Yeremiya 26:1-24
26 Ku ntandikwa y’obufuzi bwa Kabaka Yekoyakimu owa Yuda,+ mutabani wa Yosiya, Yakuwa yayogera ne Yeremiya n’amugamba nti:
2 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Yimirira mu luggya lw’ennyumba ya Yakuwa oyogere ebikwata ku bantu* bonna ab’omu bibuga bya Yuda abajja mu nnyumba ya Yakuwa okusinza.* Bagambe byonna bye nkulagira; tolekaayo kigambo na kimu.
3 Oboolyawo banaawuliriza, buli omu n’aleka ekkubo lye ebbi, nange ne nkyusa ekirowoozo* ne sireeta kabi ke mbadde ŋŋenda okubatuusaako olw’ebikolwa byabwe ebibi.+
4 Bagambe nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Bwe mutampulirize, ne mugaana okugoberera amateeka ge* nnabawa,
5 era ne mugaana okuwuliriza ebigambo by’abaweereza bange bannabbi, be nzize mbatumira enfunda n’enfunda,* naye ne mutabawuliriza,+
6 ennyumba eno nja kugifuula nga Siiro,+ era ekibuga kino nja kukifuula ekintu eky’okukolimirwa amawanga gonna ag’oku nsi.’”’”+
7 Bakabona ne bannabbi n’abantu bonna ne bawulira Yeremiya ng’ayogera ebigambo ebyo mu nnyumba ya Yakuwa.+
8 Yeremiya bwe yamala okwogera ebyo byonna Yakuwa bye yali amulagidde okwogera eri abantu bonna, bakabona ne bannabbi, n’abantu bonna ne bamukwata ne bagamba nti: “Oli wa kuttibwa.
9 Lwaki olagudde mu linnya lya Yakuwa ng’ogamba nti, ‘Ennyumba eno ejja kufuuka nga Siiro, era ekibuga kino kijja kuzikirizibwa kireme kusigalamu muntu n’omu’?” Awo abantu bonna ne beetooloola Yeremiya mu nnyumba ya Yakuwa.
10 Abaami b’omu Yuda bwe baawulira ebigambo ebyo, ne bava mu nnyumba ya* kabaka ne bajja mu nnyumba ya Yakuwa ne batuula ku mulyango omuggya ogw’ennyumba ya Yakuwa.+
11 Bakabona ne bannabbi ne bagamba abaami n’abantu bonna nti: “Omusajja ono agwanidde okuttibwa+ olw’okuba alagudde akabi ku kibuga kino nga nammwe bwe muwulidde n’amatu gammwe.”+
12 Yeremiya n’agamba abaami bonna n’abantu bonna nti: “Yakuwa ye yantuma okulagula ku nnyumba eno ne ku kibuga kino ebyo byonna bye muwulidde.+
13 Kale mukyuse amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe era mugondere eddoboozi lya Yakuwa Katonda wammwe, Yakuwa akyuse ekirowoozo* aleme okuleeta akabi ke yagamba okubatuusaako.+
14 Naye nze ndi mu mikono gyammwe. Munkole kyonna kye mulaba nga kirungi era nga kisaanidde mu maaso gammwe.
15 Kyokka mukimanye nti bwe munzita mujja kwereetako omusaayi ogutaliiko musango, muguleete ne ku kibuga kino, ne ku bakibeeramu, kubanga ekituufu kiri nti Yakuwa ye yantuma gye muli okwogera ebigambo ebyo byonna bye muwulidde.”
16 Awo abaami n’abantu bonna ne bagamba bakabona ne bannabbi nti: “Omusajja ono tagwanidde kuttibwa kubanga ayogedde gye tuli mu linnya lya Yakuwa Katonda waffe.”
17 Ate era abamu ku bakadde ab’omu nsi ne basituka ne boogera eri ekibiina ky’abantu kyonna nti:
18 “Mikka+ ow’e Moleseesi yalagula mu kiseera kya Kabaka Keezeekiya+ owa Yuda, era n’agamba abantu bonna ab’omu Yuda nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba:
“Sayuuni lulikabalwa ng’ennimiro,Yerusaalemi kirifuuka ntuumu ya bifunfugu,+Era olusozi lw’Ennyumba lulifuuka ng’ebifo ebigulumivu eby’omu kibira.”’*+
19 “Kabaka Keezeekiya owa Yuda n’abantu b’omu Yuda bonna baamutta? Teyatya Yakuwa era n’asaba Yakuwa abasaasire, Yakuwa n’akyusa ekirowoozo* n’ataleeta kabi ke yali agambye okubatuusaako?+ N’olwekyo tugenda kwereetako akabi ak’amaanyi.
20 “Ate era waaliwo omusajja omulala eyalagula mu linnya lya Yakuwa, Uliya mutabani wa Semaaya ow’e Kiriyasu-yalimu,+ eyayogera ku kibuga kino ne ku nsi eno ebigambo ebifaananako ebya Yeremiya.
21 Kabaka Yekoyakimu+ n’abasajja be bonna ab’amaanyi n’abaami bonna bwe baawulira ebigambo bye yayogera, kabaka n’ayagala okumutta.+ Uliya bwe yakimanya n’atya n’addukira e Misiri.
22 Kabaka Yekoyakimu yatuma Erunasani+ mutabani wa Akubooli n’abasajja abalala e Misiri,
23 ne baggya Uliya e Misiri ne bamutwala eri Kabaka Yekoyakimu, n’amutta n’ekitala+ n’asuula omulambo gwe mu kifo omuziikibwa abantu aba bulijjo.”
24 Naye Akikamu+ mutabani wa Safani+ yayamba Yeremiya, n’ataweebwayo mu mikono gy’abantu okuttibwa.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Kirabika lino linnya lya Babeeri (Babulooni) eddala.
^ Oba, “eri abantu.”
^ Oba, “okuvunnama.”
^ Oba, “nnejjusa.”
^ Oba, “obulagirizi bwe.”
^ Obut., “mbaddenga nkeera ne ntuma.”
^ Oba, “lubiri lwa.”
^ Oba, “yejjuse.”
^ Oba, “ng’akasozi akaliko ekibira.”