Okubala 15:1-41
15 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti:
2 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Bwe mulituuka mu nsi gye mbawa okubeeramu,+
3 ne mubaako ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro kye muwaayo eri Yakuwa, okuva mu ggana oba mu kisibo, ka kibe ekiweebwayo ekyokebwa+ nga kiramba oba ssaddaaka gye muwaayo nga muliko obweyamo obw’enjawulo bwe mukola, oba ekiweebwayo ekya kyeyagalire,+ oba ekiweebwayo kye muwaayo nga mukwata embaga zammwe,+ musobole okunyookerereza Yakuwa+ evvumbe eddungi,*
4 oyo anaaleetanga ekiweebwayo kye, era anaaleetanga eri Yakuwa n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, kimu kya kkumi ekya efa* y’obuwunga obutaliimu mpulunguse+ obutabuddwamu kimu kya kuna ekya yini* y’amafuta g’ezzeyituuni.
5 Bw’onoowangayo ekiweebwayo ekyokebwa+ oba ssaddaaka ey’endiga ento ennume, onoowangayo n’omwenge ng’ekiweebwayo eky’eby’okunywa, kimu kya kuna ekya yini.
6 Bw’onoowangayo endiga enkulu ennume, onoowangayo n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, bibiri bya kkumi ebya efa y’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu kimu kya kusatu ekya yini y’amafuta g’ezzeyituuni.
7 Era onooleetanga omwenge ng’ekiweebwayo eky’eby’okunywa, kimu kya kusatu ekya yini, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa.
8 “‘Naye bw’onoowangayo ente ennume ng’ekiweebwayo ekyokebwa+ oba nga ssaddaaka ng’oliko obweyamo obw’enjawulo+ bw’okola, oba nga ssaddaaka ez’emirembe eri Yakuwa,+
9 ente eyo ennume onoogiweerangayo wamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke,+ bisatu bya kkumi ebya efa y’obuwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu kimu kya kubiri ekya yini y’amafuta g’ezzeyituuni.
10 Era onoowangayo n’omwenge ng’ekiweebwayo eky’eby’okunywa,+ kimu kya kubiri ekya yini, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa.
11 Bw’otyo bw’onookolanga ng’owaayo buli nte ennume oba buli ndiga enkulu ennume oba buli ndiga ento ennume oba buli mbuzi.
12 Ng’omuwendo gw’ensolo ze munaawangayo bwe gunaabanga, n’ebigenderako bwe binaabanga.
13 Buli Muyisirayiri bw’atyo bw’anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa.
14 “‘Era n’omugwira atuula mu mmwe oba oyo abadde mu mmwe okumala ekiseera ekiwanvu, bw’anaabanga awaayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa, anaakoleranga ddala nga nammwe bwe mukola.+
15 Mmwe ab’omu kibiina n’omugwira atuula mu mmwe mujja kuba n’etteeka limu. Lijja kuba tteeka lya lubeerera eri emirembe gyammwe gyonna. Mmwe n’omugwira mujja kuba mwenkanankana mu maaso ga Yakuwa.+
16 Wanaabangawo etteeka limu n’ekiragiro kimu gye muli n’eri omugwira atuula mu mmwe.’”
17 Yakuwa era n’agamba Musa nti:
18 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Bwe mutuukanga mu nsi gye mbatwala,
19 ne mulya ku mmere ey’omu nsi eyo,+ mubangako kye muwaayo eri Yakuwa.
20 Munaawangayo ku buwunga obulimu empulunguse bwe munaasookanga+ okusekula, nga mubukozeemu obugaati obwetooloovu.* Munaabuwangayo nga bwe muwaayo eby’omu gguuliro.
21 Mu mirembe gyammwe gyonna munaawangayo eri Yakuwa ku buwunga bwammwe obulimu empulunguse obw’emmere eneesookanga okukungulwa.
