Okubala 35:1-34
35 Yakuwa era n’ayogera ne Musa mu ddungu lya Mowaabu okumpi ne Yoludaani+ okuliraana Yeriko, n’amugamba nti:
2 “Gamba Abayisirayiri nti bajja kuwa Abaleevi ebibuga eby’okubeeramu nga babiggya ku busika bwe banaafuna,+ era bajja kubawa n’amalundiro ageetoolodde ebibuga ebyo.+
3 Ebibuga bajja kubibeerangamu, ate amalundiro agabyetoolodde gajja kubeeranga ga magana gaabwe n’ebisibo byabwe, n’ebintu byabyo, n’ensolo zaabwe endala zonna.
4 Amalundiro ageetoolodde ebibuga bye munaawa Abaleevi gajja kuba emikono* 1,000 obuwanvu okuva ku kisenge ky’ekibuga ku njuyi zonna.
5 Mujja kupima ebweru w’ekibuga ku luuyi olw’ebuvanjuba emikono 2,000, ne ku luuyi olw’ebukiikaddyo emikono 2,000, ne ku luuyi olw’ebugwanjuba emikono 2,000, ne ku luuyi olw’ebukiikakkono emikono 2,000, ng’ekibuga kiri wakati. Ago ge gajja okuba amalundiro g’ebibuga byabwe.
6 “Ebibuga bye munaawa Abaleevi bijja kuba ebibuga 6 eby’okuddukiramu;+ mujja kubiwaayo, oyo anaabanga asse omuntu addukire omwo,+ era mubawe n’ebirala 42.
7 Ebibuga byonna bye munaawa Abaleevi bijja kuba ebibuga 48, awamu n’amalundiro gaabyo.+
8 Ebibuga bye munaawaayo bijja kuva ku butaka bw’Abayisirayiri.+ Abangi mujja kubaggyako bingi, ate abatono mujja kubaggyako bitono.+ Buli kika kijja kuwa Abaleevi ebimu ku bibuga byakyo okusinziira ku busika bwe kinaafuna.”
9 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti:
10 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Mugenda kusomoka Yoludaani okugenda mu nsi ya Kanani.+
11 Mujja kulonda ebibuga ebinaababeerera ebyangu okutuukamu, bibeere ebibuga eby’okuddukiramu, oyo anaabanga asse omuntu mu butanwa mw’anaddukiranga.+
12 Ebibuga ebyo bye munaddukirangamu okuwona oyo awoolera eggwanga,+ oyo anaabanga asse omuntu aleme okuttibwa nga tannawozesebwa mu maaso ga kibiina.+
13 Ebibuga omukaaga eby’okuddukiramu bye munaawaayo bye munaakozesanga.
14 Mujja kuwaayo ebibuga bisatu ku ludda luno olwa Yoludaani,+ n’ebirala bisatu mu nsi ya Kanani,+ bibeere ebibuga eby’okuddukiramu.
15 Ebibuga ebyo omukaaga binaddukirwangamu Omuyisirayiri n’omugwira n’omusenze mu bo;+ oyo yenna anaabanga asse omuntu mu butanwa anaddukiranga omwo.+
16 “‘Naye bw’anaabanga amukubisizza ekintu eky’ekyuma n’afa, anaabanga mutemu. Omutemu taalemenga kuttibwa.+
17 Bw’anaabanga amukubye ejjinja eriyinza okutta omuntu, era n’afa, anaabanga mutemu. Omutemu taalemenga kuttibwa.
18 Bw’anaabanga amukubisizza ekintu eky’omuti ekiyinza okutta omuntu, era n’afa, anaabanga mutemu. Omutemu taalemenga kuttibwa.
19 “‘Oyo awoolera eggwanga y’anattanga omutemu. Ye yennyini y’anaamuttanga ng’amusanze.
20 Era bw’aba nga yamusindika lwa kuba nti yamulinako empalana, oba nga yamukasukira ekintu ng’agenderera okumutuusaako akabi,*+ n’amutta,
21 oba bw’aba nga yamukuba n’omukono gwe olw’okuba yamulinako empalana, n’afa, oyo eyamukuba anattibwanga kubanga mutemu. Awoolera eggwanga y’anattanga omutemu ng’amusanze.
22 “‘Kyokka bw’aba nga yamusindika mu butanwa nga si lwa kuba nti yamulinako empalana, oba ng’aliko kye yamukasukira naye nga teyagenderera kumutuusaako kabi,*+
23 oba nga yali tamulabye bw’atyo n’amusuulako ejjinja mu butanwa, nga teyali mulabe we era nga teyalina kigendererwa kya kumukolako kabi, omuntu oyo n’afa,
24 ekibiina kinaasalangawo wakati w’oyo eyamukuba n’oyo awoolera eggwanga, nga kigoberera ebiragiro ebyo.+
25 Ekibiina kinaawonyanga oyo anaabanga asse omuntu mu mukono gw’oyo awoolera eggwanga, ne kimuzzaayo mu kibuga eky’okuddukiramu ky’anaabanga addukiddemu, era alina okubeera omwo okutuusa nga kabona asinga obukulu eyafukibwako amafuta amatukuvu amaze okufa.+
26 “‘Naye oyo anaabanga asse omuntu bw’anaasalanga ensalo y’ekibuga eky’okuddukiramu ky’anaabanga addukiddemu,
27 awoolera eggwanga n’amusanga ebweru w’ensalo y’ekibuga eky’okuddukiramu n’amutta, taabengako musango gwa kuyiwa musaayi.
28 Kubanga oyo eyatta omuntu alina okubeera mu kibuga eky’okuddukiramu okutuusa nga kabona asinga obukulu amaze okufa. Kabona asinga obukulu bw’anaamalanga okufa, ng’olwo oyo eyatta omuntu addayo mu kibanja kye.+
29 Gano ge mateeka ge munaagobereranga nga musala emisango mu mirembe gyammwe gyonna, mu bitundu byonna gye munaabeeranga.
30 “‘Buli anattanga omuntu anattibwanga olw’obutemu+ nga waliwo abajulizi abamulumiriza,*+ naye omuntu tattibwenga nga waliwo obujulizi bwa muntu omu yekka.
31 Temukkirizanga kinunulo kiweebwayo ku lw’omutemu agwanira okufa, kubanga alina okuttibwa.+
32 Temukkirizanga kinunulo kiweebwayo olw’oyo eyaddukira mu kibuga eky’okuddukiramu; temumukkirizanga kuddayo kubeera mu kitundu kye nga kabona asinga obukulu tannafa.
33 “‘Temwonoonanga nsi gye mubeeramu, kubanga omusaayi gwonoona ensi,+ era tewali kiyinza kutangirira musaayi oguba guyiiriddwa mu nsi okuggyako omusaayi gw’oyo aba aguyiye.+
34 Era temwonoonanga nsi gye mubeeramu, era gye mbeeramu; kubanga nze Yakuwa mbeera mu bantu ba Isirayiri.’”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Omukono gwali gwenkana sentimita 44.5 (inci 17.5). Laba Ebyong. B14.
^ Obut., “ng’amuteeze”
^ Obut., “teyamuteega.”
^ Obut., “emimwa egimulumiriza.”