Yeremiya 50:1-46
50 Ebigambo Yakuwa bye yayogera ku Babulooni,+ ku nsi y’Abakaludaaya, okuyitira mu nnabbi Yeremiya bye bino:
2 “Mukyogereko mu mawanga era mukirangirire.
Muwanike akabonero* era mukirangirire.
Temukweka kintu kyonna!
Mugambe nti, ‘Babulooni awambiddwa.+
Beri aswaziddwa.+
Merodaaki atidde nnyo.
Ebifaananyi bye biswaziddwa.
Ebifaananyi bye ebyenyinyaza* bitidde nnyo.’
3 Kubanga eggwanga limulumbye nga liva ebukiikakkono.+
Ensi ye ligifudde ekintu eky’entiisa;Tewali n’omu agibeeramu.
Abantu n’ensolo bidduse;Bigenze.”
4 “Mu nnaku ezo era ne mu kiseera ekyo,” Yakuwa bw’agamba, “abantu b’omu Isirayiri n’abantu b’omu Yuda balijjira wamu.+ Balitambula nga bakaaba,+ era balinoonya Yakuwa Katonda waabwe nga bali wamu.+
5 Balibuuza ekkubo erigenda e Sayuuni, ng’eyo gye boolekeza amaaso,+ nga bagamba nti, ‘Mujje twegatte ku Yakuwa mu ndagaano etaliggwaawo era etalyerabirwa.’+
6 Abantu bange bafuuse ekisibo ky’endiga ezibuze.+ Abasumba baabwe baabawabya.+ Baabatwala ku nsozi, ne babaleetera okubungeetera ku nsozi ne ku busozi. Beerabidde ekifo kyabwe eky’okuwummuliramu.
7 Abo bonna ababasanga babalya,+ era abalabe baabwe bagambye nti, ‘Tetulina musango, kubanga baayonoona mu maaso ga Yakuwa, mu maaso g’oyo omubeera obutuukirivu era essuubi lya bajjajjaabwe, Yakuwa.’”
8 “Mudduke mu Babulooni,Muve mu nsi y’Abakaludaaya,+Mubeere ng’ensolo ezikulembedde ekisibo.
9 Kubanga laba, mpendulira Babulooni era mmuleeteraEkibiina ky’amawanga ag’amaanyi okuva mu nsi ey’ebukiikakkono.+
Bajja kumulumba nga basimbye ennyiriri;Bajja kumuwamba nga bava ku luuyi olwo.
Obusaale bwabwe bulinga obw’omulwanyi
Obutta abaana;+Tebulemwa kuteeba.
10 Bukaludaaya ejja kunyagibwa.+
Abo bonna abanaanyaga ebintu byayo bajja kufuna ebibamatiza,”+ Yakuwa bw’agamba.
11 “Kubanga mwasanyuka+ era ne mujaganyaNga munyaga obusika bwange.+
Mwaligita ng’ente enduusi,Era ne mukaaba ng’embalaasi.
12 Nnyammwe aswaziddwa.+
Eyabazaala aweddemu amaanyi.
Laba! Y’asembayo okuba owa wansi mu mawanga,Lukoola omutali mazzi era ddungu.+
13 Olw’obusungu bwa Yakuwa tajja kubeeramu bantu;+Ajja kufuuka matongo.+
Buli anaayitanga okumpi ne Babulooni anaatangaliriranga olw’entiisaEra n’afuuwa oluwa olw’ebibonyoobonyo bye byonna.+
14 Musimbe ennyiriri mulumbe Babulooni nga muva ku buli luuyi,Mmwe mmwenna abaweta omutego.
Mumulase; mukozese obusaale bwammwe bwonna,+Kubanga ayonoonye mu maaso ga Yakuwa.+
15 Mulaye enduulu z’olutalo ku njuyi ze zonna.
Awanise.*
Empagi ze zigudde, bbugwe we amenyeddwa,+Kubanga Yakuwa awooledde eggwanga.+
Mumuwoolereko eggwanga.
