Luusi 3:1-18
3 Awo Nawomi nnyazaala we n’amugamba nti: “Mwana wange, tekiŋŋwanira kukufunira wa kubeera*+ osobole okuba obulungi?
2 Bowaazi si omu ku b’eŋŋanda zaffe?+ Ye nnannyini bawala b’obadde okola nabo. Ekiro kya leero agenda mu gguuliro kuwewa ssayiri.
3 Naaba, weesige amafuta ag’akaloosa era oyambale ebyambalo byo* oserengete mu gguuliro. Teweeyoleka gy’ali okutuusa ng’amaze okulya n’okunywa.
4 Bw’anaatuuka okwebaka, weetegereze ekifo w’anaagalamira, ogende omubikkule ku bigere ogalamire awo, era ajja kukutegeeza ky’osaanidde okukola.”
5 Luusi n’amugamba nti: “Byonna by’oŋŋambye nja kubikola.”
6 Awo n’aserengeta mu gguuliro n’akola byonna nnyazaala we bye yali amulagidde.
7 Awo Bowaazi n’alya, n’anywa, era n’asanyuka. Oluvannyuma n’agenda ku mabbali g’entuumu ya ssayiri* n’agalamira wansi. Luusi n’agenda kasoobo n’amubikkula ku bigere n’agalamira awo.
8 Olwatuuka ekiro mu ttumbi omusajja n’atandika okukankana. N’atuula n’akutamako, n’alaba omukazi ng’agalamidde okumpi n’ebigere bye.
9 Awo Bowaazi n’amubuuza nti: “Ggwe ani?” N’amuddamu nti: “Nze Luusi omuweereza wo; bikka omuweereza wo ekyambalo kyo kubanga oli mununuzi.”+
10 Bowaazi n’amugamba nti: “Yakuwa akuwe omukisa mwana wange. Okwagala okutajjulukuka kw’olaze ku nkomerero kusinze okwo kwe walaga mu kusooka,+ kubanga togenze kunoonya musajja mu bavubuka, ka babe baavu oba bagagga.
11 Kati nno mwana wange, totya. Byonna by’ogamba nja kubikukolera,+ kubanga abantu bonna mu kibuga bakimanyi* nti oli mukazi wa mpisa nnungi nnyo.
12 Kyokka, wadde nga kituufu nti ndi mununuzi,+ waliwo omununuzi omulala abalinako oluganda olw’okumpi okusinga nze.+
13 Sula wano ekiro kino era ku makya bw’anaakununula, sikirinaako mutawaana, akununule.+ Naye bw’anaaba tayagala kukununula, nga Yakuwa bw’ali omulamu, nze nja kukununula. Galamira wano okutuusa ku makya.”
14 N’agalamira okumpi n’ebigere bya Bowaazi okutuusa ku makya, n’agolokoka nga bukyakutte, ng’omuntu tasobola kutegeera munne. Awo Bowaazi n’agamba nti: “Tekimanyibwa nti omukazi yazze mu gguuliro.”
15 N’agamba Luusi nti: “Leeta olugoye olwo lwe weesuulidde, olwanjuluze.” Awo n’alwanjuluza n’amuteeramu ebigera bya ssayiri mukaaga,* n’abimutikka. Oluvannyuma Bowaazi n’agenda mu kibuga.
16 Awo Luusi n’agenda ewa nnyazaala we, era nnyazaala we n’amubuuza nti: “Bigenze bitya* mwana wange?” Luusi n’amubuulira byonna omusajja bye yali amukoledde.
17 Era n’amugamba nti: “Ampadde ebigera bino omukaaga ebya ssayiri n’aŋŋamba nti, ‘Togenda wa nnyazaala wo ngalo nsa.’”
18 Awo Nawomi n’agamba nti: “Tuula wano mwana wange okutuusa lw’onoomanya gye binakkira, kubanga omusajja oyo tajja kuweera okutuusa ng’amaze okukola ku nsonga eyo leero.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “kifo wa kuwummulira.”
^ Oba, “oyambale ebyambalo byo eby’okungulu.”
^ Oba, “y’eŋŋaano.”
^ Obut., “omulyango gwonna ogw’abantu bange gukimanyi.”
^ Biyinza okuba byali ebigera bya seya mukaaga, oba lita nga 44. Laba Ebyong. B14.
^ Obut., “Ggwe ani.”