Yobu 4:1-21
4 Awo Erifaazi+ Omutemani n’addamu nti:
2 “Omuntu bw’agezaako okwogera naawe, oneetamwa?
Kubanga ani ayinza okwefuga n’atabaako ky’ayogera?
3 Kituufu owabudde bangi,Era wazzangamu abanafu amaanyi.
4 Ebigambo byo byayimusanga abo abaabanga bagwa;Era wagumyanga abo abaabanga n’amaviivi amanafu.
5 Naye kaakano emitawaana gikutuuseeko n’otendewalirwa;*Okwatiddwako ne weeraliikirira.
6 Eky’okuba nti otya Katonda tekikugumya?
Eky’okuba nti otambulira mu bugolokofu+ tekikuwa ssuubi?
7 Gezaako okujjukira: Muntu ki atalina musango eyali asaanyeewo?
Era ddi abatuukirivu lwe baali bazikiriziddwa?
8 Kye ndabye kiri nti abo abagunja ebibi,N’abo abasiga emitawaana bakungula bye bimu.
9 Bazikirizibwa omukka gwa Katonda,Era basaanawo olw’obusungu bwe obungi.
10 Empologoma ewuluguma, era empologoma envubuka evaamu eddoboozi,Naye n’amannyo g’empologoma ez’amaanyi gamenyeka.
11 Empologoma efa olw’okubulwa omuyiggo,Era abaana b’empologoma basaasaana.
12 Waliwo ekigambo ekyandeeterwa mu kyama,Amatu gange ne gakiwulira mu kaama.
13 Nga ntawaanyizibwa ebirowoozo mu kwolesebwa okw’ekiro,Abantu we babeerera mu tulo otungi,
14 Nnajugumira nnyo,Amagumba gange gonna ne gajjula entiisa.
15 Waliwo ekyampita* mu maaso;Obwoya obw’oku mubiri gwange ne buyimuka.
16 Kyayimirira,Naye saategeera nfaanana yaakyo;Mu maaso gange waaliwo ekintu;Waaliwo akasiriikiriro, oluvannyuma ne mpulira eddoboozi erigamba nti:
17 ‘Omuntu obuntu asobola okuba omutuukirivu okusinga Katonda?
Omuntu asobola okuba omulongoofu okusinga eyamukola?’
18 Laba! Teyeesiga baweereza be,Ne bamalayika* be abanoonyaamu ensobi.
19 Kati olwo tazinoonya n’okusingawo mu abo ababeera mu nnyumba ez’ettaka,Abaava mu nfuufu,+Abazikirizibwa amangu ng’ekiwojjolo?
20 Bazikirizibwa okuva ku makya okutuuka akawungeezi;Basaanawo emirembe gyonna, ne wataba n’omu akissaako omwoyo.
21 Tebali nga weema esikiddwamu omuguwa gwayo?
Bafa nga tebalina magezi.
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “n’oggwaamu amaanyi.”
^ Oba, “ekitonde eky’omwoyo ekyampita.”
^ Oba, “N’ababaka.”