Yona 2:1-10

  • Essala ya Yona ng’ali mu lubuto lw’ekyennyanja (1-9)

  • Ekyennyanja kisesema Yona ku lukalu (10)

2  Awo Yona n’asaba Yakuwa Katonda we ng’ali mu lubuto lw’ekyennyanja,+  n’agamba nti: “Mu nnaku yange nnakoowoola Yakuwa n’anziramu.+ Nga ndi wansi* emagombe* nnawanjaga.+ Wawulira eddoboozi lyange.   Bwe wansuula mu buziba, mu nnyanja wakati,Amazzi agatambula gambuutikira.+ Amayengo go gonna ag’amaanyi gampitako.+   Era nnagamba nti, ‘Ngobeddwa mu maaso go! Ndiddamu okutunula ku yeekaalu yo entukuvu?’   Amazzi gambuutikira ne mbulako katono okufa;+Obuziba bwanfumbiikiriza. Omuddo ogw’omu nnyanja gwezingirira ku mutwe gwange.   Nnakka wansi ku ntobo z’ensozi. Ebisiba eby’enzigi z’ensi byali binsibiddeyo emirembe n’emirembe. Naye waggya obulamu bwange mu bunnya, Ai Yakuwa Katonda wange.+   Bwe nnawulira ng’obulamu bunzigwaamu, Yakuwa gwe nnajjukira.+ Awo okusaba kwange ne kujja gy’oli, mu yeekaalu yo entukuvu.+   Abo abeemalira ku bifaananyi ebitalina mugaso baleka ensibuko yaabwe ey’okwagala okutajjulukuka.   Naye nze nja kuwaayo ssaddaaka gy’oli n’eddoboozi ery’okwebaza. Nja kusasula bye nneeyama.+ Obulokozi buva eri Yakuwa.”+ 10  Oluvannyuma Yakuwa yalagira ekyennyanja ne kisesema Yona ku lukalu.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “mu lubuto.”
Laba Awanny.