Yeremiya 6:1-30
6 Mmwe abaana ba Benyamini, muve mu Yerusaalemi mufune we mwewogoma.
Mufuuwe eŋŋombe+ mu Tekowa;+Mukume omuliro gube akabonero mu Besu-kakkeremu!
Kubanga akabi akava ebukiikakkono kanaatera okutuuka, akatyabaga ak’amaanyi.+
2 Omuwala wa Sayuuni alinga omukazi alabika obulungi era eyeekanasa.+
3 Abasumba bajja kujja n’ebisibo byabwe.
Bajja kusimba weema zaabwe okumwetooloola,+Buli omu ng’alunda endiga z’alabirira.+
4 “Mweteeketeeke* okumulwanyisa!
Muyimuke tumulumbe mu ttuntu!”
“Zitusanze, kubanga obudde bunaatera okuziba,Kubanga ebisiikirize eby’akawungeezi bigenda biwanvuwa!”
5 “Muyimuke tumulumbe ekiroTuzikirize eminaala gye.”+
6 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba:
“Muteme emiti era mukole ekifunvu okulwanyisa Yerusaalemi.+
Kye kibuga ekirina okubonerezebwa;Mu kyo mulimu kubonyaabonya kwokka.+
7 Ng’oluzzi bwe lusibukamu amazzi agannyogoga,*N’ekibuga kino ye nsibuko y’ebikolwa ebibi.
Ebikolwa eby’obukambwe n’okuzikiriza biwulirwa mu kyo;+Endwadde n’ebizibu biba mu maaso gange buli kiseera.
8 Ggwe Yerusaalemi, labuka nneme okukwetamwa ne nkuvaako;+Nja kukufuula matongo, ensi etaliimu bantu.”+
9 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba:
“Abayisirayiri abasigaddewo balinga ebibala ebisembayo ku muzabbibu.
Bakuŋŋaanye wamu ng’omuntu bwakuŋŋaanyiza mu kibbo ebibala by’ezzabbibu ebisembayo.”
10 “Ani gwe nnaayogera naye era ggwe nnaalabula?
Ani anaawuliriza?
Laba! Amatu gaabwe maggale,* ne kiba nti tebasobola kuwulira.+
Laba! Ekigambo kya Yakuwa kifuuse ekintu kye banyooma;+Tebakisanyukira.
11 Kyenvudde nzijula obusungu bwa Yakuwa,Era nkooye okubuzibiikiriza.”+
“Bufuke ku mwana ali mu luguudo,+Buyiwe ku bibinja by’abavubuka abakuŋŋaanye awamu.
Bonna bajja kuwambibwa, omusajja ne mukyala we,Abasajja abakaddiye awamu n’abasajja abazeeyuse.+
12 Ennyumba zaabwe ziriweebwa abantu abalala,Awamu n’ebibanja byabwe ne bakazi baabwe.+
Kubanga ndigolola omukono gwange ne mbonereza abantu b’omu nsi eno,” Yakuwa bw’agamba.
13 “Bonna, okuva ku asembayo okuba owa wansi okutuuka ku asinga okuba ow’ekitiibwa, beefunira ebintu mu makubo amakyamu;+Bannabbi ne bakabona bonna si ba mazima.+
14 Abantu bange abalina obuvune babawonya kungulu kwokka nga bagamba nti,‘Waliwo emirembe! Waliwo emirembe!’
So ng’ate tewali mirembe.+
15 Bakwatibwa ensonyi olw’ebintu eby’omuzizo bye bakoze?
Tebakwatibwa nsonyi n’akamu!
Tebamanyi na kiyitibwa kuswala!+
Kyebaliva bagwa mu abo abagudde.
Bwe ndibabonereza balyesittala,” Yakuwa bw’agamba.
16 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Muyimirire mu masaŋŋanzira mulabe.
Mubuuze ebikwata ku makubo ag’edda,Mubuuze ekkubo eddungi gye liri, mulitambuliremu,+Mufune ekiwummulo.”
Naye abantu bo bagamba nti: “Tetujja kulitambuliramu.”+
17 “Nnateekawo abakuumi+ abaagamba nti,‘Muwulirize eddoboozi ly’eŋŋombe!’”+
Naye bo ne bagamba nti: “Tetujja kuliwuliriza.”+
18 “Kale muwulirize mmwe amawanga!
Era mumanye mmwe abantu,Ekinaatuuka ku bantu abo.
19 Wuliriza ggwe ensi!
Ŋŋenda kuleeta akabi ku ggwanga lino+Olw’enkwe zaabwe,Kubanga tebaawuliriza bigambo byangeEra beesamba amateeka gange.”*
20 “Kingasa ki mmwe okuleeta obubaani obweru obuva e SebaNe kaane ow’akaloosa* okuva mu nsi ey’ewala?
Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa tebikkirizibwa,Ne ssaddaaka zammwe tezinsanyusa.”+
21 Kale bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Ŋŋenda kuteerawo abantu bano enkonge,Era bajja kuzeesittalako,Bataata awamu n’abaana,Buli muntu ne munne,Era bonna bajja kusaanawo.”+
22 Bw’ati Yakuwa bw’agamba:
“Laba! Abantu bajja nga bava mu nsi ey’ebukiikakkono,Eggwanga ery’amaanyi lijja kuyimuka live mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.+
23 Bajja kukwata omutego gw’obusaale n’effumu.
Bakambwe era tebajja kusaasira.
Eddoboozi lyabwe lijja kuyira ng’ennyanja,Era beebagadde embalaasi.+
Basimba ennyiriri ng’omusajja omulwanyi, okukulwanyisa ggwe omuwala wa Sayuuni.”
24 Tuwulidde amawulire agakwata ku bintu ebyo.
Emikono gyaffe ginafuye;+Tunakuwadde,Tulumwa* ng’omukazi azaala.+
25 Tofuluma kugenda ku ttale,Era totambulira ku luguudo,Kubanga omulabe alina ekitala;Entiisa eri buli wamu.
26 Ggwe omuwala w’abantu bange,Yambala ebibukutu+ era wevulunge mu vvu.
Kungubaga ng’akungubagira omwana wo omu yekka, ng’okuba ebiwoobe,+Kubanga azikiriza ajja kutugwaako bugwi.+
27 “Mu bantu bange nkufudde* ng’oyo aggya amasengere mu byuma,Nkufudde oyo anoonyereza n’obwegendereza;Weetegereze era wekkaanye ekkubo lyabwe.
28 Bonna bantu bakakanyavu nnyo,+Bagenda bawaayiriza.+
Balinga ekikomo n’ekyuma;Bonna boonoonefu.
29 Emivubo gyokeddwa omuliro.
Mu muliro muvaamu erisasi.
Oyo afuba okulongoosa ateganira bwereere,+Era ababi tebaggiddwamu.+
30 Abantu bajja kubayita masengere ga ffeeza,Kubanga Yakuwa abeesambye.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “Mwetukuze.”
^ Oba, “amalungi.”
^ Obut., “Okutu kwabwe si kukomole.”
^ Oba, “obulagirizi bwange.”
^ Ekika ky’olumuli oluwunya akawoowo.
^ Obut., “Tulumwa ebisa.”
^ Wano boogera ku Yeremiya.