Yeremiya 35:1-19

  • Abalekabu booleka obuwulize obw’ekitalo (1-19)

35  Mu kiseera kya Kabaka Yekoyakimu owa Yuda,+ mutabani wa Yosiya, Yakuwa yagamba Yeremiya nti:  “Genda eri ab’ennyumba y’Abalekabu+ oyogere nabo obaleete mu nnyumba ya Yakuwa, mu kimu ku bisenge ebiriirwamu, obawe omwenge.”  Awo ne ntwala Yaazaniya mutabani wa Yeremiya mutabani wa Kabazziniya, ne baganda be, ne batabani be bonna, n’ab’ennyumba y’Abalekabu bonna  mu nnyumba ya Yakuwa. Nnabayingiza mu kisenge ekiriirwamu ekya batabani ba Kanani mutabani wa Igudaliya, omusajja wa Katonda ow’amazima, ekyali kiriraanye ekisenge ky’abaami ekyali waggulu w’ekisenge ekiriirwamu ekya Maaseya mutabani wa Salumu omukuumi w’oku miryango.  Awo ne nteeka ebikopo n’obusumbi ebijjudde omwenge mu maaso g’abasajja ab’ennyumba y’Abalekabu ne mbagamba nti: “Munywe omwenge.”  Naye bo ne bagamba nti: “Tetujja kunywa mwenge kubanga Yekonadaabu*+ mutabani wa Lekabu, jjajjaffe yatulagira nti, ‘Mmwe n’abaana bammwe temunywanga mwenge.  Ate era temuzimbanga nnyumba, wadde okusiga ensigo, wadde okusimba oba okuba n’ennimiro z’emizabbibu. Wabula mubeerenga mu weema, musobole okuwangaala ekiseera kiwanvu mu nsi gye mulimu ng’abagwira.’  Tukyagondera ebigambo byonna Yekonadaabu mutabani wa jjajjaffe Lekabu bye yatulagira, obutanywanga ku mwenge—ffe, bakazi baffe, batabani baffe, ne bawala baffe.  Ate era tetuzimba nnyumba ez’okubeeramu, tetulina nnimiro za mizabbibu wadde ebibanja wadde ensigo. 10  Tubeera mu weema era tugondera byonna Yekonadaabu* jjajjaffe bye yatulagira. 11  Naye Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni bwe yalumba ensi eno,+ ne tugamba nti, ‘Mujje tugende e Yerusaalemi tuwone eggye ly’Abakaludaaya n’ery’Abasuuli,’ era kati tubeera mu Yerusaalemi.” 12  Awo Yakuwa n’agamba Yeremiya nti: 13  “Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Genda ogambe abantu b’omu Yuda n’abo ababeera mu Yerusaalemi nti: “Temwakubirizibwanga okugondera ebigambo byange?”+ Yakuwa bw’agamba. 14  “Yekonadaabu mutabani wa Lekabu yalagira bazzukulu be obutanywa mwenge, era bakoledde ku bigambo bye ne batanywa mwenge n’okutuusa leero, bwe batyo ne bagondera ekiragiro kya jjajjaabwe.+ Kyokka njogedde nammwe enfunda n’enfunda,* naye temuŋŋondedde.+ 15  Nnabatumira abaweereza bange bannabbi enfunda n’enfunda*+ nga ŋŋamba nti, ‘Mukyuke muleke amakubo gammwe amabi,+ mukole ekituufu. Temugoberera bakatonda balala era temubaweereza. Olwo mujja kweyongera okubeera mu nsi gye nnabawa mmwe ne bajjajjammwe.’+ Naye temwampuliriza. 16  Bazzukulu ba Yekonadaabu mutabani wa Lekabu bagondedde ekiragiro jjajjaabwe kye yabawa,+ naye abantu bano tebampulirizza.”’” 17  “Kale bw’ati Yakuwa, Katonda ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba: ‘Ŋŋenda kuleeta ku Yuda n’abantu ababeera mu Yerusaalemi akabi ke nnagamba okubaleetako,+ kubanga nnayogeranga nabo naye tebampuliriza, era nnabakoowoolanga naye tebannyanukula.’”+ 18  Awo Yeremiya n’agamba ab’ennyumba y’Abalekabu nti: “Bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba, ‘Olw’okuba mugondedde ekiragiro kya jjajjammwe Yekonadaabu ne mukwata byonna bye yabalagira, ne mukolera ddala nga bwe yabalagira, 19  bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, bw’agamba: “Tewaabulengawo muzzukulu wa Yekonadaabu* mutabani wa Lekabu aweereza mu maaso gange.”’”

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Olwa leero.”
Obut., “Yonadaabu,” erinnya Yekonadaabu nga lisaliddwako.
Obut., “Yonadaabu,” erinnya Yekonadaabu nga lisaliddwako.
Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.
Obut., “mbaddenga nkeera ne njogera nammwe.”
Obut., “nga nkeera ne mbatuma.”