Mikka 6:1-16

  • Omusango Katonda gw’avunaana Isirayiri (1-5)

  • Kiki Yakuwa ky’akwetaagisa? (6-8)

    • Obwenkanya, obwesigwa, obwetoowaze (8)

  • Omusango Isirayiri gw’erina n’ekibonerezo ekigiweereddwa (9-16)

6  Kale muwulire Yakuwa ky’agamba. Situka oyanjulire ensozi ensonga yo,Obusozi ka buwulire eddoboozi lyo.+   Muwulire ensonga za Yakuwa mmwe ensozi,Era nammwe emisingi gy’ensi eminywevu,+Kubanga Yakuwa alina ky’avunaana abantu be,Era ajja kuvunaana Isirayiri omusango:+   “Mmwe abantu bange, mbakoze ki? Mbakooyezza ntya?+ Munnumirize.   Nnabaggya mu nsi ya Misiri,+Ne mbanunula mu nnyumba ey’obuddu;+Nnatuma Musa ne Alooni ne Miriyamu+ okubakulembera.   Mmwe abantu bange, mujjukire ekyo Balaki kabaka wa Mowaabu kye yateesa okukola,+N’ebyo Balamu mutabani wa Byoli bye yamuddamu+—Mujjukire ebyaliwo okuva e Sitimu+ okutuukira ddala e Girugaali+Musobole okumanya ebikolwa bya Yakuwa eby’obutuukirivu.”   Nnajja na ki mu maaso ga Yakuwa? Nnaavunnama na ki mu maaso ga Katonda ali waggulu? Nnajja gy’ali n’ebiweebwayo ebyokebwa,N’ennyana ez’omwaka ogumu?+   Yakuwa anaasanyukira enkumi n’enkumi z’endiga ennume,Oba emitwalo n’emitwalo gy’emigga gy’amafuta?+ Nnaawaayo omwana wange ow’obulenzi omubereberye olw’obujeemu bwange? Nnaawaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi kyange?+   Akubuulidde ggwe omuntu ekirungi. Era kiki Yakuwa ky’akwetaagisa? Tewali kirala wabula okuba omwenkanya+ n’okwagala obwesigwa,*+N’okuba omwetoowaze+ ng’otambula ne Katonda wo!+   Eddoboozi lya Yakuwa likoowoola ekibuga;Abo abalina amagezi bajja kutya erinnya lyo. Musseeyo omwoyo eri omuggo n’eri oyo eyagussaawo.+ 10  Mu nnyumba y’omubi mukyalimu eby’obugagga ebyafunibwa okuyitira mu bikolwa ebibi,Era n’ekipimo kya efa* ekitawera eky’omuzizo? 11  Nsobola okubeera omulongoofu* nga nnina minzaani ezitali ntuufu,Era n’ensawo erimu amayinja agapima agatali matuufu?+ 12  Abasajja be abagagga basussizza okukola ebikolwa eby’obukambwe,N’abantu be boogera eby’obulimba;+Olulimi lwabwe lukuusa mu kamwa kaabwe.+ 13  “Kale nja kukukuba okutuusa lwe nnaakutuusaako ebisago;+Nkufuule amatongo olw’ebibi byo. 14  Onoolyanga naye tokkutenga;Onoolumwanga enjala.+ Onoggyangawo ebintu okubitereka, naye tooyinzenga kubitereka,Era by’onoobanga osobodde okutereka nnaabiwangayo eri abalabe bo. 15  Onoosiganga ensigo naye tookungulenga. Onoolinnyiriranga ezzeyituuni naye tookozesenga mafuta gaayo;Era onoosogolanga omwenge omusu naye toonywenga mwenge.+ 16  Mutambulira mu biragiro bya Omuli ne mu bikolwa byonna eby’ennyumba ya Akabu,+Era mukolera ku magezi gaabwe. Eyo ye nsonga lwaki nja kubafuula ekintu eky’entiisa. Abantu b’omu kibuga nja kubafuula ekintu eky’okusekererwa;*+Era mulinyoomebwa amawanga.”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “okubeera ow’ekisa era omwesigwa mu kwagala kwo.” Obut., “okwagala okutajjulukuka.”
Oba, “obutabaako musango.”
Obut., “ekintu kye bafuuyira oluwa.”