22 “‘Bwe munaakolanga ensobi ne mutakwata biragiro bino byonna Yakuwa by’agambye Musa,
23 ebyo byonna Yakuwa by’abalagidde ng’ayitira mu Musa, okuviira ddala ku lunaku Yakuwa lw’abibalagidde n’okweyongerayo mu mirembe gyammwe gyonna,
24 ensobi eyo bw’eneebanga ekoleddwa mu butali bugenderevu era ekibiina ne kitamanya, ekibiina kyonna kinaawangayo ente emu ento ennume ng’ekiweebwayo ekyokebwa eky’evvumbe eddungi* eri Yakuwa, n’ekiweebwayo ekigenderako eky’emmere ey’empeke n’eky’eby’okunywa ng’enkola eya bulijjo erina okugobererwa bw’eri,+ era kinaawangayo n’omwana gw’embuzi gumu ogw’ekiweebwayo olw’ekibi.+
25 Kabona anaatangiriranga ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri era ensobi eyo eneebasonyiyibwanga,+ kubanga ensobi eyo yakolebwa mu butali bugenderevu, ate nga banaabanga bawaddeyo ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro n’ekiweebwayo olw’ekibi mu maaso ga Yakuwa olw’ensobi yaabwe.
26 Ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri era n’omugwira atuula mu bo banaasonyiyibwanga ensobi eyo, kubanga abantu bonna banaabanga bagikoze mu butali bugenderevu.
27 “‘Omuntu yenna bw’anaayonoonanga mu butali bugenderevu, anaaleetanga embuzi enkazi etasussa mwaka gumu, okuba ekiweebwayo olw’ekibi.+
28 Kabona anaatangiriranga omuntu eyakola ensobi n’ayonoona mu butali bugenderevu mu maaso ga Yakuwa, ekibi kye kisobole okutangirirwa era kinaamusonyiyibwanga.+
29 Eri Omuyisirayiri n’eri omugwira atuula mu bo, wanaabangawo etteeka limu gye muli ku bikwata ku kwonoona mu butali bugenderevu.+
30 “‘Naye omuntu anaayonoonanga mu bugenderevu,+ k’abe Muyisirayiri oba mugwira, anaabanga avvodde Yakuwa, era anattibwanga n’aggibwa mu bantu be.
31 Olw’okuba anaabanga anyoomye ekigambo kya Yakuwa era ng’amenye ekiragiro kye, omuntu oyo anattibwanga.+ Ensobi ye eneebanga ku ye.’”+
32 Lwali lumu ng’Abayisirayiri bali mu ddungu, ne wabaawo abaasanga omusajja ng’alonderera obuku ku lunaku lwa Ssabbiiti.+
33 Abo abaamusanga ng’alonderera obuku baamuleeta eri Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna.
34 Ne babaako we bamukuumira+ kubanga eky’okumukolera kyali tekirambikiddwa mu mateeka.
35 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Omusajja oyo attibwe.+ Ekibiina kyonna kimukubire amayinja ebweru w’olusiisira.”+
36 Awo ekibiina kyonna ne kimutwala ebweru w’olusiisira ne kimukuba amayinja n’afa, nga Yakuwa bwe yalagira Musa.
37 Yakuwa n’ayongera n’agamba Musa nti:
38 “Gamba Abayisirayiri bateekenga ebijwenge ku nkugiro z’ebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era bateekenga akaguwa aka bbulu waggulu w’olukugiro oluliko ebijwenge.+
39 ‘Munaabanga n’enkugiro ezo eziriko ebijwenge, musobole okuzirabanga mujjukire ebiragiro bya Yakuwa byonna era mubikwate.+ Temugobereranga mitima gyammwe na maaso gammwe ebibaleetera okwenda mu by’omwoyo.+
40 Kino kijja kubayamba okujjukira ebiragiro byange byonna era mubikwate, mubeere batukuvu eri Katonda wammwe.+
41 Nze Yakuwa Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ya Misiri nkirage nti nze Katonda wammwe.+ Nze Yakuwa Katonda wammwe.’”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
^ Kimu kya kkumi ekya efa kyali kigyaamu lita 2.2. Laba Ebyong. B14.
^ Yini yali yenkana lita 3.67. Laba Ebyong. B14.
^ Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
^ Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
^ Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
^ Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”
^ Obugaati buno bwabangamu ekituli.
^ Oba, “erikkakkanya.” Obut., “eriweweeza.”