Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okubala

Essuula

Ebirimu

  • 1

    • Okuwandiika abasajja ab’okuweereza mu ggye (1-46)

    • Abaleevi tebawandiikibwa mu magye (47-51)

    • Abantu ba kusiisira mu ngeri entegeke obulungi (52-54)

  • 2

    • Ba kusiisira mu bibinja bya bika bisatu bisatu (1-34)

      • Ekibinja kya Yuda kisiisira ku ludda olw’ebuvanjuba (3-9)

      • Ekibinja kya Lewubeeni kisiisira ku ludda olw’ebukiikaddyo (10-16)

      • Abaleevi basiisira mu makkati (17)

      • Ekibinja kya Efulayimu kisiisira ku luuyi olw’ebugwanjuba (18-24)

      • Ekibinja kya Ddaani kisiisira ku luuyi olw’ebukiikakkono (25-31)

      • Omuwendo gw’abasajja bonna abaabalibwa (32-34)

  • 3

    • Batabani ba Alooni (1-4)

    • Abaleevi balondebwa okuweereza (5-39)

    • Okununula abaana ababereberye (40-51)

  • 4

    • Obuweereza bw’Abakokasi (1-20)

    • Obuweereza bw’Abagerusoni (21-28)

    • Obuweereza bw’Abamerali (29-33)

    • Emiwendo gw’abo abaabalibwa (34-49)

  • 5

    • Okwawula atali mulongoofu ku balala (1-4)

    • Okwatula ebibi n’okuliyirira (5-10)

    • Amazzi agaweebwa oyo ateeberezebwa okuba nti yayenda (11-31)

  • 6

    • Obweyamo obw’okuweereza ng’Omunaziri (1-21)

    • Emikisa gy’obwakabona (22-27)

  • 7

    • Ebiweebwayo okutongoza weema entukuvu (1-89)

  • 8

    • Alooni akoleeza ettaala omusanvu (1-4)

    • Abaleevi batukuzibwa; batandika okuweereza (5-22)

    • Emyaka gy’Abaleevi abakkirizibwa okuweereza (23-26)

  • 9

    • Eyabanga tasobodde kukwata Okuyitako (1-14)

    • Ekire n’omuliro waggulu wa weema entukuvu (15-23)

  • 10

    • Amakondeere aga ffeeza (1-10)

    • Okuva e Sinaayi (11-13)

    • Engeri gye baddiriŋŋanamu nga basimbula (14-28)

    • Kobabu asabibwa okulagirira Abayisirayiri ekkubo (29-34)

    • Essaala ya Musa ng’ekibiina kisimbula (35, 36)

  • 11

    • Omuliro oguva eri Katonda gwokya abeemulugunya (1-3)

    • Abantu bakaabira ennyama (4-9)

    • Musa awulira ng’azitoowereddwa (10-15)

    • Yakuwa awa abakadde 70 omwoyo gwe (16-25)

    • Erudaadi ne Medadi; Yoswa akwatibwa obuggya ku lwa Musa (26-30)

    • Obugubi bujja; abantu babonerezebwa olw’omululu (31-35)

  • 12

    • Miriyamu ne Alooni bawakanya obukulembeze bwa Musa (1-3)

      • Musa y’asinga obuwombeefu (3)

    • Yakuwa awolereza Musa (4-8)

    • Miriyamu akubwa ebigenge (9-16)

  • 13

    • Abakessi 12 bagenda mu Kanani (1-24)

    • Abakessi kkumi boogera ebitali bituufu (25-33)

  • 14

    • Abantu baagala okuddayo e Misiri (1-10)

      • Yoswa ne Kalebu boogera ekituufu (6-9)

    • Yakuwa asunguwala; Musa amwegayirira (11-19)

    • Ekibonerezo: ba kumala emyaka 40 mu ddungu (20-38)

    • Abayisirayiri bawangulwa Abamaleki (39-45)

  • 15

    • Amateeka agakwata ku biweebwayo (1-21)

      • Bannansi n’abagwira ba kuweebwa amateeka ge gamu (15, 16)

