Yeremiya 51:1-64
51 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Laba ndeeta embuyaga ezikirizaKu Babulooni+ ne ku abo ababeera mu Lebukamaayi.*
2 Nja kutuma abo abawewa e Babulooni,Bajja kumuwewa era ensi ye bajja kugireka nga njereere;Bajja kumulumba nga bava ku njuyi zonna ku lunaku olw’akatyabaga.+
3 Omulasi w’obusaale k’aleme kuweta mutego gwe.
Era ka waleme kubaawo muntu n’omu ayimirira ng’ayambadde ekyambalo ky’olutalo.
Temusaasira bavubuka be.+
Muzikirize eggye lye lyonna.
4 Bajja kugwa mu nsi y’Abakaludaaya nga battiddwa,Nga bafumitiddwa mu nguudo ze.+
5 Kubanga Yakuwa ow’eggye tayabulidde Isirayiri ne Yuda, era tebafuuse nga bannamwandu.+
Naye ensi yaabwe* ezizza emisango mingi mu maaso g’Omutukuvu wa Isirayiri.
6 Mudduke muve mu Babulooni,Muwonye obulamu bwammwe.+
Temuzikirira olw’ensobi ze.
Kubanga ekiseera kya Yakuwa okuwoolera eggwanga kituuse.
Amusasula olw’ebyo by’akoze.+
7 Babulooni abadde ng’ekikopo ekya zzaabu mu mukono gwa Yakuwa;Yatamiiza ensi yonna.
Amawanga ganywedde ku mwenge gwe;+Eyo ye nsonga lwaki galaluse.+
8 Babulooni agudde mbagirawo n’amenyeka.+
Mumukubire ebiwoobe!+
Mumufunire basamu akkakkanye obulumi bwe; oboolyawo anaawona.”
9 “Twagezaako okuwonya Babulooni, naye yali tayinza kuwona.
Mumuleke, era ka buli omu ku ffe agende mu nsi y’ewaabwe.+
Kubanga omusango gwe gutuuse ku ggulu;Guli waggulu nnyo ng’ebire.+
10 Yakuwa atukoledde eby’obwenkanya.+
Mujje tutegeeze mu Sayuuni Yakuwa Katonda waffe by’akoze.”+
11 “Muwagale obusaale;+ mukwate engabo enneetooloovu.*
Yakuwa akumye omuliro mu bakabaka b’Abameedi,+Kubanga ayagala okuzikiriza Babulooni.
Kuno kuwoolera ggwanga, Yakuwa awoolera eggwanga olwa yeekaalu ye.
12 Muwanike akabonero*+ mwolekere bbugwe wa Babulooni.
Munyweze obukuumi, muteekeewo abakuumi.
Muteeketeeke abateezi.
Kubanga Yakuwa akoze enteekateeka,Era ajja kutuukiriza bye yagamba okukola ababeera mu Babulooni.”+
13 “Ggwe omukazi abeera ku mazzi amangi,+Alina eby’obugagga ebingi,+Enkomerero yo etuuse, ebyo by’obadde okola ebivaamu amagoba bikomye.+
14 Yakuwa ow’eggye alayidde nti,‘Nja kukujjuza abasajja, nga bangi ng’enzige,Era bajja kujaguza olw’okukuwangula.’+
15 Ye yakola ensi ng’akozesa amaanyi ge,Ye yanyweza ensi ng’akozesa amagezi ge,+Era ye yabamba eggulu ng’akozesa okutegeera kwe.+
16 Eddoboozi lye lireeteraAmazzi agali mu ggulu okuyira,Era aleetera ebire okwambuka nga biva ku nkomerero y’ensi.
Akolera enkuba ebimyanso,*Era aggya empewo mu materekero ge.+
17 Abantu bonna beeyisa mu ngeri etali ya magezi era etayoleka kumanya.
Abaweesi bonna bajja kuswala olw’ebifaananyi ebyole;+Kubanga ebifaananyi byabwe eby’ebyuma* bya bulimba,Era tebiriimu mwoyo.*+
18 Tebirina kye bigasa,*+ era bigwana kusekererwa.
Olunaku olw’okubisalira omusango bwe lulituuka birisaanawo.