Mumukole nga bwe yakola.+
16 Babulooni gimaleemu oyo asiga ensigoN’oyo akwata ekiwabyo mu biseera eby’amakungula.+
Olw’ekitala ekikambwe, buli omu ajja kuddayo eri abantu be,Buli omu ajja kudduka agende mu nsi ye.+
17 “Abantu ba Isirayiri ndiga ezisaasaanye.+ Empologoma zibasaasaanyizza.+ Okusooka kabaka wa Bwasuli yabalya,+ ate oluvannyuma Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni n’akeketa amagumba gaabwe.+
18 Kale bw’ati Yakuwa ow’eggye Katonda wa Isirayiri bw’agamba: ‘Kye nnakola kabaka wa Bwasuli+ kye nja okukola kabaka wa Babulooni n’ensi ye.
19 Nja kukomyawo Isirayiri mu ddundiro lye,+ era ajja kuliira omuddo ku Kalumeeri ne mu Basani,+ era ku nsozi za Efulayimu+ n’eza Gireyaadi+ ajja kulya akkute.’”
20 “Mu nnaku ezo ne mu kiseera ekyo,” Yakuwa bw’agamba,“Ensobi za Isirayiri zirinoonyezebwa,Naye tewaliba n’emu,Era ebibi bya Yuda tebirizuulibwa,Kubanga ndisonyiwa abo be ndirekawo.”+
21 “Lumba ensi ya Merasayimu n’abantu ababeera mu Pekodi.+
Ka battibwe era bazikiririzibwe ddala,” Yakuwa bw’agamba.
“Kola byonna bye nkulagidde.
22 Mu nsi mulimu oluyoogaano lw’olutalo,Akatyabaga ak’amaanyi.
23 Ennyondo eyasaayasa amawanga gonna ag’omu nsi etemeddwa era emenyeddwa!+
Babulooni efuuse ekintu eky’entiisa mu mawanga!+
24 Ggwe Babulooni, nnakutega omutego ne gukukwasa,Naye tewakimanya.
Wazuulibwa n’owambibwa,+Kubanga wawakanya Yakuwa.
25 Yakuwa agguddewo etterekero lye,Era afulumya eby’okulwanyisa eby’obusungu bwe.+
Kubanga Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye, alina omulimu ogw’okukolaMu nsi y’Abakaludaaya.
26 Mugirumbe nga muva mu bifo eby’ewala.+
Muggulewo ebyagi bye.+
Mumutuume nga bwe mutuuma entuumu z’emmere ey’empeke.
Mumuzikiririze ddala.+
K’aleme kusigazaawo muntu n’omu.
27 Musanjage ente ze zonna ento ennume;+Ka zigende zittibwe.
Zizisanze kubanga olunaku lwazo lutuuse,Ekiseera eky’okuzibonereza!
28 Omusinde gw’abo abadduka guwulirwa,Abo abadduka mu nsi ya Babulooni,Okulangirira mu Sayuuni nti Yakuwa Katonda waffe awooledde eggwanga,Nti awooledde eggwanga olwa yeekaalu ye.+
29 Muyite abalasi b’obusaale balumbe Babulooni,Abo bonna abaweta omutego.+
Musiisire wonna okumwetoolola; ka waleme kubaawo n’omu adduka.
Mumusasule nga bye yakola bwe biri.+
Mumukole nga bwe yakola.+
Kubanga yeekulumbaliza ku Yakuwa,Ku Mutukuvu wa Isirayiri.+
30 Abavubuka be bajja kugwa mu bibangirizi bye ebya lukale,+Abasirikale be bonna bajja kusaanawo* ku lunaku olwo,” Yakuwa bw’agamba.
31 “Laba! Nja kukulwanyisa,+ ggwe omujeemu,”+ bw’ayogera Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggye,“Kubanga olunaku lwo luteekwa okujja, ekiseera lwe nnaakuvunaana.
32 Ggwe omujeemu, ojja kwesittala ogwe,Tewajja kuba n’omu akuyimusa.+
Nja kukuma omuliro ku bibuga byo,Era gujja kwokya byonna ebikwetoolodde.”
