Lukka 16:1-31
16 Awo ate n’agamba abayigirizwa be nti: “Waaliwo omusajja omugagga eyalina omuwanika,* ne bamumuloopera nti yali ayonoona ebintu bye.
2 N’amuyita n’amugamba nti, ‘Biki bino bye mpulira bye bakwogerako? Mpa embalirira ekwata ku buwanika bwo, kubanga tokyayinza kuddukanya bya mu nnyumba eno.’
3 Omuwanika n’agamba mu mutima gwe nti, ‘Nnaakola ntya, okuva bwe kiri nti mukama wange agenda kunzigyako obuwanika? Amaanyi agalima sigalina, ate n’okusabiriza kunkwasa ensonyi.
4 Otyo! Mmanyi kye nnaakola abantu basobole okunsembeza mu maka gaabwe nga nzigiddwako obuwanika.’
5 Awo n’ayita buli omu mukama we gwe yali abanja, n’abuuza eyasooka nti, ‘Mukama wange akubanja ki?’
6 N’agamba nti, ‘Ebigera by’amafuta* 100.’ N’amugamba nti, ‘Kwata endagaano yo otuule owandiike 50.’
7 N’abuuza omulala nti, ‘Ate ggwe obanjibwa ki?’ N’agamba nti, ‘Ebigera ebinene 100* eby’eŋŋaano.’ N’amugamba nti, ‘Kwata endagaano yo owandiike 80.’
8 Mukama we n’amutendereza, wadde nga teyali mutuukirivu, kubanga yakozesa amagezi; bwe kituuka ku kukolagana n’abantu b’omulembe gwabwe, abantu b’ensi eno* bagezigezi okusinga abo abali mu kitangaala.+
9 “Ate era mbagamba nti: Mwekolere emikwano nga mukozesa eby’obugagga ebitali bya butuukirivu,+ bwe biggwaawo, balyoke babasembeze mu bifo eby’okubeeramu eby’olubeerera.+
10 Omuntu omwesigwa mu bintu ebitono, ne mu bingi aba mwesigwa, n’omuntu atali mutuukirivu mu bintu ebitono, ne mu bingi taba mutuukirivu.
11 N’olwekyo, bwe muba nga temubadde beesigwa ku by’obugagga ebitali bya butuukirivu, ani alibasigira ebyo ebya nnamaddala?
12 Era bwe muba nga temubadde beesigwa ku bintu by’abalala, ani alibawa ebyammwe?+
13 Tewali muweereza asobola kuweereza baami babiri; aba alina okukyawako omu n’ayagala omulala, oba okunywerera ku omu n’anyooma omulala. Temusobola kuba baddu ba Katonda na ba Byabugagga.”+
14 Awo Abafalisaayo, abaali baagala ennyo ssente, baali bawuliriza ebintu ebyo byonna era ne batandika okumunyoomoola.+
15 N’abagamba nti: “Mmwe mwetwala okuba abatuukirivu mu maaso g’abantu,+ naye Katonda amanyi emitima gyammwe.+ Kubanga ekyo abantu kye batwala okuba ekya waggulu, kiba kya muzizo mu maaso ga Katonda.+
16 “Amateeka ne Bannabbi byalangirirwa okutuuka mu kiseera kya Yokaana. Okuva mu kiseera ekyo Obwakabaka bwa Katonda bulangirirwa ng’amawulire amalungi, era abantu aba buli ngeri bafuba nnyo okubutuukamu.+
17 Mazima ddala kyangu eggulu n’ensi okuggwaawo okusinga akatonnyeze k’ennukuta ey’omu Mateeka okuvaawo nga tekatuukiriziddwa.+
18 “Buli agoba* mukazi we n’awasa omulala aba ayenze, n’oyo awasa omukazi eyagobwa aba ayenze.+
19 “Waaliwo omusajja omugagga eyayambalanga engoye eza kakobe n’eza kitaani, buli lunaku eyabeeranga mu bulamu obw’okwejalabya.
20 Era waaliwo omusajja ayitibwa Laazaalo eyali asabiriza, eyateekebwanga ku mulyango gw’omugagga oyo. Omusajja oyo yali ajjudde amabwa
21 era yeegombanga okulya ebyavanga ku mmeeza y’omugagga ne bigwa. Embwa zajjanga ne zikomberera amabwa ge.
22 Oluvannyuma lw’ekiseera omusajja oyo eyali asabiriza yafa, era bamalayika ne bamutwala ne bamuteeka mu kifuba kya* Ibulayimu.
“Omusajja omugagga naye yafa era n’aziikibwa.
23 Bwe yali emagombe* ng’abonaabona, n’ayimusa amaaso ge, n’alengera Ibulayimu era ne Laazaalo ng’amuli ku lusegere.*
24 Awo n’akoowoola ng’agamba nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira otume Laazaalo annyike akasongezo k’olugalo lwe mu mazzi aweweeze olulimi lwange kubanga ndi mu bulumi bwa maanyi mu muliro guno ogwaka ennyo.’
25 Naye Ibulayimu n’agamba nti, ‘Mwana wange, jjukira nti bwe wali okyali mulamu wafuna ebintu ebirungi bingi, naye ye Laazaalo yafuna bibi. Naye kati ye ali bulungi eno naye nga ggwe oli mu bulumi.
26 Ng’oggyeeko ebyo byonna, wateekeddwawo olukonko olunene wakati waffe nammwe, ne kiba nti abo abaagala okuva eno okujja gye muli tebasobola, era abantu tebayinza kusala kuva eyo ne bajja gye tuli.’
27 Awo n’agamba nti, ‘Kale nno kitange, nkusaba omutume eri ab’ennyumba ya kitange,
28 kubanga nnina baganda bange bataano, abawe obujulirwa mu bujjuvu nabo baleme kujja mu kifo kino eky’okubonaabona.’
29 Naye Ibulayimu n’amuddamu nti, ‘Balina Musa ne Bannabbi; bawulirize abo.’+
30 N’agamba nti, ‘Nedda kitange Ibulayimu, naye singa omuntu ava mu bafu n’agenda gye bali, bajja kwenenya.’
31 N’amugamba nti, ‘Bwe baba nga tebawuliriza Musa+ ne Bannabbi, n’omuntu ava mu bafu tebajja kumuwuliriza.’”
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “eyali addukanya emirimu gy’omu nnyumba.”
^ Oba, “Basi z’amafuta.” Basi yali egyaamu lita 22. Laba Ebyong. B14.
^ Oba, “Koro 100.” Koro yali egyaamu lita 220. Laba Ebyong. B14.
^ Oba, “agattululwa ne.”
^ Oba, “awali Ibulayimu.”
^ Obut., “ng’ali mu kifuba kye.”