19 Katonda wa* Yakobo talinga byo,Kubanga ye yakola ebintu byonna,Era ye gwe muggo gw’obusika bwe.+
Yakuwa ow’eggye lye linnya lye.”+
20 “Oli mbuukuuli yange, eky’okulwanyisa mu lutalo,Kubanga nja kukukozesa okumenyaamenya amawanga.
Nja kukukozesa okuzikiriza obwakabaka.
21 Nja kukukozesa okumenyaamenya embalaasi n’oyo agyebagala.
Nja kukukozesa okumenyaamenya eggaali ery’olutalo n’oyo alivuga.
22 Nja kukukozesa okubetenta omusajja n’omukazi.
Nja kukukozesa okubetenta omusajja omukadde n’omulenzi.
Nja kukukozesa okubetenta omuvubuka n’omuwala.
23 Nja kukukozesa okubetenta omusumba n’endiga ze.
Nja kukukozesa okubetenta omulimi n’ensolo ze z’alimisa.
Nja kukukozesa okubetenta bagavana n’abakungu.
24 Nja kusasula Babulooni n’abo bonna ababeera mu BukaludaayaOlw’ebintu byonna ebibi bye bakoze mu Sayuuni nga mulaba,”+ Yakuwa bw’agamba.
25 “Laba nja kukulwanyisa+ ggwe olusozi oluzikiriza,” Yakuwa bw’agamba,“Ggwe omuzikiriza w’ensi yonna.+
Nja kukugololerako omukono gwange nkuyiringise okuva ku njaziEra nkufuule olusozi olusaanyiziddwawo omuliro.”
26 “Abantu tebajja kukuggyamu jjinja lya ku nsonda oba ery’omusingi,Kubanga ojja kubeera matongo emirembe gyonna,”+ Yakuwa bw’agamba.
27 “Muwanike akabonero* mu nsi.+
Mufuuwe eŋŋombe mu mawanga.
Mulonde* amawanga gamulwanyise.
Muyite obwakabaka bwa Alalati,+ obwa Mini, n’obwa Asukenaazi+ bumulwanyise.
Muteekeewo omusirikale awandiika abasirikale ab’okumulwanyisa.
Mulinnyise embalaasi ng’ebibinja by’enzige ento.
28 Mulonde* amawanga gamulwanyise,Bakabaka ba Bumeedi,+ bagavana baayo, n’abakungu baayo bonnaN’ensi zonna ze bafuga.
29 Ensi ejja kukankana era eyuuguume,Kubanga Yakuwa by’alowooza ku Babulooni bijja kutuukiriraOkufuula ensi ya Babulooni ekintu eky’entiisa, nga tewali agibeeramu.+
30 Abalwanyi ba Babulooni balekedde awo okulwana.
Batudde mu bigo byabwe.
Baweddemu amaanyi.+
Bafuuse ng’abakazi.+
Ennyumba ze zikumiddwako omuliro.
Ebisiba bye bimenyeddwa.+
31 Omubaka omu adduka okusisinkana omubaka omulala,Atwala amawulire adduka okusisinkana atwala amawulire omulala,Okutegeeza kabaka wa Babulooni nti ekibuga kye kiwambiddwa ku njuyi zaakyo zonna,+
32 Nti emisomoko giwambiddwa,+Nti amaato ag’ebitoogo gookeddwa omuliro,Era nti abasirikale batidde nnyo.”
33 Kubanga bw’ati Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri bw’agamba:
“Omuwala wa Babulooni alinga egguuliro.
Kye kiseera okumulinnyirira.
Mangu ddala ekiseera ky’amakungula kijja kumujjira.”
