Yobu 15:1-35
15 Awo Erifaazi+ Omutemani n’addamu nti:
2 “Omuntu ow’amagezi anaddamu ng’ayogera ebigambo ebitaliimu nsa,Oba anajjuza olubuto lwe embuyaga ey’ebuvanjuba?
3 Tekigasa kunenya muntu na bigambo bugambo,Era n’okwogera obwogezi tekigasa.
4 Kubanga oleetera abalala obutatya Katonda,Era oleetera abalala obutalowooza ku Katonda.
5 Kubanga ensobi z’okola ze zikuleetera okwogera bw’otyo,Era okozesa olulimi olulimba.
6 Akamwa ko ke kakusalira omusango, so si nze;Emimwa gyo gye gikulumiriza.+
7 Ggwe muntu eyasooka okuzaalibwa,Oba ggwe wasooka ensozi okubaawo?
8 Owuliriza ebyo Katonda by’ayogera mu kyama,Oba olowooza ggwe wekka alina amagezi?
9 Kiki ky’omanyi ffe kye tutamanyi?+
Kiki ky’otegeera ffe kye tutategeera?
10 Abakaddiye n’ab’envi bali wamu naffe,+Abasajja abasinga kitaawo obukulu.
11 Okubudaabudibwa Katonda tekikumala,Oba ebigambo bye tukubuulira mu bukkakkamu?
12 Kiki ekireetera omutima gwo okwegulumiza,Era lwaki otunuza busungu?
13 Kubanga Katonda kennyini gw’osunguwalidde,N’oleka ebigambo ng’ebyo okuva mu kamwa ko.
14 Omuntu obuntu ayinza atya okuba omulongoofu,Oba omuntu yenna azaalibwa omukazi ayinza atya okuba omutuukirivu?+
15 Laba! Teyeesiga batukuvu be,Era n’eggulu si ddongoofu mu maaso ge.+
16 Kati olwo kiba kitya bwe kituuka ku muntu omubi era atali mwesigwa,+Omuntu anywa obutali butuukirivu ng’amazzi!
17 Mpuliriza nkubuulire!
Nja kukubuulira bye ndabye,
18 Abantu ab’amagezi bye boogedde nga babiggya ku bakitaabwe,+Ebintu bye batakwese.
19 Be bokka abaaweebwa ensi,Era tewali mugwira eyayita mu bo.
20 Omuntu omubi abonaabona ennaku zonna ez’obulamu bwe,Emyaka gyonna egyagerekerwa omuntu anyigiriza abalala.
21 Awulira mu matu ge amaloboozi agamutiisa;+Alumbibwa abazigu mu kiseera eky’emirembe.
22 Takikkiriza nti aliva mu kizikiza;+Era alindirira okuttibwa n’ekitala.
23 Adda eno n’eri ng’anoonya emmere,* era abuuza nti: “Eruwa?”
Akimanyi bulungi nti ekiseera eky’ekizikiza kituuse.
24 Ennaku n’obuyinike bimutiisa;Bimumala amaanyi nga kabaka ow’amaanyi azze okulumba.
25 Kubanga agalulira Katonda omukono,Era agezaako okujeemera* Omuyinza w’Ebintu Byonna;
26 Afubutuka okumulumba,N’engabo ye ennene era engumu;
27 Mugevvu mu maaso,Era agezze n’akabina;
28 Abeera mu bibuga ebigenda okuzikirizibwa,Mu nnyumba ezitajja kusulwamu,Ezijja okufuuka entuumu y’amayinja.
29 Tajja kugaggawala, era eby’obugagga bye tebijja kuba bingi,Era ebintu bye tebijja kwala mu nsi.
30 Tajja kuva mu kizikiza;Omuliro gujja kukaza ettabi lye,Era ajja kuggibwawo n’omukka oguva mu kamwa ka Katonda.*+
31 Tasaanidde kuwaba ne yeesiga ebitaliimu,Kubanga by’anaafunamu bijja kuba tebigasa;
32 Bijja kubaawo ng’olunaku lwe terunnatuuka,Era amatabi ge tegajja kweyongera bungi.+
33 Ajja kuba ng’omuzabbibu ogukunkumula ezzabbibu eritannaba kwengera,Era ng’omuzeyituuni ogukunkumula ebimuli byagwo.
34 Kubanga abatatya Katonda* banaabanga bagumba,+Era omuliro gujja kwokya weema ze baafuna mu kulya enguzi.
35 Baba mbuto za bizibu ne bazaala ebibi,Era embuto zaabwe zizaala obulimba.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “omugaati.”
^ Oba, “okuwangula.”
^ Obut., “kamwa ke.”
^ Oba, “bakyewaggula.”