Okukungubaga 2:1-22
א [Alefu]
2 Yakuwa abisse ku muwala wa Sayuuni ekire eky’obusungu bwe.
Obulungi bwa Isirayiri abusudde ku nsi okuva mu ggulu.+
Tajjukidde ntebe ya bigere bye+ ku lunaku olw’obusungu bwe.
ב [Besu]
2 Ebifo byonna Yakobo mw’abeera Yakuwa abizikirizza awatali kusaasira.
Mu busungu bwe, amenye ebigo bya muwala wa Yuda.+
Assizza wansi era n’atyoboola obwakabaka+ n’abakungu be.+
ג [Gimeri]
3 Mu busungu bwe obubuubuuka atemye buli jjembe lya Isirayiri.*
Yaggyayo omukono gwe ogwa ddyo ng’omulabe azze,+Obusungu bwe bwabuubuukira Yakobo ng’omuliro ogwokya byonna ebigwetoolodde.+
ד [Dalesi]
4 Awese omutego gwe ng’omulabe; okufaananako omulabe, ateeseteese omukono gwe ogwa ddyo okulumba;+Yattanga abo bonna abaali basanyusa amaaso gaffe.+
Yafuka obusungu bwe ng’omuliro+ mu weema ya muwala wa Sayuuni.+
ה [Ke]
5 Yakuwa afuuse ng’omulabe;+Azikirizza Isirayiri.
Azikirizza eminaala gye gyonna;Azikirizza ebigo byonna.
Aleetedde muwala wa Yuda okukungubaga ennyo n’okukuba ebiwoobe.
ו [Wawu]
6 Amenye ensiisira ye+ ng’amenya akasiisira ak’omu nnimiro.
Akomezza* embaga ye.+
Yakuwa aleetedde embaga ne ssabbiiti okwerabirwa mu Sayuuni,Era mu busungu bwe obungi tafuddeeyo ku kabaka ne kabona.+
ז [Zayini]
7 Yakuwa yeesambye ekyoto kye;Yeesambye ekifo kye ekitukuvu.+
Awaddeyo ebisenge by’eminaala gya Sayuuni mu mukono gw’omulabe.+
Baaleekanira mu nnyumba ya Yakuwa,+ nga bwe kiba ku lunaku lw’embaga.
ח [Kesu]
8 Yakuwa amaliridde okuzikiriza bbugwe w’omuwala wa Sayuuni.+
Aleeze omuguwa ogupima.+
Omukono gwe tagukugidde kuzikiriza.*
Aleetera ekigo ne bbugwe okukungubaga.
Byonna binafuye.
ט [Tesu]
9 Enzigi ze zisse wansi mu ttaka.+
Azikirizza era amenye ebisiba bye.
Kabaka we n’abakungu be bali mu mawanga.+
Tewali n’omu agoberera mateeka;* ne bannabbi tebafuna kwolesebwa okuva eri Yakuwa.+
י [Yodi]
10 Abakadde ba muwala wa Sayuuni batuula wansi ku ttaka ne basirika.+
Bayiwa enfuufu ku mitwe gyabwe era bambala ebibukutu.+
Abawala embeerera ab’omu Yerusaalemi bakutamye ne bateeka emitwe gyabwe ku ttaka.
כ [Kafu]
11 Amaaso gange gakooye olw’okukaaba.+
Ebyenda bintokota.
Ekibumba kyange kiyiise ku ttaka, olw’okugwa kwa muwala w’abantu bange,+N’olw’abaana abato n’abawere abazirikira mu bibangirizi by’ekibuga.+
ל [Lamedi]
12 Babuuza bannyaabwe nti, “Emmere n’omwenge biri wa?”+
Olw’okuba bazirikira mu bibangirizi by’ekibuga ng’omuntu atuusiddwako ebisago,Ng’obulamu bugenda bubaggwaamu nga bali mu mikono gya bannyaabwe.
מ [Memu]
13 Nkuwe kyakulabirako ki,Oba nkufaananye ki ggwe muwala wa Yerusaalemi?
Nkugeraageranye ku ki okukubudaabuda ggwe muwala wa Sayuuni embeerera?
Kubanga ekiwundu kyo kinene okwenkana ennyanja.+ Ani ayinza okukuwonya?+
נ [Nuni]
14 Bannabbi bo bye baalaba mu kwolesebwa ku lulwo byali bya bulimba era tebyalimu nsa,+Tebaayanika nsobi zo oleme okutwalibwa mu buwambe,+Naye baakubuuliranga okwolesebwa okw’obulimba era okubuzaabuza.+
ס [Sameki]
15 Abo bonna abayitawo ku luguudo bakuba mu ngalo okwoleka obunyoomi.+
Bafuuwa oluwa olw’okwewuunya+ era ne banyeenyeza muwala wa Yerusaalemi omutwe, nga bagamba nti:
“Kino kye kibuga kye baayogerangako nti, ‘Kyalungiwa ne kituukirira, essanyu ly’ensi yonna’?”+
פ [Pe]
16 Abalabe bo bonna bakujerega.
Bafuuwa oluwa era ne baluma obugigi ne bagamba nti: “Tumumize.+
Luno lwe lunaku lwe tubadde tulindirira!+ Lutuuse era tululabye!”+
ע [Ayini]
17 Yakuwa akoze nga bwe yayagala;+ atuukirizza kye yagamba,+Kye yalagira edda.+
Amenye awatali kusaasira.+
Aleetedde omulabe okukuwangula n’ajaganya; agulumizza amaanyi* g’abalabe bo.
צ [Sade]
18 Ggwe bbugwe wa muwala wa Sayuuni, omutima gw’abantu gukaabirira Yakuwa,Amaziga ka gakulukute ng’omugga emisana n’ekiro.
Teweewummuzaamu, eriiso lyo* toliwummuza.
ק [Kofu]
19 Situka! Kaaba ekiro, ng’ebisisimuka byakatandika.
Tegeeza Yakuwa byonna ebikuli ku mutima ng’okaaba amaziga.
Wanika emikono gyo gy’ali olw’obulamu bw’abaana bo,Abazirikira olw’enjala ku buli luguudo.+
ר [Lesu]
20 Laba, Ai Yakuwa, tunula ku oyo gw’obonerezza.
Mazima ddala abakazi balye abaana baabwe,* abaana baabwe be baazaala?+
Era ne bakabona ne bannabbi battirwe mu kifo kya Yakuwa ekitukuvu?+
ש [Sini]
21 Emirambo gy’abalenzi n’abasajja abakadde giri mu nguudo.+
Bawala bange embeerera n’abavubuka battiddwa ekitala.+
Osse ku lunaku olw’obusungu bwo; osse awatali kusaasira.+
ת [Tawu]
22 Oyita entiisa okuva ku njuyi zonna, nga gy’obeera nti ogiyitira olunaku olw’embaga.+
Ku lunaku olw’obusungu bwa Yakuwa, tewali n’omu yasimattuka wadde okuwonawo;+Abo be nnazaala* ne nkuza omulabe wange abazikirizza.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “aggyeewo amaanyi ga Isirayiri gonna.”
^ Oba, “Azikirizza.”
^ Obut., “kumira.”
^ Oba, “bulagirizi.”
^ Obut., “ejjembe.”
^ Obut., “muwala w’eriiso lyo.”
^ Oba, “ebibala by’enda yaabwe.”
^ Oba, “nnazaala nga balamu bulungi.”