    • Ebiweebwayo abo abakola ebibi mu butanwa (22-29)

    • Ekibonerezo ky’abo abakola ebibi mu bugenderevu (30, 31)

    • Eyamenya etteeka lya Ssabbiiti attibwa (32-36)

    • Engoye zirina okuteekebwako ebijwenge (37-41)

  • 16

    • Koola, Dasani, ne Abiraamu bajeema (1-19)

    • Abajeemu babonerezebwa (20-50)

  • 17

    • Omuggo gwa Alooni guloka (1-13)

  • 18

    • Emirimu gya bakabona n’Abaleevi (1-7)

    • Emigabo gya bakabona (8-19)

      • Endagaano ey’omunnyo (19)

    • Abaleevi balina okufuna n’okuwaayo ekimu eky’ekkumi (20-32)

  • 19

    • Ente emmyufu n’amazzi ag’okutukuza (1-22)

  • 20

    • Miriyamu afiira e Kadesi (1)

    • Musa akuba olwazi era ayonoona (2-13)

    • Edomu agaana Abayisirayiri okuyita mu nsi ye (14-21)

    • Alooni afa (22-29)

  • 21

    • Kabaka wa Aladi awangulwa (1-3)

    • Omusota ogw’ekikomo (4-9)

    • Abayisirayiri beetooloola Mowaabu (10-20)

    • Sikoni, kabaka w’Abaamoli awangulwa (21-30)

    • Ogi, kabaka w’Abaamoli awangulwa (31-35)

  • 22

    • Balaki agula Balamu (1-21)

    • Endogoyi ya Balamu eyogera (22-41)

  • 23

    • Ebigambo bya Balamu eby’obunnabbi ebyasooka (1-12)

    • Ebigambo bya Balamu eby’obunnabbi eby’omulundi ogw’okubiri (13-30)

  • 24

    • Ebigambo bya Balamu eby’obunnabbi eby’omulundi ogw’okusatu (1-11)

    • Ebigambo bya Balamu eby’obunnabbi eby’omulundi ogw’okuna (12-25)

  • 25

    • Abayisirayiri benda ku bakazi Abamowaabu (1-5)

    • Ekikolwa kya Fenekaasi (6-18)

  • 26

    • Okubala abantu okw’omulundi ogw’okubiri (1-65)

  • 27

    • Bawala ba Zerofekaadi (1-11)

    • Yoswa alondebwa okudda mu bigere bya Musa (12-23)

  • 28

    • Ebiweebwayo ebitali bimu (1-31)

      • Ebiweebwayo ebya buli lunaku (1-8)

      • Eby’oku Ssabbiiti (9, 10)

      • Ebya buli mwezi (11-15)

      • Eby’oku Kuyitako (16-25)

      • Eby’Embaga ey’Amakungula (26-31)

  • 29

    • Ebiweebwayo ebitali bimu (1-40)

      • Olunaku olw’okufuuwa amakondeere (1-6)

      • Olunaku olw’Okutangirirako Ebibi (7-11)

      • Embaga ey’Ensiisira (12-38)

  • 30

    • Obweyamo bw’omusajja (1, 2)

    • Obweyamo bw’omukazi n’obw’omuwala (3-16)

  • 31

    • Okuwoolera eggwanga ku Midiyaani (1-12)

      • Balamu attibwa (8)

    • Engeri y’okugabanamu omunyago (13-54)

  • 32

    • Okuweebwa ebitundu ebuvanjuba wa Yoludaani (1-42)

  • 33

    • Ebifo Abayisirayiri mwe baasiisira nga bayita mu ddungu (1-49)

    • Ebiragiro ku ngeri y’okuwambamu Kanani (50-56)

  • 34

    • Ensalo za Kanani (1-15)

    • Abasajja abaweebwa ogw’okugabanyaamu ensi (16-29)

  • 35

    • Ebibuga eby’okuwa Abaleevi (1-8)

    • Ebibuga eby’okuddukiramu (9-34)

  • 36

    • Etteeka erikwata ku kuwasa omukazi alina eby’obusika (1-13)