Tito 2:1-15
2 Naye ggwe, weeyongere okwogera ebintu ebikwatagana n’okuyigiriza okw’omuganyulo.+
2 Abasajja abakadde babeerenga n’empisa ezisaana, babeerenga ba buvunaanyizibwa, abalina endowooza ennuŋŋamu, abanywevu mu kukkiriza,* mu kwagala, ne mu kugumiikiriza.
3 Mu ngeri y’emu, abakazi abakulu beeyisenga nga bwe kigwanira abatukuvu, nga tebawaayiriza oba okufugibwa omwenge omungi, naye nga bayigiriza ebirungi;
4 basobole okukubiriza* abakazi abato okwagalanga abaami baabwe, okwagalanga abaana baabwe,
5 okubeera n’endowooza ennuŋŋamu, okubeera abalongoofu, okukolanga emirimu gy’awaka,* okubeeranga abantu abalungi, n’okugonderanga abaami baabwe,+ ekigambo kya Katonda kireme okwogerwako obubi.
6 N’abavubuka bakubirizenga okuba n’endowooza ennuŋŋamu,+
7 ng’ossaawo ekyokulabirako ekirungi mu kukola ebikolwa ebirungi mu buli kintu. Yigirizanga ebintu ebirongoofu ng’oli mumalirivu,+
8 ng’okozesa ebigambo ebisaana* ebitayinza kuvumirirwa,+ kiviireko abo abatuwakanya okuswala, olw’obutaba na kibi kya kutwogerako.+
9 Abaddu bagonderenga bakama baabwe mu bintu byonna,+ era babasanyusenga, nga tebabaanukula bubi,
10 nga tebababba,+ naye nga baba beesigwa mu byonna, balyoke balungiyenga okuyigiriza kw’Omulokozi waffe Katonda mu bintu byonna.+
11 Kubanga ekisa kya Katonda eky’ensusso ekireetera abantu aba buli ngeri obulokozi kyoleseddwa.+
12 Kituyigiriza okwewala obutatya Katonda n’okwegomba okw’omu nsi,+ era n’okubeeranga n’endowooza ennuŋŋamu, n’obutuukirivu, n’okwemalira ku Katonda mu nteekateeka y’ebintu eno,*+
13 nga tulindirira essuubi ery’ekitalo,+ n’okulabisibwa okw’ekitiibwa okwa Katonda omukulu, n’okw’Omulokozi waffe Yesu Kristo,
14 eyeewaayo ku lwaffe+ asobole okutununula+ mu bujeemu obwa buli ngeri n’okutulongoosa tubeere abantu be, ekintu kye ekiganzi, abanyiikirira ebikolwa ebirungi.+
15 Weeyongere okwogeranga ebintu bino, kubirizanga, era nenyanga n’obuyinza bwonna.+ Omuntu yenna takunyoomanga.
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “abalamu obulungi mu kukkiriza.”
^ Oba, “okujjukiza; okutendeka.”
^ Oba, “okufaayo ku maka gaabwe.”
^ Oba, “ebiganyula.”