Yeremiya 47:1-7
-
Obunnabbi obukwata ku Bafirisuuti (1-7)
47 Bino bye bigambo ebikwata ku Bafirisuuti+ Yakuwa bye yagamba nnabbi Yeremiya, nga Falaawo Neeko tannalumba Gaaza.
2 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Laba! Amazzi gajja nga gava ebukiikakkono.
Gajja kufuuka omugga ogwanjaala.
Gajja kubuutikira ensi ne byonna ebigirimu,Ekibuga n’abo abakibeeramu.
Abantu bajja kukaaba,Era buli abeera mu nsi ajja kukuba ebiwoobe.
3 Omusinde gw’ebinuulo by’embalaasi ze bwe guwulirwa,Amagaali ge ag’olutalo bwe gawulirwa nga gawulungutaNe nnamuziga ze bwe ziwulirwa nga zikubagana,Bataata tebatunula na mabega kuyamba baana baabwe,Kubanga emikono gyabwe giggwaamu amaanyi,
4 Olw’okuba olunaku olujja lugenda kuzikiriza Abafirisuuti bonna;+Lujja kuggya ku Ttuulo+ ne Sidoni+ abayambi bonna abasigaddewo.
Kubanga Yakuwa ajja kuzikiriza Abafirisuuti,Abasigaddewo ab’oku kizinga Kafutoli.*+
5 Gaaza kijja kufuna ekiwalaata.*
Asukulooni kisirisiddwa.+
Mmwe abasigaddewo ab’omu kiwonvu kyabwe,Mulituusa wa okwesala emisale?+
6 Ggwe ekitala kya Yakuwa!+
Olituusa wa obutasirika?
Ddayo mu kiraato kyo.
Wummula osirike.
7 Kiyinza kitya okusirikaNga Yakuwa akiragidde?
AkitumyeOkulwanyisa Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Kwe kugamba, Kuleete.
^ Kitegeeza nti bajja kumwako enviiri zaabwe olw’okukungubaga n’okuswala.