Mikka 5:1-15
5 “Kaakano weesalaasala,Ggwe omuwala alumbiddwa;Tuzingiziddwa.+
Bajja kukuba omulamuzi wa Isirayiri ku ttama n’omuggo.+
2 Ggwe Besirekemu Efulaasa,+Ggwe omutono ennyo okubalirwa mu nkumi* za Yuda,Mu ggwe mwe muliva omufuzi wa Isirayiri alikola bye njagala;+Ensibuko ye ya mu biseera eby’edda, mu nnaku ez’edda.
3 Kale Katonda alibawaayoOkutuusa mu kiseera oyo ow’okuzaala lw’alizaala.
Era baganda b’omufuzi abalala balikomawo eri abantu ba Isirayiri.
4 Aliyimirira n’alunda ekisibo mu maanyi ga Yakuwa,+Mu kitiibwa ky’erinnya lya Yakuwa Katonda we.
Balibeera eyo mu mirembe,+Kubanga obuyinza bwe bulituuka ensi gy’ekoma.+
5 Era alireeta emirembe.+
Omwasuli bw’alijja mu nsi yaffe n’atambulira ku bigo byaffe,+Tulissaawo abasumba musanvu okumulwanyisa, weewaawo abakulembeze munaana okuva mu bantu.
6 Balirunda ensi ya Bwasuli n’ekitala,+Ensi ya Nimuloodi+ mu miryango gyayo.
Omufuzi alituwonya Omwasuli,+Bw’alirumba ensi yaffe n’atambulira mu nsi yaffe.
7 Aba Yakobo abalisigalawo baliba mu mawanga amangiNg’omusulo oguva eri Yakuwa,Era ng’enkuba etonnya ku bimeraEbitateeka ssuubi lyabyo mu bantuEra ebitalindirira baana ba bantu.
8 Era aba Yakobo abalisigalawo baliba mu mawanga,Wakati mu bantu abangi,Ng’empologoma eri mu nsolo ez’omu kibira,Ng’empologoma envubuka eri mu bisibo by’endiga;Ebiyitamu n’ebibuukira era n’ebiyuzaayuza;Era tewali abiwonya.
9 Oliwangula abalabe bo,Era abalabe bo bonna balizikirizibwa.”
10 Bw’ati Yakuwa bw’agamba, “Ku lunaku olwoNdizikiriza embalaasi zo era ndisaanyaawo amagaali go.
11 Ndizikiriza ebibuga by’omu nsi yoEra ndimenyaamenya ebigo byo byonna.
12 Ndisaanyaawo eby’obulogo by’okola,*Era mu ggwe temulisigala akola eby’obufumu.+
13 Ndisaanyaawo ebifaananyi byo ebyole n’empagi zo,Era toliddamu kuvunnamira mulimu gwa mikono gyo.+
14 Ndisimbula ebikondo byo ebisinzibwa*+Era ndizikiriza ebibuga byo.
15 Mu busungu n’ekiruyi ndiwoolera eggwangaKu mawanga agatawulira.”