Omubuulizi 5:1-20

  • Tuukirira Yakuwa ng’omutya mu ngeri esaana (1-7)

  • Abali wansi batunuulirwa ababali waggulu (8, 9)

  • Obugagga butaliimu (10-20)

    • Abaagala ssente tebamatira (10)

    • Otulo tw’omukozi tuwooma (12)

5  Weegenderezanga buli lw’ogenda mu nnyumba ya Katonda ow’amazima;+ okugenda okuwuliriza+ kisinga okuwaayo ssaddaaka ng’abasirusiru bwe bakola,+ kubanga tebamanyi nti kye bakola kibi.  Topapanga kwogera, era omutima gwo tegwanguyirizanga kwogera mu maaso ga Katonda ow’amazima,+ kubanga Katonda ow’amazima ali mu ggulu, naye ggwe oli ku nsi. Eyo ye nsonga lwaki ebigambo byo bisaanidde okuba ebitono.+  Ebintu ebiteganya omuntu bye bimuviirako okuloota,+ era okwogera ennyo kuleetera omuntu okwogera eby’ekisirusiru.+  Buli lw’obaako kye weeyamye eri Katonda, tolwangawo kukituukiriza;+ kubanga Katonda tasanyukira basirusiru.+ Kye weeyama okituukirizanga.+  Waakiri oleme okweyama, okusinga okweyama n’ototuukiriza.+  Toganyanga kamwa ko kukuleetera* kwonoona,+ era toyogeranga mu maaso ga malayika* nti tewagenderedde.+ Lwaki osunguwaza Katonda ow’amazima olw’ebyo by’oyogera, n’azikiriza emirimu gy’emikono gyo?+  Ng’okutegana ennyo bwe kuviirako omuntu okuloota,+ n’ebigambo ebingi nabyo butaliimu. Otyanga Katonda ow’amazima.+  Bw’olabanga ow’obuyinza ng’anyigiriza omwavu era ng’akola ebitali bya bwenkanya n’ebitali bya butuukirivu mu ssaza lyo, teweewuunyanga.+ Kubanga ow’obuyinza oyo wabaawo amusingako amutunuulidde, era abo bombi wabaawo ababasingako.  Ate era ebiva mu ttaka bonna babigabana; ne kabaka by’alya biva mu nnimiro.+ 10  Omuntu ayagala ennyo ssente tayinza kumatira ssente, n’omuntu ayagala ennyo eby’obugagga tayinza kuba mumativu n’ebyo by’afuna.+ Ekyo nakyo butaliimu.+ 11  Ebintu ebirungi bwe byeyongera obungi, n’ababirya beeyongera.+ Kati olwo bigasa ki nnannyini byo, okuggyako okubitunuulira obutunuulizi n’amaaso ge?+ 12  Otulo tw’omuntu akolera abalala tumuwoomera, k’abe ng’alya bitono oba bingi, naye ebintu ebingi omugagga by’aba nabyo tebimuganya kwebaka. 13  Waliwo ekintu eky’ennaku kye* ndabye wansi w’enjuba: eby’obugagga ebyaterekebwa nnyini byo ne yeerumya yekka. 14  Eby’obugagga ebyo byasaanawo olw’ekizibu ekyagwawo, era omwana gw’azaala aba talina kya kumuwa ng’obusika.+ 15  Ng’omuntu bwe yava mu lubuto lwa nnyina ng’ali bwereere, bw’atyo bw’aligenda.+ Tasobola kugenda na kintu na kimu ku ebyo byonna bye yateganira.+ 16  Kino nakyo kikwasa ennaku:* Nga bwe yajja bw’atyo bw’aligenda; kati olwo omuntu akola ennyo naye ng’alinga agoba empewo kimugasa ki?+ 17  Ate era bulijjo tawoomerwa by’alya,* era aba munakuwavu nnyo, mulwadde, era musunguwavu.+ 18  Nnalaba nga kino kye kirungi era nga kye kisaana: omuntu okunywa n’okulya n’okusanyuka olw’ebyo by’aba afubye+ okukola mu kiseera ekitono Katonda ow’amazima ky’aba amuwadde, kubanga eyo ye mpeera ye.*+ 19  Ate era Katonda ow’amazima bw’awa omuntu eby’obugagga+ era n’amusobozesa okubyeyagaliramu, omuntu oyo asaanidde akkirize empeera* emuweereddwa era asanyuke olw’ebyo by’afubye okukola. Ekyo kye kirabo ekiva eri Katonda.+ 20  Kubanga tajja na kukiraba* nti ennaku z’obulamu ziyita mangu, olw’okuba Katonda ow’amazima ajjuzza omutima gwe essanyu.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “g’omubaka.”
Obut., “kuleetera mubiri gwo.”
Oba, “omutawaana gwe.”
Oba, “Guno nagwo mutawaana gwa maanyi.”
Obut., “aliira mu nzikiza.”
Oba, “ogwo gwe mugabo gwe.”
Oba, “omugabo.”
Oba, “kukijjukira.”