Olubereberye 50:1-26
50 Yusufu ne yeesuula ku kitaawe,+ n’akaaba era n’amunywegera.
2 Oluvannyuma Yusufu n’alagira abaweereza be abasawo okukaza omulambo gwa kitaawe.+ Awo abasawo ne bakaza omulambo gwa Isirayiri.
3 Baamala ennaku 40 nga bagukaza, kubanga ezo ze nnaku ze bamala nga bakaza omulambo, era Abamisiri beeyongera okumukaabira okumala ennaku 70.
4 Ennaku ez’okumukungubagira bwe zaggwaako, Yusufu n’ayogera n’ab’omu lubiri* lwa Falaawo n’abagamba nti: “Bwe mba nga nsiimibwa mu maaso gammwe, mugambe Falaawo nti,
5 ‘Kitange yandayiza+ ng’agamba nti: “Laba! Nnaatera okufa!+ Munziikanga mu kifo+ kye nnateekateeka mu nsi ya Kanani.”+ Ka ŋŋende nziike kitange oluvannyuma nja kudda.’”
6 Awo Falaawo n’amuddamu nti: “Genda oziike kitaawo nga bwe yakulayiza.”+
7 Bw’atyo Yusufu n’agenda okuziika kitaawe, era abaweereza ba Falaawo bonna baagenda naye, n’abakadde+ b’omu lubiri lwa Falaawo bonna, n’abakadde bonna ab’omu nsi ya Misiri,
8 n’ab’ennyumba ye bonna, ne baganda be bonna, n’ab’ennyumba ya kitaawe bonna.+ Abaana baabwe abato n’ebisibo byabwe n’amagana gaabwe bye byokka bye baaleka mu kitundu ky’e Goseni.
9 Ate era yagenda n’amagaali+ n’abeebagadde embalaasi, era ekibinja kyali kinene nnyo.
10 Oluvannyuma ne batuuka mu gguuliro ly’e Atadi ekiri mu kitundu kya Yoludaani ne bakaaba nnyo, era n’akungubagira kitaawe okumala ennaku musanvu.
11 Abatuuze b’omu nsi eyo, Abakanani, bwe baabalaba nga bakungubagira mu gguuliro ly’e Atadi ne bagamba nti: “Abamisiri nga bakungubaze nnyo!” Eyo ye nsonga lwaki ekifo ekyo kyatuumibwa Aberu-mizirayimu,* era kiri mu kitundu kya Yoludaani.
12 Batabani ba Yakobo ne bakolera ddala nga bwe yabalagira;+
13 ne bamutwala mu nsi ya Kanani ne bamuziika mu mpuku eyali mu kibanja ky’e Makupeera ekiri mu maaso ga Mamule, ekibanja Ibulayimu kye yagula ku Efulooni Omukiiti okuba ekifo eky’okuziikangamu.+
14 Yusufu bwe yamala okuziika kitaawe, n’addayo e Misiri ne baganda be n’abo bonna abaali bagenze naye okuziika kitaawe.
15 Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe afudde, ne bagamba nti: “Yusufu yandiba nga yatusibira ekiruyi era ng’ajja kutwesasuza olw’ebibi byonna bye twamukola.”+
16 Awo ne baweereza Yusufu obubaka obugamba nti: “Kitaawo bwe yali tannafa yalagira nti:
17 ‘Bwe muti bwe mugambanga Yusufu nti: “Nkwegayiridde sonyiwa okwonoona kwa baganda bo n’ekibi kye baakola ne bakutuusaako akabi akenkanidde awo.”’ Kaakano tukwegayiridde sonyiwa okwonoona kw’abaweereza ba Katonda wa kitaawo.” Yusufu bwe baamugamba ebyo n’akaaba.
18 Awo baganda be nabo ne bajja ne bagwa wansi mu maaso ge ne bamugamba nti: “Tuutuno tuli baddu bo!”+
19 Yusufu n’abagamba nti: “Temutya. Siyinza kwessa mu kifo kya Katonda.
20 Newakubadde nga mmwe mwali mugenderedde kuntuusaako kabi,+ Katonda yayagala kiveemu ebirungi era awonye obulamu bw’abantu bangi nga bw’akola leero.+
21 Kale nno temutya. Nja kubawanga emmere, mmwe awamu n’abaana bammwe abato.”+ Bw’atyo n’ababudaabuda era n’abagumya.
22 Yusufu ne yeeyongera okubeera e Misiri n’ab’ennyumba ya kitaawe, era yawangaala emyaka 110.
23 Era yalaba bazzukulu ba Efulayimu,+ n’abaana ba Makiri+ mutabani wa Manase. Baazaalibwa ku maviivi ga Yusufu.*
24 Oluvannyuma lw’ekiseera, Yusufu n’agamba baganda be nti: “Nnaatera okufa. Naye Katonda talirema kubayamba,+ era alibaggya mu nsi eno n’abatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo.”+
25 Bw’atyo Yusufu n’alayiza abaana ba Isirayiri ng’agamba nti: “Katonda talirema kubayamba. Kale muggyanga amagumba gange eno ne mugatwala.”+
26 Awo Yusufu n’afa ng’aweza emyaka 110. Ne bamukaza,+ era ne bamuteeka mu ssanduuko e Misiri.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “n’ab’omu nnyumba ya.”
^ Litegeeza, “Okukungubaga kw’Abamisiri.”
^ Kwe kugamba, baatwalibwa nga batabani be, era baafiibwako mu ngeri ey’enjawulo.