Yeremiya 46:1-28
46 Bino bye bigambo Yakuwa bye yagamba nnabbi Yeremiya ebikwata ku mawanga:+
2 Eri Misiri,+ nga bikwata ku ggye lya Falaawo Neeko+ kabaka wa Misiri, eyali ku lubalama lw’Omugga Fulaati, Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni gwe yawangulira e Kalukemisi mu mwaka ogw’okuna ogw’obufuzi bwa Kabaka Yekoyakimu+ owa Yuda, mutabani wa Yosiya:
3 “Muteeketeeke engabo zammwe ennene n’entono,*Mugende mu lutalo.
4 Mmwe abeebagazi b’embalaasi muteeke amatandiiko ku mbalaasi era muzeebagale.
Muyimirire mu bifo byammwe era mwambale sseppeewo zammwe.
Muwagale amafumu era mwambale ebyambalo byammwe eby’olutalo.
5 ‘Lwaki ndaba nga batidde nnyo?
Badda ennyuma, abalwanyi baabwe bawanguddwa.
Batidde ne babuna emiwabo, abalwanyi baabwe tebatunudde mabega.
Entiisa eri buli wamu,’ Yakuwa bw’agamba.
6 ‘Abadduka ennyo tebasobola kudduka, n’abalwanyi tebasobola kuwonawo.
Mu bukiikakkono ku lubalama lw’Omugga Fulaati,Beesittadde ne bagwa.’+
7 Ani oyo ajja ng’alinga Omugga Kiyira,Ng’alinga emigga gy’amazzi ageefuukuula?
8 Misiri y’ejja ng’eringa Omugga Kiyira,+Ng’eringa amazzi ageefuukuula,Era egamba nti, ‘Nja kugenda mbuutikire ensi.
Nja kuzikiriza ekibuga n’abo abakibeeramu.’
9 Mmwe embalaasi mugende!
Mmwe amagaali mudduke nnyo!
Abalwanyi ka bagende mu maaso,Ab’e Kkuusi n’ab’e Puti abakwata engabo,+N’ab’e Ludimu+ abamanyi okukozesa omutego gw’obusaale.+
10 “Olunaku olwo lwa Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye; lunaku lwa kuwoolera ggwanga ku balabe be. Ekitala kijja kulya kikkute, era kijja kunywa omusaayi kiwone ennyonta, kubanga Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye, ateeseteese ssaddaaka mu nsi ey’ebukiikakkono ku lubalama lw’Omugga Fulaati.+
11 Ggwe omuwala wa Misiri embeerera,Genda e Gireyaadi ofune basamu.+
Oteganidde bwereere okukozesa eddagala eritali limu,Kubanga tewali kijja kukuwonya.+
12 Amawanga gawulidde bw’oweddemu ekitiibwa,+Okukaaba kwo kubunye mu nsi yonna.
Kubanga omulwanyi yeesittala ku mulwanyi munne,Bombi ne bagwa wansi.”
13 Bino bye bigambo Yakuwa bye yagamba nnabbi Yeremiya ebikwata ku kujja kwa Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni okulumba ensi ya Misiri:+
14 “Mukirangirire mu Misiri, mukirangirire mu Migudooli.+
Mukirangirire mu Noofu* ne mu Tapanesi.+
Mugambe nti, ‘Muyimirire mu bifo byammwe mweteeketeeke,Kubanga ekitala kijja kulya wonna wonna okukwetooloola.
15 Lwaki abasajja bo ab’amaanyi bamaliddwawo?
Tebasobodde kwerwanako,Olw’okuba Yakuwa abasindise ne bagwa.
16 Bangi beesittala ne bagwa.
Buli omu n’agamba munne nti:
“Situka tuddeyo eri abantu baffe, mu nsi yaffekubanga ekitala kikambwe.”’
17 Balangiridde nti,‘Falaawo kabaka wa Misiri yeewaana bwewaanyi,Alese omukisa* ne guyita.’+
18 ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Kabaka, ayitibwa Yakuwa ow’eggye,‘Ajja* kujja abeere ng’Olusozi Taboli+ bwe lugulumidde mu nsoziEra ng’Olusozi Kalumeeri+ bwe lwesimbye ku lubalama lw’ennyanja.
19 Ggwe omuwala abeera mu Misiri,Teekateeka emigugu egy’okugenda nagyo mu buwaŋŋanguse.
Kubanga Noofu* kijja kufuuka ekintu eky’entiisa;Kijja kukumibwako omuliro* kisigale nga tekiriimu muntu.+
20 Misiri eringa ente enduusi enyirira,Naye kawawa ajja kuva ebukiikakkono agirume.
21 N’abasirikale baayo abapangise abali wakati mu yo balinga ennyana engevvu,Naye nabo bakyuse ne baddukira wamu.
Tebasigaddeewo kwerwanako,+Kubanga olunaku olw’akatyabaga lubajjidde,Kye kiseera eky’okubabonereza.’
22 ‘Eddoboozi lyayo liringa ery’omusota ogwewalula,Bagirumba mu bungi nga balina embazzi,Nga balinga abasajja abatema emiti.*
23 Bajja kutema ekibira kyayo,’ Yakuwa bw’agamba, ‘wadde nga kyalabika ng’ekiziyivu.
Kubanga bangi okusinga enzige, tebabalika.
24 Omuwala wa Misiri ajja kuswazibwa.
Ajja kuweebwayo eri abantu b’omu bukiikakkono.’+
25 “Yakuwa ow’eggye Katonda wa Isirayiri agamba nti: ‘Kaakano mbonereza Amoni+ ow’e No,*+ ne Falaawo, ne Misiri, ne bakatonda baayo,+ ne bakabaka baayo; Falaawo n’abo bonna abamwesiga.’+
26 “‘Nja kubawaayo eri abo abaagala okubatta, eri Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni+ n’abaweereza be. Naye oluvannyuma Misiri ejja kubeeramu abantu nga bwe kyali edda,’ Yakuwa bw’agamba.+
27 ‘Naye ggwe omuweereza wange Yakobo, totya,Era totekemuka ggwe Isirayiri.+
Kubanga nja kukulokola nkuggye ewalaEra n’abaana bo* nja kubalokola mbaggye mu nsi gye baatwalibwa mu buwambe.+
Yakobo ajja kudda abe mu mirembe nga tewali kimutaataaganya,Nga tewali n’omu abatiisa.+
28 Kale ggwe omuweereza wange Yakobo, totya,’ Yakuwa bw’agamba, ‘kubanga ndi wamu naawe.
Nja kuzikiriza amawanga gonna gye nnakusaasaanyiza,+Naye ggwe sijja kukuzikiriza.+
Nja kukukangavvula* ku kigero ekisaanira,+Era siireme kukubonereza.’”
Obugambo Obuli Wansi
^ Engabo entono zaateranga kukwatibwa balasi ba busaale.
^ Oba, “Menfisi.”
^ Obut., “ekiseera ekigereke.”
^ Wano boogera ku oyo anaawamba Misiri.
^ Oba, “Menfisi.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Kijja kufuuka matongo.”
^ Oba, “abasennya enku.”
^ Kwe kugamba, Tebesi.
^ Obut., “n’ezzadde lyo.”
^ Oba, “kukugolola.”