Olubereberye 36:1-43
36 Bino bye byafaayo bya Esawu, kwe kugamba, Edomu.+
2 Esawu yawasa bakazi be bano mu bawala b’omu Kanani: Ada+ muwala wa Eroni Omukiiti,+ Okolibama+ muwala wa Ana era muzzukulu wa Zibyoni Omukiivi,
3 ne Basemasi+ muwala wa Isimayiri era mwannyina wa Nebayoosi.+
4 Ada yazaalira Esawu Erifaazi, Basemasi n’azaala Leweri,
5 ate Okolibama n’azaala Yewusi, Yalamu, ne Koola.+
Abo be batabani ba Esawu abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani.
6 Oluvannyuma Esawu yatwala bakazi be, batabani be, bawala be, abantu bonna ab’omu nnyumba ye, amagana ge, ensolo ze endala, n’obugagga bwonna bwe yali afunye+ mu nsi ya Kanani, n’agenda mu nsi endala walako okuva muganda we Yakobo we yali,+
7 kubanga ebintu byabwe byali byaze nnyo nga tebakyayinza kubeera wamu, era ensi gye baali babeeramu* yali tekyayinza kubamala olw’ebisolo byabwe.
8 Esawu n’abeera mu kitundu ky’e Seyiri+ eky’ensozi. Esawu era ayitibwa Edomu.+
9 Bino bye byafaayo bya Esawu kitaawe w’Abeedomu ababeera mu kitundu ky’e Seyiri eky’ensozi.+
10 Gano ge mannya ga batabani ba Esawu: Erifaazi omwana wa Ada muka Esawu; Leweri omwana wa Basemasi muka Esawu.+
11 Bano be batabani ba Erifaazi: Temani,+ Omali, Zeefo, Gatamu ne Kenazi.+
12 Timuna yali muzaana wa Erifaazi mutabani wa Esawu. Oluvannyuma yazaalira Erifaazi Amaleki.+ Abo be baana ba Ada muka Esawu.
13 Bano be batabani ba Leweri: Nakasi, Zeera, Samma, ne Mizza. Abo be baana* ba Basemasi+ muka Esawu.
14 Bano be baana ab’obulenzi Okolibama muka Esawu, muwala wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, be yazaalira Esawu: Yewusi, Yalamu, ne Koola.
15 Bano be baami* abaava mu Esawu:+ Batabani ba Erifaazi omubereberye wa Esawu: Omwami Temani, Omwami Omali, Omwami Zeefo, Omwami Kenazi,+
16 Omwami Koola, Omwami Gatamu, n’Omwami Amaleki. Abo be batabani ba Erifaazi+ abaali abaami mu nsi ya Edomu. Abo be baana ba Ada.
17 Bano be batabani ba Leweri mutabani wa Esawu: Omwami Nakasi, Omwami Zeera, Omwami Samma, n’Omwami Mizza. Abo be batabani ba Leweri abaali abaami mu nsi ya Edomu.+ Abo be baana ba Basemasi muka Esawu.
18 Ne batabani ba Okolibama muka Esawu be bano: Omwami Yewusi, Omwami Yalamu, n’Omwami Koola. Abo be baami abaava mu Okolibama muwala wa Ana era muka Esawu.
19 Abo be baana ba Esawu ayitibwa Edomu,+ era abo be baami baabwe.
20 Bano be baana ba Seyiri Omukooli era abatuuze b’omu nsi:+ Lotani, Sobali, Zibyoni, Ana,+
21 Disoni, Ezeri, ne Disani.+ Bano be baami b’Abakooli, bazzukulu ba Seyiri ab’omu nsi ya Edomu.
22 Bano be batabani ba Lotani: Koli ne Kemamu; era mwannyina wa Lotani yali ayitibwa Timuna.+
23 Bano be batabani ba Sobali: Aluvani, Manakasi, Ebali, Seefo, ne Onamu.
24 Bano be batabani ba Zibyoni:+ Aya ne Ana. Ono ye Ana eyazuula ensulo z’amazzi agookya mu ddungu bwe yali alunda endogoyi za kitaawe Zibyoni.
25 Bano be baana ba Ana: Disoni ne Okolibama muwala wa Ana.
26 Bano be batabani ba Disoni: Kemudaani, Esubani, Isulani, ne Kerani.+
27 Bano be batabani ba Ezeri: Birukani, Zaavani, ne Akani.
28 Bano be batabani ba Disani: Uzzi ne Alani.+
29 Bano be baami b’Abakooli: Omwami Lotani, Omwami Sobali, Omwami Zibyoni, Omwami Ana,
30 Omwami Disoni, Omwami Ezeri, n’Omwami Disani.+ Abo be baami b’Abakooli abaali mu nsi ya Seyiri.
31 Bano be bakabaka abaafuga mu nsi ya Edomu+ nga tewannabaawo kabaka yenna afuga Abayisirayiri.*+
32 Bera mutabani wa Byoli yafuga mu Edomu era ekibuga kye kyali kiyitibwa Dinukaba.
33 Bera bwe yafa, Yobabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’amusikira ku bwakabaka.
34 Yobabu bwe yafa, Kusamu ow’omu nsi y’Abatemani n’amusikira ku bwakabaka.
35 Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi eyawangula Abamidiyaani+ mu nsi ya Mowaabu n’amusikira ku bwakabaka, era ekibuga kye kyali kiyitibwa Avisi.
36 Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’amusikira ku bwakabaka.
37 Samula bwe yafa, Sawuli ow’e Lekobosi ekiri okumpi n’Omugga* n’amusikira ku bwakabaka.
38 Sawuli bwe yafa, Bbaali-kanani mutabani wa Akubooli n’amusikira ku bwakabaka.
39 Bbaali-kanani mutabani wa Akubooli bwe yafa, Kadali n’amusikira ku bwakabaka. Ekibuga kye kyali kiyitibwa Pawu, ate mukazi we yali ayitibwa Meketaberi muwala wa Matuledi muwala wa Mezakabu.
40 Gano ge mannya g’abaami abaava mu Esawu okusinziira ku bika byabwe ne ku bifo bye baali babeeramu: Omwami Timuna, Omwami Aluva, Omwami Yesesi,+
41 Omwami Okolibama, Omwami Ela, Omwami Pinoni,
42 Omwami Kenazi, Omwami Temani, Omwami Mibuzali,
43 Omwami Magudyeri, n’Omwami Iramu. Abo be baami b’omu Edomu okusinziira ku bitundu gye baabeeranga mu nsi yaabwe.+ Oyo ye Esawu kitaawe w’Abeedomu.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “gye baali babeeramu ng’abagwira.”
^ Oba, “bazzukulu.”
^ Abaami aboogerwako wano baali bakulu ba bika.
^ Obut., “abaana ba Isirayiri.”
^ Omugga Fulaati.