Nekkemiya 3:1-32

  • Okuddamu okuzimba bbugwe (1-32)

3  Awo Eriyasibu+ kabona asinga obukulu ne baganda be bakabona ne basituka ne bazimba Omulyango gw’Endiga.+ Baagutukuza*+ ne bawangamu enzigi. Beeyongera okuzimba ekitundu ekyo okutuuka ku Munaala gwa Meya+ ne bakitukuza, era n’okutuukira ddala ku Munaala gwa Kananeri.+  Abasajja b’e Yeriko+ be baazimba ekitundu ekyaddako, ate Zakkuli mutabani wa Imuli n’azimba ekitundu ekyaddako.  Batabani ba Kassena be baazimba Omulyango ogw’Ebyennyanja;+ baaguteekamu omwango+ n’enzigi era ne bassaako ebinyolo n’ebisiba.  Meremoosi+ mutabani wa Uliya mutabani wa Kakkozi ye yaddaabiriza ekitundu ekyaddako, Mesulamu+ mutabani wa Berekiya mutabani wa Mesezaberi n’addaabiriza ekitundu ekyaddako, ate Zadooki mutabani wa Bbaana n’addaabiriza ekitundu ekyaddako.  Abatekowa+ be baddaabiriza ekitundu ekyaddako, naye ab’ebitiibwa mu bo tebeetoowaza kukola mirimu* bakama baabwe gye baabawa.  Yoyada mutabani wa Paseya ne Mesulamu mutabani wa Besodeya be baddaabiriza Omulyango ogw’Ekibuga Ekikadde;+ baaguteekamu omwango n’enzigi era ne bassaako ebinyolo n’ebisiba.  Meratiya Omugibiyoni+ ne Yadoni Omumeronoosi be baddaabiriza ekitundu ekyaddako; baali basajja b’e Gibiyoni n’e Mizupa+ abaali wansi w’obuyinza bwa* gavana ow’Emitala w’Omugga.*+  Wuziyeeri mutabani wa Kalukaya omu ku baweesi b’ebya zzaabu ye yaddaabiriza ekitundu ekyaddako, ate Kananiya omu ku batabuzi b’amafuta ag’akaloosa* n’addaabiriza ekitundu ekyaddako. Baayalirira amayinja mu Yerusaalemi okutuukira ddala ku Bbugwe Omugazi.+  Lefaya mutabani wa Kuli, omwami w’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’eggombolola ly’e Yerusaalemi, ye yaddaabiriza ekitundu ekyaddako. 10  Yedaya mutabani wa Kalumafu ye yaddaabiriza ekitundu ekyaddako ekiri mu maaso g’ennyumba ye, ate Kattusi mutabani wa Kasabuneya n’addaabiriza ekitundu ekyaddako. 11  Malukiya mutabani wa Kalimu+ ne Kassubu mutabani wa Pakasu-mowaabu+ be baddaabiriza ekitundu ekirala* ekya bbugwe n’Omunaala ogw’Obubiga.+ 12  Salumu mutabani wa Kalokesi, omwami w’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’eggombolola ly’e Yerusaalemi, awamu ne bawala be, be baddaabiriza ekitundu ekyaddako. 13  Kanuni n’abantu b’omu Zanowa+ be baddaabiriza Omulyango gw’Ekiwonvu;+ baaguzimba ne baguteekamu enzigi era ne bassaako ebinyolo n’ebisiba. Era baddaabiriza ekitundu kya bbugwe kya mikono 1,000* okutuuka ku Mulyango ogw’Entuumu z’Evvu.+ 14  Malukiya mutabani wa Lekabu, omwami w’eggombolola ly’e Besu-kakkeremu,+ ye yaddaabiriza Omulyango ogw’Entuumu z’Evvu; yaguzimba n’aguteekamu enzigi era n’assaako ebinyolo n’ebisiba. 15  Saluni mutabani wa Kolukoze, omwami w’eggombolola ly’e Mizupa,+ ye yaddaabiriza Omulyango ogw’Oluzzi;+ yaguzimba n’agussaako akasolya era n’aguteekamu enzigi, n’assaako ebinyolo n’ebisiba; era yaddaabiriza ne bbugwe w’oku Kidiba kya Seera*+ ekiriraanye Ennimiro ya Kabaka,+ okutuuka ku Madaala+ agaserengeta okuva mu Kibuga kya Dawudi.+ 16  Nekkemiya mutabani wa Azubuki, omwami w’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’eggombolola ly’e Besu-zuli,+ ye yaddaabiriza ekitundu ekyaddako, okuva mu maaso g’Ebiggya bya Dawudi+ okutuuka ku kidiba+ ekyasimibwa, n’okweyongerayo okutuukira ddala ku Nnyumba y’ab’Amaanyi. 