Yeremiya 40:1-16
40 Yakuwa yayogera ne Yeremiya oluvannyuma lwa Nebuzaladaani+ eyali akulira abakuumi okuta Yeremiya e Laama+ gye yali amututte ng’asibiddwa empingu. Yali mu abo abaali bawaŋŋangusiddwa okuva e Yerusaalemi ne mu Yuda nga batwalibwa e Babulooni.
2 Awo eyali akulira abakuumi n’azza Yeremiya ku bbali n’amugamba nti: “Yakuwa Katonda wo yalagula nti akabi kano kandituuse ku kibuga kino,
3 era Yakuwa akituukirizza nga bwe yagamba, olw’okuba mwayonoona mu maaso ga Yakuwa era temwagondera ddoboozi lye. Eyo ye nsonga lwaki kino kibatuuseeko.+
4 Kaakano nkuggyako empingu eziri ku mikono gyo. Bw’oba oyagala, jjangu tugende ffenna e Babulooni, era nja kukulabirira. Naye bw’oba toyagala kugenda nange tojja. Laba! Ensi yonna eri mu maaso go. Genda yonna gy’oyagala.”+
5 Yeremiya yali tannasalawo obanga anaddayo, Nebuzaladaani n’amugamba nti: “Ddayo eri Gedaliya+ mutabani wa Akikamu+ mutabani wa Safani,+ kabaka wa Babulooni gw’alonze okufuga ebibuga by’omu Yuda, obeere naye mu bantu; oba genda yonna gy’oyagala.”
Eyali akulira abakuumi n’amuwa emmere n’ekirabo n’amuleka n’agenda.
6 Awo Yeremiya n’agenda e Mizupa+ ewa Gedaliya mutabani wa Akikamu n’abeera naye mu bantu abaali basigaddewo mu nsi.
7 Awo abaduumizi b’eggye abaali mu nsi n’abasajja baabwe ne bawulira nti kabaka wa Babulooni yali alonze Gedaliya mutabani wa Akikamu okufuga Yuda, era nti yali amulonze okufuga abaami, abakyala, n’abaana b’abantu abanaku ennyo abaali batatwaliddwa Babulooni.+
8 Ne bagenda eri Gedaliya e Mizupa.+ Abaagenda be bano: Isimayiri+ mutabani wa Nesaniya,+ Yokanani ne Yonasaani batabani ba Kaleya, Seraya mutabani wa Tanukumesi, abaana ba Efayi Omunetofa, ne Yezaniya+ mutabani w’Omumaakasi, awamu n’abasajja baabwe.
9 Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani n’abalayirira bo n’abasajja baabwe nti: “Temutya kuweereza Bakaludaaya. Mubeere mu nsi eno muweereze kabaka wa Babulooni, mujja kuba bulungi.+
10 Nze nja kusigala mu Mizupa mbakiikirirenga eri* Abakaludaaya abanajjanga gye tuli. Naye mmwe mukuŋŋaanye omwenge, ebibala, n’amafuta mubiteeke mu matogero gammwe mukkalire mu bibuga bye mufunye.”+
11 Abayudaaya bonna abaali mu Mowaabu, Amoni, ne Edomu, awamu n’abo abaali mu nsi endala nabo ne bawulira nti kabaka wa Babulooni yali alese abantu abamu basigale mu Yuda, era nti yali alonze Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani okubafuga.
12 Awo Abayudaaya bonna ne batandika okuva mu bitundu byonna gye baali basaasaanidde ne badda mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa. Ne bakuŋŋaanya omwenge, n’ebibala mu bungi.
13 Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye abaali mu nsi ne bajja eri Gedaliya e Mizupa.
14 Ne bamugamba nti: “Tokimanyi nti Baalisi kabaka w’Abaamoni+ atumye Isimayiri mutabani wa Nesaniya okukutta?”+ Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu teyakkiriza kye baamugamba.
15 Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n’ayogera ne Gedaliya mu kyama e Mizupa n’amugamba nti: “Njagala ŋŋende nzite Isimayiri mutabani wa Nesaniya; tewali ajja kumanya. Nga lwaki akutta, abantu bonna abakuŋŋaanidde w’oli ne basaasaana, era n’abantu bonna abasigaddewo mu Yuda ne bazikirira?”
16 Naye Gedaliya+ mutabani wa Akikamu n’agamba Yokanani mutabani wa Kaleya nti: “Tokikola, kubanga by’oyogera ku Isimayiri bya bulimba.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “nnyimirire mu maaso ga.”