Yeremiya 4:1-31
4 “Ggwe Isirayiri, bw’onookomawo gye ndi,” Yakuwa bw’agamba,“Bw’onookomawo gye ndiEra bw’onoggya mu maaso gange ebifaananyi byo ebyenyinyaza,Tojja kuba mmomboze.+
2 Bw’onoolayira nti,‘Nga Yakuwa bw’ali omulamu!’ mu mazima, n’obwenkanya, era n’obutuukirivu,Olwo nja* kuwa amawanga omukisa,Era mu nze mwe ganeenyumiririzanga.”+
3 Kubanga bw’ati Yakuwa bw’agamba Yerusaalemi n’abantu b’omu Yuda:
“Mulime ettaka eritali ddime,Era temusiga nsigo zammwe mu maggwa.+
4 Mwekomole mu ngeri esanyusa Yakuwa,Mukomole emitima gyammwe,+Mmwe abantu b’omu Yuda n’ab’omu Yerusaalemi,Obusungu bwange buleme kubuubuuka ng’omuliroNe bwaka nga tewali abuzikiza,Olw’ebikolwa byammwe ebibi.”+
5 Mukirangirire mu Yuda, era mukibuulire mu Yerusaalemi.
Muleekaanire waggulu era mufuuwe eŋŋombe mu ggwanga lyonna.+
Mukoowoolere waggulu nti: “Mukuŋŋaane,Tuddukire mu bibuga ebiriko bbugwe.+
6 Muwanike akabonero* akalaga ekkubo erigenda mu Sayuuni.
Munoonye aw’okwewogoma, era temuyimirira buyimirizi,”
Kubanga ndeeta akabi okuva ebukiikakkono,+ akatyabaga ak’amaanyi.
7 Omulabe avuddeyo ng’empologoma bw’eva mu kisaka kyayo;+Omuzikiriza w’amawanga asimbudde.+
Avudde ewuwe afuule ensi yo ekifo eky’entiisa.
Ebibuga byo bijja kufuuka matongo, bireme kusigalamu muntu.+
8 Kale mwambale ebibukutu,+Mukungubage* era mukube ebiwoobe,Kubanga obusungu bwa Yakuwa tebutuvuddeeko.
9 “Ku lunaku olwo,” Yakuwa bw’agamba, “kabaka n’abaami,Baliggwaamu amaanyi;*+Bakabona balifuna entiisa, ne bannabbi balyewuunya.”+
10 Awo ne ŋŋamba nti: “Ai Yakuwa, Mukama Afuga Byonna! Mazima olimbidde ddala Yerusaalemi n’abantu bano,+ ng’obagamba nti, ‘Mujja kuba n’emirembe,’+ so ng’ate ekitala kibali mu bulago.”
11 Mu kiseera ekyo baligamba Yerusaalemi n’eggwanga lino nti:
“Embuyaga eyokya eva ku busozi obw’omu ddungu obutaliiko bimeraEryolekera omuwala w’abantu bange;Terijja kuwewa wadde okulongoosa.
12 Embuyaga ey’amaanyi eva mu bifo ebyo nga ngiragidde.
Kaakano ŋŋenda kulangirira emisango gye mbasalidde.
13 Laba! Omulabe alijja ng’ebire by’enkuba,Amagaali ge galinga embuyaga.+
Embalaasi ze zidduka embiro okusinga empungu.+
Zitusanze, kubanga tuzikiriziddwa!
14 Ggwe Yerusaalemi, naaza omutima gwo guggweemu ebintu ebibi, osobole okulokolebwa.+
Onootuusa wa okubaamu ebirowoozo ebibi?
15 Eddoboozi lirangirira amawulire nga liyima mu Ddaani,+Era lirangirira akabi nga liyima mu nsozi za Efulayimu.
16 Mukitegeeze amawanga;Mukirangirire eri Yerusaalemi.”
“Abakessi* bajja nga bava mu nsi ey’ewala,Era bajja kulaya enduulu z’olutalo eri ebibuga bya Yuda.