17  Abaleevi abaali bakulirwa Lekumu mutabani wa Bani be baddaabiriza ekitundu ekyaddako, ate Kasukabiya, omwami w’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’eggombolola ly’e Keyira,+ n’addaabiriza ekitundu ekyaddako ku lw’eggombolola lye. 18  Baganda baabwe be baddaabiriza ekitundu ekyaddako. Baali bakulirwa Bavvayi mutabani wa Kenadadi, omwami w’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’eggombolola ly’e Keyira. 19  Ezeri mutabani wa Yesuwa,+ omwami w’e Mizupa, ye yaddaabiriza ekitundu kya bbugwe ekyaddako ekiri mu maaso g’awambukirwa ku Tterekero ly’eby’Okulwanyisa, awali Empagi.+ 20  Baluki mutabani wa Zabbayi+ yakola n’obunyiikivu n’addaabiriza ekitundu kya bbugwe ekyaddako, okuva ku Mpagi okutuuka ku mulyango gw’ennyumba ya Eriyasibu+ kabona asinga obukulu. 21  Meremoosi+ mutabani wa Uliya mutabani wa Kakkozi ye yaddaabiriza ekitundu kya bbugwe ekyaddako, okuva ku mulyango gw’ennyumba ya Eriyasibu okutuuka w’ekoma. 22  Bakabona, abasajja b’omu kitundu kya Yoludaani,*+ be baddaabiriza ekitundu ekyaddako. 23  Benyamini ne Kassubu be baddaabiriza ekitundu ekyaddako ekiri mu maaso g’ennyumba yaabwe. Azaliya mutabani wa Maaseya mutabani wa Ananiya ye yaddaabiriza ekitundu ekyaddako ekiri okumpi n’ennyumba ye. 24  Binnuyi mutabani wa Kenadadi ye yaddaabiriza ekitundu kya bbugwe ekyaddako, okuva ku nnyumba ya Azaliya okutuuka ku Mpagi,+ n’okweyongerayo okutuukira ddala ku nsonda. 25  Palali mutabani wa Uzayi ye yaddaabiriza ekitundu ekyaddako ekiri mu maaso g’Empagi n’omunaala ogw’oku Nnyumba* ya Kabaka,+ ogw’ekyengulu mu Luggya lw’Abakuumi.+ Pedaya mutabani wa Palosi+ ye yali amuddiridde. 26  Abaweereza b’oku yeekaalu*+ abaali babeera mu Oferi+ be baddaabiriza okutuuka mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi+ ku luuyi olw’ebuvanjuba ne ku munaala oguyiseemu. 27  Abatekowa+ be baddaabiriza ekitundu kya bbugwe ekyaddako, okuva mu maaso g’omunaala omunene oguyiseemu, okutuuka ku bbugwe wa Oferi. 28  Bakabona be baddabiriza engulu w’Omulyango gw’Embalaasi;+ buli omu yaddaabiriza ekitundu ekiri mu maaso g’ennyumba ye. 29  Zadooki+ mutabani wa Immeri ye yaddaabiriza ekitundu ekyaddako, mu maaso g’ennyumba ye. Semaaya mutabani wa Sekaniya, omukuumi w’oku Mulyango gw’Ebuvanjuba,+ ye yaddaabiriza ekitundu ekyaddako. 30  Kananiya mutabani wa Seremiya ne Kanuni omwana wa Zalafu ow’omukaaga be baddaabiriza ekitundu kya bbugwe ekyaddako. Mesulamu+ mutabani wa Berekiya ye yaddaabiriza ekitundu ekyaddako, mu maaso g’ekisenge kye. 31  Malukiya ow’omu kibiina ky’abaweesi b’ebya zzaabu ye yali amuddiridde; yaddaabiriza okutuuka ku nnyumba y’abaweereza b’oku yeekaalu*+ n’abasuubuzi, mu maaso g’Omulyango Ogukebererwako, n’okweyongerayo okutuukira ddala ku kisenge ekya waggulu ku nnyumba eky’oku nsonda. 32  Abaweesi b’ebya zzaabu n’abasuubuzi be baddaabiriza ekitundu ekiri wakati w’ekisenge ekya waggulu eky’oku nsonda n’Omulyango gw’Endiga.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Baaguwaayo.”
Obut., “tebaaleeta nsingo yaabwe mu mirimu.”
Oba, “w’Omugga Fulaati.”
Obut., “abaali ab’entebe ya.”
Oba, “bakozi b’obuwoowo.”
Oba, “ekitundu ekyapimibwa.”
Mita nga 445 (ffuuti 1,460). Laba Ebyong. B14.
Seera kitegeeza “Omukutu.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “kitundu ekiriraanyeewo.”
Oba, “Lubiri.”
Oba, “Abanesinimu.” Obut., “abo abaweereddwayo.”
Oba, “Abanesinimu.” Obut., “abo abaweereddwayo.”