Yobu 10:1-22
10 “Nneetamiddwa obulamu.+
Nja kwemulugunya.
Era nja kwogera wadde nga ndi mu nnaku ya maanyi!
2 Nja kugamba Katonda nti: ‘Tonsingisa musango.
Mbuulira ensonga lwaki onnwanyisa.
3 Kirina bwe kikugasa okubonyaabonya,Okunyooma omulimu gw’emikono gyo,+Ate n’osanyukira amagezi g’ababi?
4 Amaaso go galinga ag’abantu?
Oba olaba ng’abantu bwe balaba?
5 Ennaku zo ziringa ennaku z’abantu,Oba emyaka gyo giringa emyaka gy’omuntu,+
6 Olyoke onoonyereze ensobi yangeEra onoonye ekibi kyange?+
7 Okimanyi nti sirina musango;+Era tewali n’omu ayinza kunnunula mu mukono gwo.+
8 Ggwe wammumba era ggwe wankola n’engalo zo,+Naye kaakano oyagala kunsaanyaawo.
9 Jjukira nti wankola mu bbumba,+Naye kaakano onzizaayo mu nfuufu.+
10 Tewanjiwa ng’ayiwa amataN’onfuula bbongo?
11 Wannyambaza olususu n’ennyama,Era wagatta wamu amagumba gange n’ebinywa byange.+
12 Wampa obulamu era n’ondaga okwagala okutajjulukuka;Okuumye bulungi obulamu bwange.+
13 Naye wayagala okukola ebintu bino mu kyama.*
Nkimanyi nti ebintu bino biva gy’oli.
14 Singa nnayonoona, wandindabye,+Era tewandinzigyeeko musango olw’ensobi yange.
15 Bwe mba nga nnina omusango, zinsanze!
Era ne bwe mba nga sigulina, siyinza kuyimusa mutwe gwange,+Kubanga nzijudde obuswavu era mbonaabona.+
16 Bwe nnyimusa omutwe gwange, onjigga ng’empologoma+Era n’oddamu okundaga amaanyi go.
17 Oleeta abajulirwa abalala bannumirizeEra oyongere okunsunguwalira,Wadde nga nfuna ebizibu eby’omuddiriŋŋanwa.
18 Kale lwaki wanzigya mu lubuto lwa mmange?+
Nnandibadde nnafa nga tewannabaawo n’omu andaba.
19 Nnandibadde ng’atabangawo;Nnandiggiddwa mu lubuto lwa mmange ne ntwalibwa butereevu mu ntaana.’
20 Ennaku zange si ntono?+ Andeke;Anzigyeko amaaso ge nfune ku buweerero*+
21 Nga sinnagenda eyo gye siive+Mu nsi ekutte ekizikiza eky’amaanyi,*+
22 Mu nsi ey’ekizikiza ekikutte,Ensi ey’ekisiikirize n’obutabangufu,Eyo ekitangaala gye kiringa ekizikiza.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “Era ebintu bino wabikweka mu mutima gwo.”
^ Oba, “nsobole okusanyukako.”
^ Oba, “ey’ekizikiza era ey’ekisiikirize ky’okufa.”