludaaya.+
15 Nze nnayogera, era nze nnamuyita.+
Nze nnamuleeta, era alituuka ku buwanguzi.+
16 Musembere we ndi, muwulire kino.
Okuviira ddala ku lubereberye soogererangako mu kyama.+
Okuva lwe kyabaawo nnaliwo.”
Era kati Yakuwa Mukama Afuga Byonna antumye, n’omwoyo gwe.
17 Bw’ati Yakuwa, Omununuzi wo, Omutukuvu wa Isirayiri bw’agamba:+
“Nze Yakuwa, nze Katonda wo,Akuyigiriza osobole okuganyulwa,*+Akukulembera mu kkubo ly’osaanidde okukwata.+
18 Kale singa ossaayo omwoyo eri ebiragiro byange!+
Emirembe gyo gijja kuba ng’omugga+
N’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.+
19 Ezzadde lyo lijja kuba lingi ng’omusenyuNe bazzukulu bo bajja kuba ng’obuweke bwagwo.+
Erinnya lyabwe terijja kusangulwa oba kusaanawo mu maaso gange.”
20 Mufulume mu Babulooni!+
Mudduke Abakaludaaya!
Mukyogereko n’essanyu! Mukirangirire!+
Mukimanyise ensi yonna.+
Mugambe nti: “Yakuwa anunudde Yakobo omuweereza we.+
21 Tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu.+
Yabakulukusiza amazzi okuva mu lwazi;Yayasaamu olwazi amazzi ne gafubutukamu.”+
22 Yakuwa agamba nti: “Ababi tebaba na mirembe.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “mu mazzi ga Yuda.”
^ Oba, “ekisaanuuse.”
^ Oba, “Nkwekenneenyezza.” Era kiyinza okuvvuunulwa, “Nkulonze.”
^ Oba, “Ekitiibwa kyange sikigabana na mulala yenna.”
^ Oba, “ku lw’obulungi bwo.”