17 Balumba ekibuga Yerusaalemi ku njuyi zonna ng’abakuumi abakuuma ku ttale,+Olw’okuba kinjeemedde,”+ Yakuwa bw’agamba.
18 “Ojja kusasulwa olw’amakubo go n’ebikolwa byo.
Akabi kajja kukutuukako,+ era kajja kuba ka maanyi;Kubanga obujeemu bwo busensedde omutima gwo!”
19 Nga ndi munakuwavu nnyo,* nga ndi munakuwavu nnyo!
Mpulira obulumi obw’amaanyi mu mutima gwange.*
Omutima gunkuba.
Sisobola kusirika,Kubanga mpulidde eŋŋombe evuga,Mpulidde enduulu z’olutalo.*+
20 Emitawaana egy’omuddiriŋŋanwa gyogeddwako,Kubanga ensi yonna ezikiriziddwa.
Weema zange zizikiriziddwa mbagirawo,Mu kaseera katono emitanda gya weema zange gizikiriziddwa.+
21 Nnaatuusa wa okulaba akabonero,*Nnaatuusa wa okuwulira eŋŋombe ng’evuga?+
22 “Kubanga abantu bange tebalina magezi;+Tebanzisaako mwoyo.
Baana basirusiru, tebalina kutegeera.
Bagezi* bwe kituuka ku kukola ebibi,Naye tebamanyi kukola birungi.”
23 Nnatunuulira ensi, era laba! yali njereere era nga matongo.+
Nnatunuulira eggulu, era laba! ekitangaala kyalyo kyali tekikyaliwo.+
24 Nnatunuulira ensozi, era laba! zaali zikankana,N’obusozi bwali buyuuguuma.+
25 Nnatunula, era laba, tewaali muntu n’omu,N’ebinyonyi byonna eby’omu bbanga byali bibuuse nga bigenze.+
26 Nnatunula, era laba! ensi engimu yali efuuse ddungu,Era ebibuga byamu byali bizikiriziddwa.+
Ekyo Yakuwa yakikola,Olw’okuba yali asunguwadde nnyo.
27 Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Ensi yonna ejja kufuuka matongo,+Naye sijja kuzikiririza ddala.
28 Olw’ensonga eyo ensi kyeriva ekungubaga,+N’eggulu ne likwata ekizikiza.+
Olw’okuba njogedde, nsazeewo,Sirikyusa birowoozo,* era sirikivaako.+
29 Oluwulira omusinde gw’abeebagazi b’embalaasi n’abalasi b’obusaale,Abantu b’omu kibuga bonna nga badduka.+
Nga beefubitika mu bisaka,Nga balinnya enjazi.+
Ebibuga byonna birekeddwa awo,Tewali abibeeramu.”
30 Kaakano nga bw’oyonooneddwa, onookola ki?
Wayambalanga engoye emmyufu,Ne weetonaatona amajolobero aga zzaabu,Wasiiganga ku maaso go langi enzirugavu okugalungiya.
Naye weelungiyizanga bwereere,+Kubanga abaali bakwegomba bakwesambye;Kati baagala kukutta.+
31 Mpulidde okusinda kw’omukazi ali mu bulumi,Mpulidde okukaaba okulinga okw’omukazi azaala omwana we asooka,Mpulidde omuwala wa Sayuuni ng’aweekeera.
Ayanjala engalo ze nga bw’agamba nti:+
“Zinsanze nze, kubanga nkooye nnyo olw’abassi!”
Obugambo Obuli Wansi
^ Wano boogera ku Yakuwa.
^ Oba, “ekikondo.”
^ Oba, “Mukube ebifuba byammwe.”
^ Obut., “omutima.”
^ Oba, “Abatunuulizi; Abakuumi.”
^ Obut., “Ebyenda byange.”
^ Obut., “mu bisenge by’omutima gwange.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “oluyoogaano lw’olutalo.”
^ Oba, “ekikondo.”
^ Oba, “Ba magezi.”
^ Oba, “Siryejjusa.”