Yeremiya 11:1-23
11 Bino Yakuwa bye yagamba Yeremiya:
2 “Muwulire mmwe ebigambo by’endagaano eno!
“Bibuulire* abantu b’omu Yuda n’ab’omu Yerusaalemi
3 obagambe nti: ‘Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba: “Akolimirwe oyo atagondera bigambo bya ndagaano eno,+
4 bye nnalagira bajjajjammwe ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi ya Misiri,+ okuva mu kyoto mwe basaanuusiza ekyuma,+ nga ŋŋamba nti, ‘Mugondere eddoboozi lyange, era mukole ebintu byonna bye mbalagira; mujja kufuuka abantu bange era nange nja kuba Katonda wammwe,+
5 ntuukirize kye nnalayirira bajjajjammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki,+ gye mulimu kaakano.’”’”
Awo ne nziramu nti: “Amiina,* Ai Yakuwa.”
6 Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi: ‘Muwulire ebigambo by’endagaano eno, era mubikolereko.
7 Nnakuutira bajjajjammwe ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi ya Misiri n’okutuusa leero, nnabakuutira enfunda n’enfunda* nti: “Mugondere eddoboozi lyange.”+
8 Naye tebaawuliriza wadde okuntegera okutu; wabula buli omu yagugubira ku ebyo omutima gwe omubi bye gwagala.+ Kyennava mbaleetako ebigambo byonna ebiri mu ndagaano eno olw’okuba tebaagondera bye nnabalagira.’”
9 Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Abantu b’omu Yuda n’ab’omu Yerusaalemi beekobaanye.
10 Baddidde ensobi ez’edda eza bajjajjaabwe, abaagaana okugondera ebigambo byange.+ Nabo bagoberedde bakatonda abalala era ne babaweereza.+ Ab’ennyumba ya Isirayiri n’eya Yuda bamenye endagaano yange gye nnakola ne bajjajjaabwe.+
11 Kale bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Laba, ŋŋenda kubatuusaako akabi+ ke batajja kuwona. Bwe banankoowoola mbayambe, sijja kubawuliriza.+
12 Olwo nno ab’omu bibuga bya Yuda n’abantu b’omu Yerusaalemi baligenda eri bakatonda be bawa ssaddaaka* babakoowoole babayambe,+ naye tebalisobola kubalokola mu kiseera eky’obuyinike bwabwe.
13 Kubanga ggwe Yuda bakatonda bo baaze; benkana ebibuga byo obungi, era ebyoto bye muzimbidde katonda aswaza, eby’okuweerako ssaddaaka eri Bbaali,+ byenkana enguudo za Yerusaalemi obungi.’
14 “Kale ggwe* tosabira bantu bano. Tonkoowoola ku lwabwe wadde okubasabira,+ kubanga sijja kubawuliriza ne bwe banankoowoola nga bali mu buyinike.
15 Abantu bange be njagala ennyo bagwana okubeera mu nnyumba yangeNga bangi ku bo bakoze ebintu ebibi?
Bwe baliwaayo ssaddaaka ez’ensolo,* baliwona akabi akalikutuukako?
Olijaganya mu kiseera ekyo?
16 Waliwo Yakuwa lwe yakuyitanga omuzeyituuni ogutinta,Ogulabika obulungi era oguliko ebibala ebirungi.
N’okubwatuka okw’amaanyi, agukumyeko omuliro,Era bamenye amatabi gaagwo.
17 “Yakuwa ow’eggye eyakusimba+ agambye nti akabi kajja kukutuukako olw’ebibi ebikoleddwa ab’ennyumba ya Isirayiri n’ab’ennyumba ya Yuda, abamusunguwazizza nga bawaayo ssaddaaka eri Bbaali.”+
18 Yakuwa yantegeeza nsobole okumanya;Mu kiseera ekyo wansobozesa okulaba bye baali bakola.
19 Nnali ng’omwana gw’endiga omuwombeefu ogutwalibwa okuttibwa.
Saamanya nti baali bansalira nkwe+ nga bagamba nti:
“Ka tuzikirize omuti n’ebibala byagwo,Era ka tumuzikirize ave mu nsi y’abalamu,Erinnya lye lireme kuddamu kujjukirwa.”
20 Naye Yakuwa ow’eggye alamula mu butuukirivu;Akebera ebirowoozo eby’omunda ennyo* n’omutima.+
Ka ndabe ng’owoolera eggwanga ku bo,Kubanga ggwe gwe nkwasizza ensonga zange.
21 Kale bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’ayogera ku bantu b’omu Anasosi+ abaagala okukutta era abagamba nti: “Tolagulira mu linnya lya Yakuwa,+ bw’okola bw’otyo tujja kukutta”;
22 kale bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Laba, ŋŋenda kubabonereza. Abavubuka bajja kuttibwa n’ekitala,+ ate batabani baabwe ne bawala baabwe bajja kufa enjala.+
23 Tewali n’omu ku bo aliwonawo, kubanga ndituusa akabi ku bantu b’omu Anasosi+ mu mwaka gwe ndibabonererezaamu.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Kirabika wano bagamba Yeremiya.
^ Oba, “Kibeere bwe kityo.”
^ Obut., “nnakeeranga ne mbakuutira.”
^ Oba, “be banyookerereza omukka gwa ssaddaaka.”
^ Wano boogera ku Yeremiya.
^ Zino ssaddaaka ezaaweebwangayo mu yeekaalu.
^ Oba, “enneewulira ez’omunda ennyo.” Obut., “ensigo.”