34 “Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni andidde;+Antabuddetabudde.
Anfudde ng’ekibya ekitaliimu kintu.
Ammize ng’omusota omunene;+Olubuto lwe alujjuzza ebintu byange ebirungi.
Anjiiridde amazzi ne gantwala.
35 ‘Ebikolwa eby’obukambwe ebinkoleddwako ka bibeere ku Babulooni!’ bw’agamba oyo abeera mu Sayuuni.+
‘Era omusaayi gwange ka gubeere ku abo ababeera mu Bukaludaaya!’ bw’ayogera Yerusaalemi.”
36 Kale bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Laba nkuwoleza omusango gwo,+Nja kuwoolera eggwanga ku lulwo.+
Nja kukaliza ennyanja ye era nkalize n’enzizi ze.+
37 Babulooni ajja kufuuka entuumu z’amayinja,+Ajja kufuuka ekisulo ky’ebibe,+Ajja kufuuka ekintu eky’entiisa era eky’okufuuyira oluwa,Nga tewakyali amubeeramu.+
38 Bajja kuwulugumira wamu ng’empologoma envubuka.
Bajja kufugula ng’abaana b’empologoma.”
39 “Bwe banaacamuukirira, nja kubagabula ekijjulo kyabwe era mbatamiize,Balyoke bajaguze;+Olwo bajja kwebaka otulo otw’olubeerera,Era tebajja kuzuukuka,”+ Yakuwa bw’agamba.
40 “Nja kubatwala ng’atwala abaana b’endiga okuttibwa,Ng’endiga ennume awamu n’embuzi.”
41 “Sesaki* awambiddwa,+Ekibuga ekyatenderezebwanga abantu bonna kiwambiddwa!+
Babulooni efuuse ekintu eky’entiisa mu mawanga!
42 Ennyanja ebuutikidde Babulooni.
Amayengo gaayo amangi gamubuutikidde.
43 Ebibuga byayo bifuuse ekintu eky’entiisa, ekitundu omutali mazzi era eddungu.
Nsi omutaabeerenga muntu yenna era omutaayitenga muntu yenna.+
44 Nja kubonereza Beri+ ow’omu Babulooni,Akamwa ke nja kukaggyamu ebyo by’amize.+
Amawanga tegajja kuddamu kwekuluumululira gy’ali,Era bbugwe wa Babulooni ajja kugwa.+
45 Mumufulumemu abantu bange!+
Mudduke mwewonye+ obusungu bwa Yakuwa obubuubuuka!+
46 Temutya era temutekemuka olw’amawulire aganaawulirwa mu nsi.
Mu mwaka gumu mujja kuwulira amawulire,Ate mu mwaka oguddako mujja kufuna amawulire amalala,Agakwata ku bikolwa eby’obukambwe mu nsi n’agakwata ku mufuzi omu okulwanyisa omufuzi omulala.
47 Kale laba! ennaku zijjaLwe ndizikiriza ebifaananyi bya Babulooni ebyole.
Ensi ye yonna eriswazibwa,Era abantu be bonna abalittibwa baligwa wakati mu ye.+
48 Eggulu n’ensi ne byonna ebibirimuBirireekaana olw’essanyu Babulooni bw’erigwa,+Kubanga abazikiriza balijja nga bava ebukiikakkono,”+ Yakuwa bw’agamba.
49 “Babulooni teyakoma ku kuviirako Bayisirayiri kuttibwa+Naye era ab’omu nsi yonna abattiddwa mu Babulooni mwe bagudde.
50 Mmwe abawonye ekitala, mugende mu maaso, temuyimirira!+
Mujjukire Yakuwa nga muli eyo ewala,Era mulowooze ku Yerusaalemi.”+
51 “Tuswadde, olw’okuba tuwulidde ebivumo.
