Yeremiya 5:1-31
5 Mutambuletambule mu nguudo za Yerusaalemi.
Mutunuletunule mwetegereze.
Munoonye mu bibangirizi byakyo ebya lukale mulabeObanga munaazuulamu omuntu akola eby’obwenkanya,+Era afuba okuba omwesigwa,Bw’anaabaamu, kale nnaakisonyiwa.
2 Ne bwe bagamba nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu!”
Baba balayira bya bulimba.+
3 Ai Yakuwa, amaaso go teganoonya bwesigwa?+
Wababonereza, naye tekirina kye kyabakolako.*
Wabulako katono okubazikiriza, naye tebalina kye baayiga.+
Baakakanyaza obwenyi bwabwe ne buba bugumu okusinga olwazi,+Baagaana okukyuka.+
4 Naye nnagamba nti: “Abantu bano bateekwa okuba nga bakopi.
Bakola eby’obusirusiru olw’okuba tebamanyi Yakuwa,Tebamanyi mateeka ga Katonda waabwe.
5 Nja kugenda eri abasajja ab’ebitiibwa njogere nabo,Kubanga bateekwa okuba nga bamanyi ekkubo lya Yakuwa,Bateekwa okuba nga bamanyi amateeka ga Katonda waabwe.+
Naye bonna baali bamenye ekikoligoEra ne bakutula n’ebisiba.”
6 Empologoma ey’omu kibira kyeva ebalumba,Omusege ogw’omu ddungu kyeguva gubasaanyaawo,N’engo kyeva eteegera okumpi n’ebibuga byabwe.
Buli abifuluma agajambulwa.
Kubanga okwonoona kwabwe kungi nnyo;Ebikolwa byabwe eby’obutali bwesigwa biyitiridde obungi.+
7 Nnyinza ntya okukusonyiwa ebintu bino?
Abaana bo banvuddeko,Balayira eri oyo atali Katonda.+
Nnabawa byonna bye beetaaga,Naye beeyongera bweyongezi okwenda,Era beekuluumululiranga mu nnyumba ya malaaya.
8 Balinga embalaasi ennume ezirulunkanira okulinnyira enkazi,Buli omu abebera muka munne.+
9 “Sisaanidde kubabonereza olw’ebintu ebyo?” Yakuwa bw’agamba.
“Sisaanidde kuwoolera ggwanga ku ggwanga ng’eryo?”+
10 “Mwolekere ennimiro zaakyo ez’emizabbibu muzoonoone,Naye temuzisaanyizaawo ddala.+
Muteme amatabi gaakyo,Kubanga si ga Yakuwa.
11 Ab’ennyumba ya Isirayiri n’ab’ennyumba ya YudaTebabadde beesigwa n’akamu gye ndi,” Yakuwa bw’agamba.+
12 “Beegaanyi Yakuwa, era bagamba nti,‘Talina ky’ajja kukola.*+
Tewali kabi kanaatutuukako;Tetujja kulaba kitala wadde enjala.’+
13 Bannabbi bye boogera tebiriimu nsa,Ekigambo kya Katonda tekiri mu bo.
Ka bafuuke ekitaliimu nsa ng’ebigambo byabwe bwe biri!”
14 Kale bw’ati Yakuwa Katonda w’eggye bw’agamba:
“Olw’okuba abantu bano boogedde bwe batyo,Nzuuno nfuula ekigambo kyange omuliro mu kamwa ko,+Abantu bano ze nku,Era gujja kubookya.”+
15 “Mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri, ŋŋenda kubaleetera eggwanga ery’ewala,”+ Yakuwa bw’agamba.
“Eggwanga eryateekebwawo edda ennyo.
Eggwanga ery’edda ennyo,Eggwanga eryogera olulimi lwe mutamanyi,Era eryogera bye mutasobola kutegeera.+
16 Bonna basajja balwanyi;Ensawo yaabwe ey’obusaale eringa entaana eyasaamiridde.
17 Bajja kulya by’okungudde n’emmere yo.+
Bajja kutta batabani bo ne bawala bo.
Bajja kulya ebisibo byo n’amagana go.
Bajja kusaanyaawo emizabbibu gyo n’emitiini gyo.
Bajja kuzikiriza n’ekitala ebibuga byo ebiriko bbugwe bye weesiga.”
18 “Naye ne mu nnaku ezo,” Yakuwa bw’agamba, “siribazikiririza ddala.+
19 Era bwe balibuuza nti, ‘Lwaki Yakuwa Katonda waffe atukoze ebintu bino byonna?’ obaddangamu nti, ‘Nga bwe mwandeka ne muweereza katonda omulala mu nsi yammwe, nammwe muliweereza abagwira mu nsi etali yammwe.’”+
20 Mulangirire kino mu nnyumba ya Yakobo,Era mukirangirire mu nnyumba ya Yuda nga mugamba nti:
21 “Muwulire kino mmwe abantu abasirusiru abatalina magezi:*+
Balina amaaso naye tebalaba;+Balina amatu naye tebawulira.+
22 ‘Temuntya?’ bw’ayogera Yakuwa,‘Temusaanidde kukankana mu maaso gange?
Nze nnateekawo omusenyu okuba ensalo y’ennyanja,Olw’ekiragiro eky’olubeerera, ennyanja teyinza kusukka nsalo eyo.
Wadde amayengo gaayo geesuukunda, tegasobola kuwaguza;Wadde nga gayira, tegasobola kugisukka.+
23 Naye abantu bano balina omutima omukakanyavu era omujeemu;Balese ekkubo lyange ne bakwata eryabwe.+
24 Era tebagamba mu mutima gwabwe nti:
“Kaakano ka tutye Yakuwa Katonda waffe,Atuwa enkuba mu kiseera ekituufu,Enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo,Oyo akakasa nti wabaawo wiiki ez’amakungula ezaagerekebwa.”+
25 Ensobi zammwe ze ziremesa ebintu bino okujja;Ebibi byammwe bye bibalemesa okufuna ebirungi.+
26 Kubanga mu bantu bange mulimu abantu ababi.
Beetegereza ng’omutezi w’ebinyonyi bw’akola ng’abwamye.
Batega omutego ogw’akabi.
Bakwasa bantu.
27 Ennyumba zaabwe zijjudde obulimba,+Ng’omuyonjo ogujjudde ebinyonyi.
Kyebava bafuuse ab’amaanyi era ne bagaggawala.
28 Bagezze era banyirira;Bakola ebibi bingi nnyo.
Ensonga z’abo abatalina bakitaabwe tebazikolako mu bwenkanya,+Bo basobole okuba obulungi;N’ensonga z’abaavu tebazikolako mu bwenkanya.’”+
29 “Sisaanidde kubabonereza olw’ebintu ebyo?” Yakuwa bw’agamba.
“Sisaanidde kuwoolera ggwanga ku ggwanga ng’eryo?
30 Ekintu ekibi ennyo era ekyesisiwaza kibaddewo mu nsi:
31 Bannabbi boogera bya bulimba,+Bakabona bakozesa obuyinza bwabwe okunyigiriza abalalaNaye abantu bange baagala kibe bwe kityo.+
Kale munaakola mutya ng’enkomerero etuuse?”
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “tebaanafuwa.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Taliiyo.”
^ Obut., “abantu abasirusiru abatalina mutima.”