33 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba:
“Abantu b’omu Isirayiri ne Yuda banyigirizibwa,Era abo bonna ababawamba babanywerezza ddala.+
Bagaanye okubata bagende.+
34 Naye Omununuzi waabwe wa maanyi.+
Yakuwa ow’eggye lye linnya lye.+
Mazima ddala ajja kuwoza omusango gwabwe,+Alyoke awe ensi yaabwe ekiwummulo+Era yeeraliikirize abo ababeera mu Babulooni.”+
35 “Ekitala kijja kuzikiriza Abakaludaaya,” Yakuwa bw’agamba,“Kijja kuzikiriza ababeera mu Babulooni n’abaami baayo n’abantu baayo ab’amagezi.+
36 Ekitala kijja kuzikiriza aboogera ebitaliimu,* era bajja kweyisa mu ngeri ey’obusirusiru.
Ekitala kijja kuzikiriza abalwanyi baayo, era bajja kutya nnyo.+
37 Ekitala kijja kuzikiriza embalaasi zaabwe n’amagaali gaabwe ag’olutalo,Era kijja kuzikiriza abagwira bonna abali wakati mu yo,Bajja kuba ng’abakazi.+
Ekitala kijja kuzikiriza eby’obugagga byayo, era bijja kunyagibwa.+
38 Amazzi gaayo gajja kutaataaganyizibwa, era gajja kukalira.+
Kubanga nsi ya bifaananyi ebyole,+Era olw’okuba boolesebwa ebitiisa, beeyisa ng’abalalu.
39 Kale ebitonde eby’omu ddungu bijja kubeera n’ensolo eziwoowoola,Ne maaya ajja kubeera omwo.+
Tejja kuddamu kubeeramu bantu,Wadde okuba ekifo eky’okutuulwamu emirembe n’emirembe.”+
40 “Nga bwe kyali oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa Sodomu ne Ggomola+ n’obubuga obwali bubiriraanye,+ bwe kinaaba ne ku luno,” Yakuwa bw’agamba, “tewali muntu anaagibeeramu, era tewali anaasengayo.+
41 Laba! Eggwanga lijja okuva ebukiikakkono;Eggwanga ery’amaanyi ne bakabaka+ ab’ekitiibwa bajja kuyimukaOkuva mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.+
42 Balina emitego gy’obusaale n’amafumu.+
Bakambwe era tebajja kusaasira.+
Nga bali ku mbalaasi zaabwe,Omusinde gwabwe guba ng’ennyanja eyira.+
Nga bali bumu, basimba ennyiriri okukulumba, ggwe omuwala wa Babulooni.+
43 Kabaka wa Babulooni awulidde amawulire agabakwatako,+Era emikono gye giggwaamu amaanyi.+
Afuna obulumi,Obulumi ng’obw’omukazi azaala.
44 “Laba! Ng’empologoma bw’eva mu bisaka ebiziyivu ebiri ku lubalama lwa Yoludaani, waliwo ajja okujja alumbe amalundiro amatebenkevu ag’omu Babulooni, naye mu kaseera katono nja kubaleetera okumuddukamu. Omulonde gwe nja okuwa obuyinza okumufuga.+ Kubanga ani alinga nze, era ani ananneesimbamu? Musumba ki ayinza okuyimirira mu maaso gange?+
45 Kale muwulire mmwe, Yakuwa ky’asazeewo okukola ku Babulooni+ ne ky’alowooza okukola ensi y’Abakaludaaya.
Mazima ddala obuliga obuto obw’omu kisibo bujja kutwalibwa.
Ekifo kye bubeeramu ajja kukifuula matongo olw’okubeera bo.+
46 Okuwambibwa kwa Babulooni bwe kunaawulirwa, ensi ejja kukankana,Emiranga gijja kuwulirwa mu mawanga.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “ekikondo.”
^ Obut., “Awaddeyo omukono gwe.”
^ Obut., “kusirisibwa.”
^ Oba, “bannabbi ab’obulimba.”