Yeremiya 2:1-37
2 Yakuwa yayogera nange n’aŋŋamba nti:
2 “Genda olangirire eri Yerusaalemi nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Nzijukira okwagala okw’amaanyi* kwe walina mu buvubuka bwo,+Okwagala kwe walaga ng’oyogerezebwa,+Engeri gye wangoberera mu ddungu,Mu nsi eyali tesigiddwamu nsigo.+
3 Isirayiri yali mutukuvu eri Yakuwa,+ ebibala ebibereberye eby’amakungula ge.”’
‘Omuntu yenna eyamutuusangako akabi yabangako omusango.
Yafunanga emitawaana,’ Yakuwa bw’agamba.”+
4 Wulira ekigambo kya Yakuwa, ggwe ennyumba ya Yakobo,Nammwe mmwenna ebika by’ennyumba ya Isirayiri.
5 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Nsobi ki bajjajjammwe gye bandabamu,+Balyoke banneesambire ddala,Era bagoberere ebifaananyi ebitalina mugaso,+ nabo ne bafuuka abatalina mugaso?+
6 Tebaabuuza nti, ‘Yakuwa ali ludda wa,Eyatuggya mu nsi ya Misiri,+Eyatukulembera n’atuyisa mu ddungu,Mu nsi ey’amalungu+ n’ebinnya,Mu nsi ey’ekyeya+ n’ekizikiza eky’amaanyi,Mu nsi eteyitwamu muntuEra etebeeramu bantu?’
7 Nnabaleeta mu nsi erimu emiti gy’ebibala,Mulye ebibala byamu n’ebintu byamu ebirungi.+
Naye bwe mwatuuka mu nsi yange ne mugifuula etali nnongoofu;Obusika bwange mwabufuula eky’omuzizo.+
8 Bakabona tebaabuuza nti, ‘Yakuwa ali ludda wa?’+
Abalina obuvunaanyizibwa okuyigiriza Amateeka baali tebammanyi,Abasumba banjeemera,+Bannabbi baayogeranga eby’obunnabbi mu linnya lya Bbaali,+Era baagoberera bakatonda abataalina mugaso.
9 ‘N’olwekyo nja kubavunaana,’+ Yakuwa bw’agamba,‘Era nja kuvunaana abaana b’abaana bammwe.’
10 ‘Naye musomoke mugende ku bizinga by’e* Kittimu+ mulabe.
Mutume omubaka e Kedali,+ era mukirowoozeeko n’obwegendereza;Mulabe oba ekintu nga kino kyali kibaddewo.
11 Eggwanga lyali liwaanyisizza bakatonda baalyo ne litwalamu abatali bakatonda?
Naye abantu bange ekitiibwa kyange bakiwaanyisizzaamu ekintu ekitagasa.+
12 Ggwe eggulu, samaalirira olwa kino;Kankana olw’entiisa ey’amaanyi,’ Yakuwa bw’agamba,
13 ‘Kubanga abantu bange bakoze ebintu bibiri ebibi:
Banvuddeko nze ensibuko y’amazzi amalamu,+Ne beesimira ebidiba,*Ebidiba ebiwomoggofu ebitayinza kubaamu mazzi.’
14 ‘Isirayiri muweereza oba muddu eyazaalibwa mu maka?
Kati olwo lwaki alekeddwa okunyagibwa?
15 Empologoma envubuka zimuwulugumira;+Ziyimusizza amaloboozi gaazo.
Ensi ye zigifudde ekintu eky’entiisa.
Ebibuga bye byokeddwa omuliro, ne kiba nti tebikyalimu bantu.
16 Abantu b’omu Noofu*+ n’e Tapanesi+ balya obwetikkiro bw’omutwe gwo.
17 Kino si ggwe okyetuusizzaakoOlw’okuva ku Yakuwa Katonda wo,+Bwe yali akukulembera mu kkubo?
18 Kaakano lwaki oyagala okukwata ekkubo erigenda e Misiri+Okunywa amazzi g’Omugga Sikoli?*
Lwaki oyagala okukwata ekkubo erigenda e Bwasuli+Okunywa amazzi g’Omugga Fulaati?
19 Yigira ku bintu ebibi by’okola,Obutali bwesigwa bwo ka bukunenye.
Manya era otegeere bwe kiri ekibi era eky’omutawaana+Okuva ku Yakuwa Katonda wo;Tokiraze nti ontya,’+ bw’ayogera Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye.
20 ‘Kubanga edda nnamenyaamenya ekikoligo kyo+Era ne nkutula enjegere zo.
