Yobu 6:1-30
6 Awo Yobu n’addamu nti:
2 “Singa obulumi bwange+ busobola okupimibwaNe buteekebwa wamu n’ebizibu byange ku minzaani,
3 Kaakano bizitowa okusinga omusenyu gw’ennyanja.
Kyenvudde njogera ebitaliimu nsa.*+
4 Kubanga obusaale bw’Omuyinza w’Ebintu Byonna bunfumise,Mpulira ng’obusagwa bwabwo bumbunye.+
Eby’entiisa okuva eri Katonda binnumbye.
5 Endogoyi ey’omu nsiko+ ekaaba ng’erina omuddo?
Oba ente eŋooŋa ng’erina emmere?
6 Emmere etawooma eriika nga teriimu munnyo,Oba amazzi g’eggi gawooma?
7 Ŋŋaanye okukwata ku bintu ng’ebyo.
Biringa obutwa mu mmere yange.
8 Singa nfuna kye nsaba,Era singa Katonda ampa kye njagala!
9 Singa Katonda akkiriza okumbetenta,Singa agolola omukono gwe n’ansaanyaawo!+
10 Ekyo kyandimpadde obuweerero;Era nnandijaganyizza wadde nga nnina obulumi bungi,Kubanga sigaanangako bigambo by’Omutukuvu.+
11 Nkyalina amaanyi okulindirira?+
Waliwo ekirungi kyonna ekinnindiridde, ekinsigaza nga nkyali mulamu?*
12 Ndi mugumu ng’olwazi?
Oba omubiri gwange gwa kikomo?
13 Waliwo engeri yonna gye nnyinza okwerabiriramu,Ng’ate byonna ebinnyamba okweyimirizaawo binzigiddwako?
14 Omuntu atalaga munne kwagala okutajjulukuka,+Aba tatya Omuyinza w’Ebintu Byonna.+
15 Baganda bange bennyini tebeesigika ng’obugga+ bw’omu kiseera eky’obutiti,Bali ng’amazzi ag’obugga bw’omu kiseera eky’obutiti agakalira.
16 Bbalaafu abufuula buddugavu,Era omuzira ogusaanuuka gwekweka omwo.
17 Naye mu kiseera eky’omusana buggwaamu amazzi ne busaanawo;Omusana bwe gwaka ennyo nga bukalira.
18 Ekkubo lyabwo likyuka;Bukulukutira mu ddungu ne busaanawo.
19 Abatambuze abava e Tema+ babunoonya;N’abatambuze abava e Seba+ babulindirira.
20 Baswala olw’okubwesigira obwereere;Basoberwa nga batuuse we bwali.
21 Nammwe bwe mutyo bwe muli gye ndi;+Mulabye entiisa ey’ebizibu ebintuuseeko ne mutya.+
22 Mbagambyeko nti, ‘Mubeeko kye mumpa,’
Oba mbasabyeko ekirabo okuva mu by’obugagga byammwe?
23 Mbasabyeko okunnunula mu mukono gw’omulabe,Oba okumponya* abo abambonyaabonya?
24 Mumpabule, nange nja kusirika;+Munnyambe okutegeera ensobi gye nnakola.
25 Ebigambo eby’amazima tebireeta bulumi!+
Naye okunenya kwammwe kugasa ki?+
26 Mwagala okunnenya olw’ebigambo byange,Ebigambo by’omusajja atalina ssuubi,+ ebitwalibwa empewo?
27 Mwandikubye akalulu ku mulekwa,+Era ne mutunda mukwano gwammwe!+
28 Kaakano mukyuke muntunuulire,Kubanga sisobola kubalimba.
29 Mbasaba muddemu mwerowooze, muleme kunsalira musango mu bukyamu.
Mu butuufu, muddemu mwerowooze, kubanga nkyakuumye obutuukirivu bwange.
30 Olulimi lwange lwogera ebitali bya bwenkanya?
Mulowooza simanyi nti waliwo ekikyamu?
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “nga sisoose kulowooza.”
^ Oba, “ekinandeetera okwongezaayo obulamu bwange.”
^ Oba, “okunnunula eri.”