Koseya 7:1-16
7 “Mu kiseera we nnandibadde mponyeza Isirayiri,Okwonoona kwa Efulayimu we kulabikidde,+Awamu n’ebikolwa ebibi ebya Samaliya;+Kubanga balimba;+Ababbi bamenya ne bayingira, ate ebweru ebibinja by’abazigu bizinda.+
2 Naye tebakirowoozanako nti nja kujjukira ebintu byonna ebibi bye bakola.+
Ebikolwa byabwe bibeetoolodde;Biri mu maaso gange.
3 Basanyusa kabaka nga bakola ebintu ebibi,Era basanyusa abaami nga balimbalimba.
4 Bonna benzi.
Baaka ng’akabiga omufumbi w’emigaati k’akumyemu omuliro;Alekera awo okuseesaamu omuliro ng’akanda obuwunga era abuleka okutuusa nga bumaze okuzimbulukuka.
5 Abaami balwadde ku lunaku lwa kabaka waffe—Basunguwadde olw’omwenge.+
Agololedde abajerezi omukono gwe.
6 Basembera nga balina emitima egyaka ng’akabiga.*
Omufumbi w’emigaati yeebaka ekiro kyonna;Ku makya akabiga kaba kaaka ng’omuliro ogubumbujja.
7 Bonna bookya ng’akabiga,Era basaanyaawo abafuzi* baabwe.
Bakabaka baabwe bonna bagudde;+Tewali n’omu ku bo ankoowoola.+
8 Efulayimu yeetabula mu mawanga.+
Efulayimu alinga omugaati omwetooloovu ogutakyusiddwa ludda lulala.
9 Abantu b’atamanyi bamazeewo amaanyi ge,+ naye takimanyi.
Era envi zeerusizza omutwe gwe, kyokka takimanyi.
10 Amalala ga Isirayiri gamuwaddeko obujulizi,+Naye tebakomyewo eri Yakuwa Katonda waabwe,+Era tebamunoonyezza wadde ng’ebyo byonna bibaddewo.
11 Efulayimu alinga ejjiba essirusiru eritalina magezi.*+
Bakoowodde Misiri;+ bagenze e Bwasuli.+
12 Yonna gye banaagenda nja kubasuulako ekitimba kyange.
Nja kubassa wansi ng’ebinyonyi eby’omu bbanga.
Nja kubabonereza ng’okulabula okwaweebwa ekibiina kyabwe bwe kuli.+
13 Zibasanze, kubanga banziruse!
Bajja kuzikirizibwa kubanga boonoonye gye ndi!
Nnali mwetegefu okubanunula, naye banjogeddeko eby’obulimba.+
14 Tebankoowoola na mutima gwabwe kubayamba,+Wadde nga baawoowooleranga ku bitanda byabwe.
Beesalaasala olw’emmere yaabwe ey’empeke n’olw’omwenge gwabwe omusu;Era banjeemera.
15 Wadde nga nnabakangavvula era ne nnyweza emikono gyabwe,Beekobaana okukola ebintu ebibi, bwe batyo ne bafuuka balabe bange.
16 Baakyusa ekkubo, naye tebadda eri okusinza okw’amazima;Baali tebeesigika ng’omutego gw’akasaale ogutanywedde.+
Abaami baabwe balittibwa n’ekitala olw’olulimi lwabwe olujeemu.
Eno ye nsonga lwaki balisekererwa mu nsi ya Misiri.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Emitima gyabwe giringa akabiga nga basembera n’enkwe zaabwe.”
^ Obut., “abalamuzi.”
^ Obut., “eritalina mutima.”