Obuswavu butubisse amaaso,Kubanga abagwira balumbye ebifo ebitukuvu eby’ennyumba ya Yakuwa.”+
52 “Kale laba! ennaku zijja,” Yakuwa bw’agamba,“Lwe ndizikiriza ebifaananyi bye ebyole,Era mu nsi ye yonna abaliba n’ebiwundu balisinda.”+
53 “Babulooni ne bw’alirinnya mu ggulu,+Ne bw’alinyweza ebigo bye ebigulumivu,Abalimuzikiriza balijja nga bava gye ndi,”+ Yakuwa bw’agamba.
54 “Wulira! Waliwo okukaaba mu Babulooni,+Waliwo akatyabaga ak’amaanyi mu nsi y’Abakaludaaya,+
55 Kubanga Yakuwa azikiriza Babulooni,Ajja kusirisa eddoboozi lye ery’amaanyi,Era amayengo gaabwe gajja kuyira ng’amazzi amangi.
Eddoboozi lyabwe lijja kuwulirwa.
56 Kubanga omuzikiriza ajja kulumba Babulooni;+Abalwanyi be bajja kuwambibwa,+Emitego gyabwe egy’obusaale gijja kumenyebwamenyebwa,Kubanga Yakuwa ye Katonda awoolera eggwanga.+
Ajja kusasula.+
57 Nja kutamiiza abaami be n’abasajja be abagezigezi,+Bagavana be n’abakungu be n’abalwanyi be,Bajja kwebaka otulo otw’olubeerera,Tebajja kuzuukuka,”+ bw’ayogera Kabaka ayitibwa Yakuwa ow’eggye.
58 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba:
“Wadde bbugwe wa Babulooni mugazi, ajja kumenyebwa,+Wadde enzigi ze mpanvu, zijja kwokebwa omuliro.
Amawanga gajja kuteganira bwereere;Amawanga gajja kwekooya bwekooya nga gassa enku mu muliro.”+
59 Bino nnabbi Yeremiya bye yalagira Seraya mutabani wa Neriya+ mutabani wa Maseya bwe yagenda e Babulooni ne Kabaka Zeddeekiya owa Yuda mu mwaka ogw’okuna ogw’obufuzi bwe; Seraya ye yali alabirira ebintu bya kabaka.
60 Yeremiya yawandiika mu kitabo kimu akabi konna akaali kagenda okutuuka ku Babulooni, ebigambo bino byonna ebyawandiikibwa ku Babulooni.
61 Ate era Yeremiya yagamba Seraya nti: “Bw’onootuuka e Babulooni, oteekwa okusoma ebigambo bino byonna mu ddoboozi ery’omwanguka.
62 Oluvannyuma ojja kugamba nti, ‘Ai Yakuwa, ogambye nti ekifo kino kijja kuzikirizibwa kisigale nga tewakyali akibeeramu, k’abe omuntu oba ensolo, era nti kijja kuba matongo emirembe gyonna.’+
63 Bw’onoomala okusoma ebiri mu kitabo kino, ojja kukisibako ejjinja okisuule mu Mugga Fulaati,
64 olyoke ogambe nti, ‘Bw’ati Babulooni bw’alikka era talibbulukuka nate+ olw’akabi ke ŋŋenda okumutuusaako; era abantu abamubeeramu balikoowa.’”+
Ebigambo bya Yeremiya bikomye wano.
Obugambo Obuli Wansi
^ Kirabika lino linnya ddala erya Bukaludaaya.
^ Kwe kugamba, ensi y’Abakaludaaya.
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “mujjuze ensawo y’obusaale.”
^ Oba, “ekikondo.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “aw’okuyita.”
^ Oba, “ebisaanuuse.”
^ Oba, “mukka.”
^ Oba, “Tebiriimu nsa.”
^ Obut., “Omugabo gwa.”
^ Oba, “ekikondo.”
^ Obut., “Mutukuze.”
^ Obut., “Mutukuze.”
^ Kirabika lino linnya lya Babeeri (Babulooni) eddala.