Okubala 19:1-22
-
Ente emmyufu n’amazzi ag’okutukuza (1-22)
19 Yakuwa era n’ayogera ne Musa ne Alooni n’abagamba nti:
2 “Lino lye tteeka Yakuwa ly’alagidde, ‘Gamba Abayisirayiri bakufunire ente eya lukunyu ennamu obulungi, etaliiko bulema,+ era etateekebwangako kikoligo.
3 Mujja kugiwa Eriyazaali kabona; ajja kugitwala ebweru w’olusiisira era bajja kugittira mu maaso ge.
4 Eriyazaali kabona ajja kunnyika olugalo lwe mu musaayi gwayo, agumansire emirundi musanvu okwolekera mu maaso ga weema ey’okusisinkaniramu.+
5 Era ente ejja kwokebwa ng’alaba. Eddiba lyayo n’ennyama yaayo n’omusaayi gwayo awamu n’obusa bwayo bijja kwokebwa.+
6 Kabona ajja kuddira ettabi ly’omuti gw’entolokyo n’obutabi bwa ezobu+ n’olugoye olumyufu abisuule mu muliro ente eyo mw’eyokerwa.
7 Era kabona ajja kwoza ebyambalo bye era anaabe n’amazzi. Oluvannyuma ajja kuba asobola okuyingira mu lusiisira, naye tajja kuba mulongoofu okutuusa akawungeezi.
8 “‘Oyo anaaba agyokezza ajja kwoza ebyambalo bye n’amazzi era anaabe n’amazzi; tajja kuba mulongoofu okutuusa akawungeezi.
9 “‘Omuntu omulongoofu ajja kuyoola evvu ly’ente+ aliteeke wabweru w’olusiisira mu kifo ekirongoofu; ekibiina ky’Abayisirayiri kijja kulitereka likozesebwenga mu kuteekateeka amazzi ag’okutukuza.+ Ekyo kye kiweebwayo olw’ekibi.
10 Oyo anaaba ayodde evvu ly’ente ajja kwoza ebyambalo bye era tajja kuba mulongoofu okutuusa akawungeezi.
“‘Lino linaabanga tteeka lya lubeerera eri Abayisirayiri n’eri omugwira atuula mu bo.+
11 Buli anaakwatanga ku mulambo gw’omuntu yenna anaamalanga ennaku musanvu+ nga si mulongoofu.
12 Ku lunaku olw’okusatu aneetukuzanga n’amazzi ago* era ku lunaku olw’omusanvu anaabanga mulongoofu. Naye bw’ateetukuzenga ku lunaku olw’okusatu, ku lunaku olw’omusanvu taabenga mulongoofu.
13 Buli muntu anaakwatanga ku mulambo gw’omuntu yenna, n’ateetukuza, anaabanga ayonoonye weema+ ya Yakuwa entukuvu era anattibwanga n’aggibwa mu Isirayiri.+ Taabenga mulongoofu olw’okuba anaabanga tamansiddwako mazzi ag’okutukuza.+ Obutali bulongoofu bwe bunaabanga bukyamuliko.
14 “‘Lino lye tteeka erinaagobererwanga ng’omuntu afiiridde mu weema: Buli anaayingiranga mu weema eyo, na buli anaabanga mu weema eyo, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu.
15 Buli kintu ekinaabanga kyasaamiridde nga tekisibiddwako kisaanikira, tekiibenga kirongoofu.+
16 Buli muntu anaabanga ku ttale n’akwata ku muntu attiddwa n’ekitala oba ku mulambo oba ku ggumba ly’omuntu oba ku malaalo, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu.+
17 Oyo atali mulongoofu banaamutooleranga ku vvu ery’ekiweebwayo olw’ekibi ekyayokebwa ne baliteeka mu kibya ne bayiwamu amazzi agaseneddwa ku mazzi agakulukuta.
18 Omuntu omulongoofu+ anaddiranga obutabi bwa ezobu+ n’abunnyika mu mazzi n’agamansira ku weema ne ku bintu byonna ebigibaddemu ne ku bantu abagibaddemu ne ku oyo anaabanga akutte ku ggumba ly’omuntu oba ku muntu eyattibwa oba ku mulambo oba ku malaalo.
19 Omuntu omulongoofu anaagamansiranga ku atali mulongoofu ku lunaku olw’okusatu n’olw’omusanvu era anaamutukuzanga okuva mu kibi ku lunaku olw’omusanvu;+ anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba n’amazzi, era akawungeezi anaabanga mulongoofu.
20 “‘Naye omuntu atali mulongoofu bw’ateetukuzenga, anattibwanga n’aggibwa mu kibiina,+ kubanga anaabanga ayonoonye ekifo kya Yakuwa ekitukuvu. Amazzi ag’okutukuza ganaabanga tegamumansiddwako. Taabenga mulongoofu.
21 “‘Lino linaabanga tteeka lya lubeerera gye bali: Oyo amansira amazzi ag’okutukuza+ anaayozanga ebyambalo bye, era n’oyo akwata ku mazzi ag’okutukuza taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
22 Era ekintu kyonna atali mulongoofu ky’anaakwatangako tekiibenga kirongoofu, n’omuntu anaakikwatangako taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.’”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Kwe kugamba, amazzi ag’okutukuza.