Naye wagamba nti: “Sigenda kukuweereza,”
Ku buli kasozi akawanvu ne wansi wa buli muti ogw’ebikoola ebingi,+Weegalikanga n’okola obwamalaaya.+
21 Nnakusimba ng’oli muzabbibu mulungi nnyo, omumyufu,+ gwonna nga guva mu nsigo nnongoofu;Kale oyonoonese otya n’ofuuka ettabi ly’omuzabbibu ogw’omu nsiko?’+
22 ‘Ne bw’onaabisa ekisula ne ssabbuuni omungi,Ensobi yo eba ekyali ng’ebbala mu maaso gange,’+ bw’ayogera Yakuwa, Mukama Afuga Byonna.
23 Oyinza otya okugamba nti, ‘Seeyonoonye.
Sigoberedde Babbaali’?
Tunuulira ekkubo lyo mu kiwonvu.
Lowooza ku by’okoze.
Olinga eŋŋamira enkazi ekyali ento ewenyuka,*Edduka ng’edda eno n’eri mu makubo gaayo awatali kigendererwa,
24 Olinga endogoyi ey’omu nsiko eyamanyiira eddungu,Ekonga empewo nga yeegomba.
Ani ayinza okugiziyiza ng’esaze?
Abo abaginoonya tebajja kwekooya.
Mu kiseera ekyo* bajja kugizuula.
25 Ebigere byo tolema kubyambaza ngatto.
N’omumiro gwo togulumya nnyonta.
Naye wagamba nti, ‘Tekigasa!+
Njagala bakatonda abalala,+Era nja kubagoberera.’+
26 Ng’omubbi bw’aswala nga bamukutte,N’ab’ennyumba ya Isirayiri bwe batyo bwe baswadde,Bo ne bakabaka baabwe n’abaami baabwe,Bakabona baabwe ne bannabbi baabwe.+
27 Bagamba omuti nti, ‘Ggwe kitange,’+
N’ejjinja nti, ‘Ggwe wanzaala.’
Naye nze bankuba amabega ne batantunuulira.+
Mu kiseera eky’okulaba ennaku bajja kuŋŋamba nti,‘Situka otulokole!’+
28 Kale bakatonda bo be weekolera bali ludda wa?+
Ka bayimuke, bwe baba nga basobola okukulokola mu kiseera eky’okulabiramu ennaku,Kubanga ggwe Yuda bakatonda bo baaze; benkana ebibuga byo obungi.+
29 ‘Kiki kye munnumiriza?
Lwaki mmwenna munjeemedde?’+ Yakuwa bw’agamba.
30 Abaana bammwe mbakubidde bwereere;+Tebakkiriza kubuulirirwa;+Ekitala kyammwe kyazikiriza bannabbi bammwe,+Ng’empologoma eyigga.
31 Mmwe ab’omulembe guno, mulowooze ku kigambo kya Yakuwa.
Nfuuse ng’eddunguOba ensi ekutte ekizikiza eky’amaanyi eri Isirayiri?
Lwaki abantu bange bano bagamba nti, ‘Twetaaya.
Tetujja kudda gy’oli’?+
32 Omuwala embeerera ayinza okwerabira amajolobero ge,Oba omugole ayinza okwerabira omusipi gwe ogw’okwewunda?
Kyokka abantu bange bamaze ekiseera kiwanvu nga banneerabidde.+
33 Ggwe omukazi, ng’oli mukugu mu kunoonya abasajja bakwagale!
Weetendese mu makubo g’okukola ebintu ebibi.+
34 N’engoye zo ziriko omusaayi gw’abaavu abatalina musango,+Tebattibwa olw’okuba baasangibwa nga bamenya enju,Kyokka ndabye omusaayi gwabwe ku byambalo byo byonna.+
35 Naye ogamba nti: ‘Sirina musango.
Mazima ddala obusungu bwe bunvuddeko.’
Kaakano ŋŋenda kukubonereza,Kubanga ogamba nti: ‘Sirina kibi kye nkoze.’
36 Lwaki ekkubo lyo eritateredde olitwala ng’ekintu eky’olusaago?
Olikwatibwa ensonyi olwa Misiri,+Nga bwe wakwatibwa ensonyi olwa Bwasuli.+
37 N’olw’ensonga eyo ojja kuvaayo ogende ng’otadde emikono ku mutwe,+Kubanga Yakuwa yeesambye abo be weesiga;Tebajja kukuyamba.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “okwagala okutajjulukuka.”
^ Oba, “mbalama z’e.”
^ Kirabika baabisima mu njazi.
^ Oba, “Menfisi.”
^ Kwe kugamba, akagga akava ku Mugga Kiyira.
^ Wano boogera ku ŋŋamira erundugga.
^ Obut., “Mu mwezi gwayo.”