Nekkemiya 10:1-39
10 Abo abaagikakasa nga bagiteekako akabonero kaabwe+ be bano:
Nekkemiya gavana* mutabani wa Kakaliya,
Ne Zeddeekiya,
2 Seraya, Azaliya, Yeremiya,
3 Pasukuli, Amaliya, Malukiya,
4 Kattusi, Sebaniya, Maluki,
5 Kalimu,+ Meremoosi, Obadiya,
6 Danyeri,+ Ginnesoni, Baluki,
7 Mesulamu, Abiya, Miyamini,
8 Maaziya, Birugayi, ne Semaaya, era abo baali bakabona.
9 N’Abaleevi bano: Yesuwa mutabani wa Azaniya, Binnuyi ow’oku baana ba Kenadadi, Kadumyeri,+
10 ne baganda baabwe bano: Sebaniya, Kodiya, Kerita, Peraya, Kanani,
11 Mikka, Lekobu, Kasukabiya,
12 Zakkuli, Serebiya, Sebaniya,+
13 Kodiya, Bani, ne Beninu.
14 Ne bano abaali bakulira abantu: Palosi, Pakasu-mowaabu,+ Eramu, Zattu, Bani,
15 Bunni, Azugaadi, Bebayi,
16 Adoniya, Biguvayi, Adini,
17 Ateri, Keezeekiya, Azzuli,
18 Kodiya, Kasumu, Bezayi,
19 Kalifu, Anasosi, Nebayi,
20 Magupiyasi, Mesulamu, Keziri,
21 Mesezaberi, Zadooki, Yadduwa,
22 Peratiya, Kanani, Anaya,
23 Koseya, Kananiya, Kassubu,
24 Kalokesi, Piruka, Sobeki,
25 Lekumu, Kasabuna, Maaseya,
26 Akiya, Kanani, Anani,
27 Maluki, Kalimu, ne Bbaana.
28 Abantu abalala bonna—bakabona, Abaleevi, abakuumi b’oku miryango, abayimbi, abaweereza b’oku yeekaalu,* na buli eyeeyawula ku bantu ab’omu bitundu ebitwetoolodde okukwata Amateeka ga Katonda ow’amazima,+ ne bakazi baabwe ne batabani baabwe ne bawala baabwe, buli eyali asobola okutegeera ekirayiro*—
29 beegatta ku baganda baabwe, n’ab’ebitiibwa mu bo, ne balayira ekirayiro ekyali kisobola okubaleetako ekikolimo singa tebatambulira mu Mateeka ga Katonda ow’amazima agaaweebwa okuyitira mu Musa omuweereza wa Katonda ow’amazima, era singa tebakolera ku biragiro byonna ebya Yakuwa Mukama waffe, ne ku bye yasalawo, ne ku mateeka ge.
30 Abantu b’omu bitundu ebitwetoolodde tetujja kubawanga bawala baffe, ne batabani baffe tetujja kubawasizanga bawala baabwe.+
31 Abantu b’omu bitundu ebitwetooledde bwe banaaleetanga ebintu byabwe n’emmere* eya buli kika okubitunda ku lunaku lwa Ssabbiiti, tetujja kubagulangako kintu kyonna ku lunaku lwa Ssabbiiti+ oba ku lunaku olutukuvu.+ Era tujja kuwummuzanga ettaka mu mwaka ogw’omusanvu+ era tusonyiwenga ne be tubanja bonna.+
32 Ate era tweteerawo etteeka buli omu ku ffe okuwangayo kimu kya kusatu ekya sekeri* buli mwaka zikozesebwe ku mirimu gy’omu nnyumba* ya Katonda waffe,+
33 ku bintu bino: emigaati egipangibwa,*+ n’ekiweebwayo ky’emmere ey’empeke,+ n’ekiweebwayo ekyokebwa ebya Ssabbiiti+ n’eby’oku kuboneka kw’omwezi,+ embaga ezaalagirwa,+ ebintu ebitukuvu, ebiweebwayo olw’ekibi+ okutangirira ebibi bya Isirayiri, ne ku mulimu gwonna ogw’ennyumba ya Katonda waffe.
34 Ate era twakuba akalulu ku bikwata ku nku bakabona n’Abaleevi n’abantu ze baalina okuleetanga mu nnyumba ya Katonda waffe, ng’ennyumba za bakitaffe bwe zaali, mu kiseera ekigereke buli mwaka, ez’okukozesanga ku kyoto kya Yakuwa Katonda waffe nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka.+
35 Era tweyama okuleetanga mu nnyumba ya Yakuwa buli mwaka ebibala ebibereberye eby’ettaka lyaffe, n’ebibala ebibereberye ebya buli muti,+
36 n’okuleetanga abaana baffe ab’obulenzi ababereberye n’ebibereberye by’ensolo zaffe+—nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka—era n’ebibereberye by’amagana gaffe n’eby’ebisibo byaffe. Tujja kubireetanga mu nnyumba ya Katonda waffe, eri bakabona abaweereza mu nnyumba ya Katonda waffe.+
37 Era nti obuwunga bwaffe obulimu empulunguse obw’emmere eneesookanga okukungulwa,+ n’ebintu bye tuwaayo, n’ebibala eby’emiti egya buli kika,+ n’omwenge omusu, n’amafuta,+ tujja kubireetanga eri bakabona mu materekero* g’ennyumba ya Katonda waffe,+ era tuleetenga eri Abaleevi ekimu eky’ekkumi eky’ebyo ebiva mu ttaka lyaffe,+ kubanga Abaleevi be balina okuweebwa ekimu eky’ekkumi eky’ebyo ebiva mu bibuga byaffe byonna bye tulimiramu.
38 Kabona, omwana wa Alooni, anaabeeranga n’Abaleevi bwe banaabanga baweebwa ekimu eky’ekkumi; Abaleevi banaaleetanga mu nnyumba ya Katonda waffe,+ mu bisenge* eby’etterekero, ekimu eky’ekkumi okuva ku kimu eky’ekkumi.
39 Mu bisenge* ebyo Abayisirayiri n’abaana b’Abaleevi mwe banaaleetanga ebiweebwayo+ eby’emmere ey’empeke, n’omwenge omusu, n’amafuta,+ era eyo y’ebeera ebikozesebwa mu kifo ekitukuvu, ne bakabona ababa baweereza, n’abakuumi b’oku miryango, n’abayimbi. Tetujja kulagajjaliranga nnyumba ya Katonda waffe.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Abanesinimu.” Obut., “abo abaweereddwayo.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “buli yenna eyali omukulu ekimala.”
^ Eyinza okuba nga yalinga ŋŋaano oba ssayiri.
^ Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.
^ Oba, “yeekaalu.”
^ Kwe kugamba, emigaati egy’okulaga.
^ Oba, “bisenge ebiriirwamu.”
^ Oba, “bisenge ebiriirwamu.”
^ Oba, “bisenge ebiriirwamu.”