Olubereberye 44:1-34

  • Ekikopo kya Yusufu ekya ffeeza mu nsawo ya Benyamini (1-17)

  • Yuda yeegayirira ku lwa Benyamini (18-34)

44  Oluvannyuma Yusufu n’alagira omusajja eyali alabirira ennyumba ye nti: “Teeka mu nsawo z’abasajja emmere gye basobola okwetikka era oteeke ssente za buli omu mu mumwa gw’ensawo ye.+  Naye mu mumwa gw’ensawo y’oyo asembayo obuto teekamu ekikopo kyange ekya ffeeza n’essente z’emmere ye.” Awo omusajja n’akola nga Yusufu bwe yamulagira.  Awo ku makya ng’obudde butangadde abasajja ne babasiibula okugenda nga bali n’endogoyi zaabwe.  Bwe baali baakatambulako katono okuva mu kibuga, Yusufu n’agamba omusajja eyali alabirira ennyumba ye nti: “Situka owondere abasajja! Bw’obatuukako bagambe nti: ‘Lwaki ekirungi mukisasuddemu ekibi?  Kino si kye kikopo mukama wange ky’anyweramu era ky’akozesa okulagula? Kye mukoze kibi nnyo.’”  Awo n’abatuukako n’abagamba ebigambo ebyo.  Naye ne bamugamba nti: “Lwaki mukama waffe ayogera bw’atyo? Tekiyinzika n’akatono ffe abaweereza bo okukola ekintu ng’ekyo.  Olaba ne ssente ze twasanga mu mimwa gy’ensawo zaffe twazikomyawo gy’oli okuva mu nsi ya Kanani!+ Kale tuyinza tutya okubba ffeeza oba zzaabu okuva mu nnyumba ya mukama wo?  Omuddu wo anaasangibwa nakyo attibwe, era naffe abalala tunaafuuka abaddu ba mukama waffe.” 10  Awo n’abagamba nti: “Kale ka kibeere nga bwe mugambye: Oyo anaasangibwa nakyo ajja kuba muddu wange naye mmwe abalala temujja kuba na musango.” 11  Awo buli omu n’assa mangu ensawo ye wansi era n’agisumulula. 12  N’anoonya n’obwegendereza. Yatandikira ku asinga obukulu n’amalira ku asembayo obuto. Oluvannyuma ekikopo ne kisangibwa mu nsawo ya Benyamini.+ 13  Awo ne bayuza ebyambalo byabwe, buli omu n’asitula ekitereke kye n’akizza ku ndogoyi ye ne baddayo mu kibuga. 14  Yuda+ ne baganda be bwe baayingira mu nnyumba ya Yusufu, Yusufu yali akyaliyo; ne bavunnama mu maaso ge.+ 15  Yusufu n’abagamba nti: “Kiki kino kye mukoze? Mubadde temumanyi nti omusajja alinga nze asobola okulagula?”+ 16  Awo Yuda n’agamba nti: “Mukama waffe tumugambe ki? Twogere ki? Tunaakiraga tutya nti tuli batuukirivu? Katonda ow’amazima azudde ensobi y’abaddu bo.+ Laba kaakano tuli baddu ba mukama waffe, ffe n’oyo asangiddwa n’ekikopo!” 17  Kyokka ye n’agamba nti: “Tekiyinzika n’akatono nze okukola ekyo! Oyo asangiddwa n’ekikopo y’anaafuuka omuddu wange.+ Mmwe abalala mugende mirembe eri kitammwe.” 18  Awo Yuda n’amusemberera n’agamba nti: “Nkwegayiridde mukama wange, ka njogere naawe era tosunguwalira muddu wo, kubanga ggwe olinga Falaawo yennyini.+ 19  Mukama wange yabuuza abaddu be nti, ‘Mulina kitammwe oba muganda wammwe omulala?’ 20  Ne tuddamu mukama waffe nti, ‘Tulina kitaffe akaddiye era n’omwana ow’omu bukadde bwe, asembayo obuto.+ Naye muganda we yafa+ era ye yekka asigaddewo ku baana ba nnyina,+ era kitaawe amwagala nnyo.’ 21  Oluvannyuma wagamba abaddu bo nti, ‘Mumundeetere mmulabe.’+ 22  Naye ne tugamba mukama waffe nti, ‘Omulenzi tayinza kuva ku kitaawe. Singa amuvaako, awatali kubuusabuusa kitaawe ajja kufa.’+ 23  Awo n’ogamba abaddu bo nti, ‘Temuddamu okujja mu maaso gange okuggyako nga muganda wammwe asembayo obuto azze nammwe.’+ 24  “Awo ne tugenda eri omuweereza wo kitaffe ne tumutegeeza ebigambo bya mukama waffe. 25  Oluvannyuma lw’ekiseera kitaffe yatugamba nti, ‘Muddeeyo mutugulire ku kamere.’+ 26  Naye ne tumugamba nti, ‘Tetuyinza kugenda. Muganda waffe asembayo obuto bw’anaaba naffe olwo tujja kugenda, kubanga tetuyinza kulabika mu maaso ga musajja okuggyako nga muganda waffe asembayo obuto ali naffe.’+ 27  Awo omuddu wo kitaffe n’atugamba nti, ‘Mukimanyi bulungi nti mukazi wange yanzaalira abaana ab’obulenzi babiri.+ 28  Naye omu yandekawo ne ŋŋamba nti: “Mazima ddala yataaguddwataaguddwa!”+ era okuva olwo siddangayo kumulaba. 29  Kale singa n’ono mumunzigyako n’afuna akabenje n’afa, mazima ddala mulindeetera okukkirira emagombe*+ mu bukadde bwange nga ndi mu bulumi.’+ 30  “Kaakano bwe nzirayo eri omuddu wo kitange ng’omulenzi tali naffe, ng’ate amwagala nnyo nga bw’ayagala obulamu bwe, 31  kale olunaalaba ng’omulenzi taliiwo ajja kufa, era mazima ddala abaddu bo bajja kuleetera omuddu wo kitaffe okukkirira emagombe* nga munakuwavu. 32  Omuddu wo yeeyama eri kitange nti ajja kukakasa nti omulenzi tatuukibwako kabi ng’agamba nti, ‘Bwe sirimukomyawo gy’oli, ndiba nsobezza eri kitange emirembe n’emirembe.’+ 33  Kale kaakano nkwegayiridde, omuddu wo k’asigale mu kifo ky’omulenzi, abeere omuddu wa mukama wange, omulenzi asobole okuddayo ne baganda be. 34  Nnyinza ntya okuddayo eri kitange ng’omulenzi tali nange? Siyinza kugumira kulaba kabi kano nga katuuka ku kitange!”

Obugambo Obuli Wansi

Laba Awanny.
Laba Awanny.