Yeremiya 21:1-14

  • Yakuwa agaana okukola Zeddeekiya ky’asaba (1-7)

  • Abantu ba kulondawo obulamu oba okufa (8-14)

21  Ekigambo okuva eri Yakuwa kyajjira Yeremiya, Kabaka Zeddeekiya+ bwe yamutumira Pasukuli+ mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya+ kabona mutabani wa Maaseya, ng’amugamba nti:  “Nkwegayiridde, weebuuze ku Yakuwa ku lwaffe, kubanga Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni atulwanyisa.+ Oboolyawo Yakuwa anaatukolera ekimu ku bikolwa bye eby’ekitalo, Nebukadduneeza n’atuvaako.”+  Yeremiya n’abagamba nti: “Zeddeekiya mumugambe nti,  ‘Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba: “Eby’okulwanyisa ebiri mu mukono gwo by’okozesa okulwanyisa kabaka wa Babulooni+ n’Abakaludaaya abakuzingizza ebweru wa bbugwe ŋŋenda kubikwolekeza. Nja kubikuŋŋaanyiza wakati mu kibuga kino.  Nze kennyini nja kukulwanyisa+ n’omukono ogw’amaanyi era ogugoloddwa nga ndiko obusungu bungi n’ekiruyi.+  Nja kutta abantu ababeera mu kibuga kino, abantu n’ebisolo. Bajja kufa endwadde ey’amaanyi.”’+  “‘“Oluvannyuma lw’ekyo,” Yakuwa bw’agamba, “Kabaka Zeddeekiya owa Yuda n’abaweereza be n’abantu b’omu kibuga kino, abataafe ndwadde, ekitala, n’enjala, nja kubawaayo mu mukono gwa Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni, ne mu mukono gw’abalabe baabwe, ne mu mukono gw’abo abaagala okubatta.+ Ajja kubatta n’ekitala. Tajja kubakwatirwa kisa wadde okubasaasira wadde okubalumirirwa.”’+  “Ate era abantu bano bagambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Laba, nteeka mu maaso gammwe ekkubo ery’obulamu n’ekkubo ery’okufa.  Abo abanaasigala mu kibuga kino bajja kufa ekitala, enjala, n’endwadde. Naye buli anaafuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazingizza ajja kusigala nga mulamu, era obulamu bwe bwe bujja okuba omunyago gwe.”’+ 10  “‘“Ekibuga kino nkyesambye, era kijja kutuukibwako bibi so si birungi,”+ Yakuwa bw’agamba. “Kijja kuweebwayo mu mukono gwa kabaka wa Babulooni,+ era ajja kukyokya omuliro.”+ 11  “‘Eri ab’omu nnyumba ya kabaka wa Yuda: Muwulire ekigambo kya Yakuwa. 12  Mmwe ab’ennyumba ya Dawudi, bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Mukolenga eby’obwenkanya buli ku makya,Era mununule anyagiddwa mu mukono gw’omunyazi,+Obusungu bwange buleme okubuubuuka ng’omuliro+Ne bwaka nga tewali abuzikizaOlw’ebikolwa byammwe ebibi.”’+ 13  ‘Nja kukulwanyisa ggwe abeera mu kiwonvu,Mmwe abantu ababeera mu kibuga ekiri ku lwazi mu nsi ey’omuseetwe,’ Yakuwa bw’agamba. ‘Mmwe abagamba nti: “Ani anajja okututabaala, era ani anaalumba ebifo gye tubeera?” Mukimanye nti, 14  Nja kubabonerezaNg’ebikolwa byammwe bwe biri,’+ Yakuwa bw’agamba. ‘Era nja kukoleeza omuliro ku kibira kye,Gwokye ebintu byonna ebimwetoolodde.’”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Nebukadduleeza,” engeri endala erinnya eryo gye liwandiikibwamu.
Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.