Koseya 9:1-17
9 “Tosanyuka ggwe Isirayiri,+Tojaguza ng’amawanga.
Kubanga ovudde ku Katonda wo olw’obwamalaaya.+
Oyagala empeera ey’obwamalaaya bwe wakolera mu buli gguuliro.+
2 Egguuliro n’essogolero ly’omwenge tebijja kubaliisa,Era bajja kulekera awo okufuna omwenge omusu.+
3 Tebajja kweyongera kubeera mu nsi ya Yakuwa;+Efulayimu ajja kuddayo e Misiri,Era bajja kulya ebitali birongoofu mu Bwasuli.+
4 Tebajja kweyongera kuwaayo mwenge eri Yakuwa;+Ssaddaaka zaabwe tezijja kumusanyusa.+
Ziringa emmere ey’omu biseera eby’okukungubaga;Abo bonna abagirya bajja kweyonoona.
Emmere yaabwe yaabwe bokka;Tejja kutwalibwa mu nnyumba ya Yakuwa.
5 Munaakola ki ku lunaku olw’okukuŋŋaanirako,Ku lunaku olw’okukwata embaga ya Yakuwa?
6 Laba! bajja kudduka olw’okuzikiriza.+
Misiri ejja kubakuŋŋaanya,+ era Menfisi ejja kubaziika.+
Ebintu byabwe ebirungi ebya ffeeza, omwennyango gujja kubyeddiza,Era obuti obw’amaggwa bujja kumera mu weema zaabwe.
7 Ennaku ez’okubonerezebwamu zijja,+Ennaku ez’okusasulirwamu zijja,Isirayiri ajja kukimanya.
Nnabbi waabwe ajja kuba musirusiru, n’omusajja eyaluŋŋamizibwa ajja kulaluka.
Olw’okwonoona kwo okungi, osunguwaliddwa nnyo.”
8 Omukuumi+ wa Efulayimu yali ne Katonda wange.+
Naye kaakano amakubo ga bannabbi be+ gonna galinga emitego gy’omutezi w’ebinyonyi;Mu nnyumba ya Katonda we mulimu obukyayi.
9 Beenyigidde nnyo mu kukola ebintu ebijja okubaleetera okuzikirira, nga bwe kyali mu nnaku z’e Gibeya.+
Ajja kujjukira okwonoona kwabwe; era ajja kubabonereza olw’ebibi byabwe.+
10 “Nnasanga Isirayiri ng’asanga ezzabbibu mu ddungu.+
Nnalaba bajjajjammwe ng’alaba ettiini erisooka ku mutiini ogwakatandika okubala.
Naye baagenda eri Bbaali ow’e Pyoli;+Beewaayo eri ekintu ekiswaza,*+Ne bafuuka ekyenyinyaza okufaananako ekintu kye baayagala.
11 Ekitiibwa kya Efulayimu kibuuka ng’ekinyonyi ne kigenda;Tewali n’omu azaala wadde ali olubuto wadde afuna olubuto.+
12 Ne bwe banaakuza abaana,Nja kubatta okutuusa nga tewali muntu n’omu asigaddewo;+Bwe nnaabavaako, zijja kubasanga.+
13 Efulayimu bwe yasimbibwa mu ddundiro erirabika obulungi, gye ndi yali afaanana nga Ttuulo;+Kaakano Efulayimu ajja kutwala abaana be battibwe.”
14 Ai Yakuwa, bawe ky’olina okubawa;Bawe okuvaamu embuto n’okukala amabeere.
15 “Ebintu byonna ebibi bye baakola byali mu Girugaali;+ eyo gye nnabakyayira.
Nja kubagoba mu nnyumba yange olw’ebikolwa byabwe ebibi.+
Sijja kweyongera kubaagala.+
Abaami baabwe bonna bawaganyavu.
16 Efulayimu ajja kutuusibwako akabi.+
Omulandira gwabwe gujja kukala era tebajja kubala bibala.
Ne bwe banaazaala, nja kutta ezzadde lyabwe lye baagala ennyo.”
17 Katonda wange ajja kubaleka,Kubanga tebamuwulirizza,+Era bajja kufuuka mmomboze mu mawanga.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “katonda aswaza.”