Okubala 27:1-23
27 Awo bawala ba Zerofekaadi+ mutabani wa Keferi mutabani wa Gireyaadi mutabani wa Makiri mutabani wa Manase, ow’omu mpya za Manase mutabani wa Yusufu, ne basembera. Gano ge mannya ga bawala be: Makula, Nuuwa, Kogula, Mirika ne Tiruza.
2 Ne bayimirira mu maaso ga Musa ne Eriyazaali kabona n’abaami+ n’ekibiina kyonna ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu, ne bagamba nti:
3 “Kitaffe yafiira mu ddungu naye teyali mu kibinja ky’abawagizi ba Koola+ abaakuŋŋaana okuwakanya Yakuwa, wabula yafa lwa kibi kye; naye teyazaala mwana wa bulenzi.
4 Kale lwaki erinnya lya kitaffe liggibwa mu kika kye olw’okuba teyazaala mwana wa bulenzi? Tusaba otuwe obutaka mu baganda ba kitaffe.”
5 Awo Musa n’atwala ensonga yaabwe mu maaso ga Yakuwa.+
6 Yakuwa n’agamba Musa nti:
7 “Bawala ba Zerofekaadi batuufu. Bawe obutaka obw’obusika mu baganda ba kitaabwe, era obusika bwa kitaabwe bubawe.+
8 Era gamba Abayisirayiri nti, ‘Singa omusajja yenna afa nga talese mwana wa bulenzi, obusika bwe munaabuwanga muwala we.
9 Bw’ataabenga na mwana wa buwala, obusika bwe munaabuwanga baganda be.
10 Bw’ataabenga na baganda be, obusika bwe munaabuwanga baganda ba kitaawe.
11 Kitaawe bw’ataabenga na baganda be, obusika bwe munaabuwanga amulinako oluganda olw’omusaayi olusinga okuba olw’okumpi, n’abutwala. Kino ekisaliddwawo linaabanga tteeka eri Abayisirayiri, nga Yakuwa bw’alagidde Musa.’”
12 Oluvannyuma Yakuwa n’agamba Musa nti: “Yambuka ku lusozi luno Abalimu,+ olengere ensi gye ŋŋenda okuwa Abayisirayiri.+
13 Bw’onoomala okugirengera, ojja kugoberera abantu bo,*+ nga Alooni muganda wo bwe yabagoberera,+
14 olw’okuba ekibiina bwe kyali kinnyombesa mu ddungu lya Zini, mwajeemera ekiragiro kyange ne mutantukuza mu maaso gaabwe bwe nnabawa amazzi.+ Ago ge mazzi g’e Meriba+ e Kadesi+ mu ddungu lya Zini.”+
15 Awo Musa n’agamba Yakuwa nti:
16 “Yakuwa Katonda awa abantu bonna obulamu alondere ekibiina omusajja
17 anaabakulemberanga mu bye bakola, era anaabafulumyanga ate n’abayingiza, ekibiina kya Yakuwa kireme kuba ng’endiga ezitalina musumba.”
18 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Twala Yoswa mutabani wa Nuuni, omusajja alina obusobozi, omusseeko emikono;+
19 era ojja kumuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g’ekibiina kyonna, omukwase obukulembeze nga balaba.+
20 Ojja kumuwa ku buyinza bwo,*+ ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri kimuwulirizenga.+
21 Ajja kuyimiriranga mu maaso ga Eriyazaali kabona, era Eriyazaali anaakozesanga Ulimu+ okwebuuza ku Yakuwa ku lulwe okumanya ky’anaabanga asazeewo. Ye n’Abayisirayiri bonna n’ekibiina kyonna bajja kufulumanga era bajja kuyingiranga nga baweereddwa ekiragiro.”
22 Awo Musa n’akola nga Yakuwa bwe yamulagira, n’atwala Yoswa n’amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g’ekibiina kyonna,
23 n’amussaako emikono n’amulonda okuba omukulembeze,+ nga Yakuwa bwe yayogera okuyitira mu Musa.+