Isaaya 50:1-11
50 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Ebbaluwa ey’okugattululwa+ gye nnawa nnyammwe gwe nnagoba eruwa?
Oba nnabaguza ani ku abo abammanja?
Laba! Mwatundibwa lwa nsobi zammwe,+Era nnyammwe yagobwa lwa kwonoona kwammwe.+
2 Kati olwo lwaki bwe nnajja wano tewaali muntu n’omu?
Lwaki tewali n’omu yayitaba bwe nnabayita?+
Omukono gwange mumpi nnyo ne kiba nti tegusobola kulokola?
Oba sirina maanyi ga kununula?+
Laba! Mboggola ennyanja n’ekalira;+Emigga ngifuula ddungu.+
Ebyennyanja byamu bivunda olw’obutaba na mazzi,Era bifa olw’okulumwa ennyonta.
3 Nnyambaza eggulu ekizikiza,+Era ndibikka ebibukutu.”
4 Yakuwa Mukama Afuga Byonna ampadde olulimi lw’abo abaayigirizibwa,*+Nsobole okumanya bwe nnyinza okuddamu* oyo akooye nga nkozesa ebigambo ebituufu.*+
Anzuukusa buli ku makya;Azuukusa okutu kwange okuwuliriza ng’abo abaayigirizibwa.+
5 Yakuwa Mukama Afuga Byonna aggudde okutu kwange,Era saajeema.+
Saakyuka kutunula ku luuyi lulala.+
6 Omugongo gwange nnaguwaayo eri abo abankuba,N’amatama gange eri abo abaagakuunyuulako ebirevu.
Obwenyi bwange saabukweka bintu biswaza na kuwandulirwa malusu.+
7 Naye Yakuwa Mukama Afuga Byonna alinnyamba.+
Eyo ye nsonga lwaki siriswala.
Eyo ye nsonga lwaki obwenyi bwange mbufudde bugumu ng’ejjinja ery’embaalebaale,+Era mmanyi nti sirikwatibwa nsonyi.
8 Oyo annangirira okuba omutuukirivu ali kumpi.
Ani ayinza okubaako ky’annumiriza?+
Ka tuyimirire ffembi.*
Ani alina omusango gw’anvunaana?
K’ansemberere.
9 Laba! Yakuwa Mukama Afuga Byonna alinnyamba.
Ani alinsingisa omusango?
Laba! Bonna balikaddiwa ng’ekyambalo.
Ekiwuka kiribalya.
10 Ani mu mmwe atya YakuwaEra awuliriza eddoboozi ly’omuweereza we?+
Ani yatambulira mu kizikiza eky’amaanyi, omutali kitangaala kyonna?
Ka yeesige erinnya lya Yakuwa era ateeke obwesige bwe mu Katonda we.
11 “Mmwenna abakoleeza omuliro,Abamansula ensasi z’omuliro,Mutambulire mu kitangaala ky’omuliro gwammwe,Mu nsasi z’omuliro gwe mukumye.
Nja kubawa ekibonerezo kino:
Mujja kugalamira nga muli mu bulumi obw’amaanyi ennyo.
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “nga nkozesa ekigambo.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “okuzzaamu amaanyi.”
^ Oba, “olulimi olutendekeddwa obulungi.”
^ Oba, “Ka tugasimbagane.”